Alipoota ekoleddwa poliisi ku biragalaragala eraga eraga nti ababitambuza n’ababinywa beyongedde
Mu mwaka oguwedde gwokka kilo ezisoba mu 2000 zeezakwatibwa nga ziliko abagitambuza
Zzo ssamba z’enjaga ezisoba mu kikumi zeezasanyizibwaawo mu bikwekweto bya poliisi.
Enjaga eno esinga mu disitulikiti nga Busia, Mityana Wakiso,Luweero ne Nakaseke.
Kamisona akola ku by’ebiragaragala mu poliisi James Kyomukasa kino akitadde ku mateeka agalim mu…
Kizuuliddwa nti kisoboka okutegerekeka nti omuntu atandise okuwutta obwongo ssinga bakebera omusaayi gwe
Abasawo okuva mu ggwanga lya America bagamba nti omusaayi gw’omuntu ssinga gubaamu amasavu agaweza ebitundu 90 ku kikumi, olwo abeera mu bulabe bw’okuwutta mu bbanga lya myaka esatu egiddako
Abakugu bagamba nti bakwongera okwekebejja ebizuuliddwa kyokka ssinga biba bituufu olwo obulwadde buno buba bugenda…
Gavumenti etandise ku mulimu gw’okutumbula eddagala eriweweeza ku mukenenya erikolebwa wano mu mawanga amalala.
Eddagala lino likolebwa aba quality chemicals.
Minisita akola ku byobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti ssinga kkampuni eno ekola eddagala erimala Uganda , eddagala eddala liyinza okutundibwa mu mawanga amalala agaliranye Uganda ne Africa okutwaliza awamu.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’eddala mu ggwanga ekya National Drug Authority kakufuuza abatembeeya eddagala mu kibuga kamapala n’ebitundu ebirala.
Kino kiddiridde okwemulugunya nga bano bwebatunda eddagala eriyiseeko nga lyabulabe eri abalwadde.
Akulira ekitongole kino Gordon ssematiko agamba bazzenga balabula abantu bano wabula nga baling abafuuyira endiga omulele.
Agamba bano n’ebikapu mwebatundira eddagala bikyafu kale nga abalwadde bandisanye eddagala baligule…
Abakulira eddwaliro ly’eMulago beganye ebigambibwa nti abasawo mu ddwaliro lino bediimye.
Kino kiddiridde ebigambibwa nti abasawo abasoba mu 100 baatadde wansi ebikola lwakulwawo kusasulwa musaala.\
Omwogezi w’eddwaliro lino Enock Kusaasira agamba ku bakozi abasoba mu mutwalo omulamba, abali eyo mu 217 bokka bebatanafuna musaala gw’omwezi oguwedde.
Kusaasira agamba abasawo abatanafuna musaala beebo abaluddewo okuwayo empapula zomusaala okuva mu…
Poliisi ekyanonyereza ku muyizi w’ettendekero ly’e Makerere eyatiddwa wali e Nantabulirirwa mu district ye Mukono .
Omugenzi ategerekese nga Benson Alikirize ng'omulambo gwe gwasangiddwa nga gusuuliddwa emabbali w’oluguudo lw’eggaali y’omukka kumpi ne kampuni y’amabaati eya roofing’s nga gwonna gujjudde emisale.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraaano , Ibin Ssenkumbi agamba byebakakungaanyako biraga nga ono bweyandiba nga yatomeddwa…
\
Oluvanyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okulangirira nga 17 omwezi ogujja nga olunaku lw’okujulizako ekifo kya Loodi Meeya, ab’ekibiina kya FDC bategezezza nga bwebatagenda kusimbawo Muntu yenna.
Bano bagamba okulonda kuno kumenya mateeka era n’akakiiko k’ebyokulonda kandiyimirizza enteekateka eno mbagirawo okutuusa nga kooti esaze eggoye ku kwemulugunya kwa loodi meeya Lukwago okugobwa bakanSala mu ofiisi.
Omwogezi wekibiina era nga y’akulira…
Ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM bakusisisnkana olw'eggulo lwaleero okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ekibiina.
Okusinziira ku amyuka nampala w’ekibiina kino , David Bahati ensisinkano eno yakulondoola ebyo ebyatesebwaako mu nsisinkano eyaliwo wiiki ewedde .
Bahati agamba kuluno bagenda kusinga kuteesa ku kulonda kwa bonna okwa 2016.
Wabula agamba nti endoolito mu kibina kyaabwe teziri kwebyo ebigenda okutesebwako.
Wiiki ewedde…
Omu ku bakulira poliisi y’okumwalo gwe e Buganga ku kizinga kye Zzinga mu gombolola ye Bussi,yeyokedde mu nyumba nasirikka oluvanyuma lwokusaanga muganziwe n’omusajja.
Ocomai Moses, yeyekumyeko ogwomukyooto oluvanyuma lwokutemezebwako nga mukyala we bweyabadde n’omusajja omulala.
Okusinziira ku Ssentebe we gombolola eno, Stanly Kabuye, enyumba omupoliisi mweyettidde ebadde ya Ntabirwa Pasikaali era omuliro gwajisaanyizaawo wabula negutwaliramu nendala satu.…
Pulezidenti agambye nti ekimu ku biremesa enkulakulana bwebutenkanya obuva ku bikula by’abantu ng’abakyala balekebwa emabega ng'ayogerera ku mukolo gy'okukuza olunaku lw'abakyala e Kumi, pulezidenti agambye nti n'okuva ewaka, abaana abawala balekebwa okukola emirimu egimu ng'abalenzi balera ngalo, ekintu ekirina okukoma.
Agambye nti era obuzibu buli ku basajja abalina okuyiga okukolaganamu n’abakyala abamanyi kyebaagala
Agambye nti kiba kirungi…