Ssabawaabi wa gavumenti alagidde nti abasajja abana abagambibwa okukuba abantu obutayimbwa bavunaanibwe mu kooti enkulu
Abana bano nga bakulembeddwaamu Gofrey Lukwago balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Juliet Hatanga nekikakasibwa nti okunonyereza kuwedde
Oludda oluwaabi lugamba nti mu kiro ky’ennaku z’omwezi 16 omwezi gw’okutaano ,abasajja bano nga basinziira e Bukoto babba pikipiki ku musajja gwebasooka okukuba akatayimbw an’awunga olwo…
Omubaka akiikirira abantu be Makindye mu Buvanjuba,alumbye ekitongole kya KCCA olw’okutulugunya abantu
John ssimbwa agamba nti bukyanga KCCA esengula emmotoka ezaali zisimba ku cooper complex n’ezitwala ku USAFI, waliwo okutulugunya kwa maanyi okugenda mu maaso
Ssimbwa agamba nti abasirikale ba KCCA bayonoona taxi a’abantu n’okubakwata nga babakaka okudda ku USAFI ekintu ekikyaamu
Wabula yye akulira ebakozi mu Kibuga…
Ekibiina kya NRM kigumu era nga tekirina gyekiraga.
Ababaka mu kibiina kya NRM bavuddeyo nebagumya bannakibiina nti enkayana eziri mu kibiina tezitegeeza nti kigenda kugwa
Kiddiridde eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye okutegeeza ng’enkayaana ezigenda mu maaso bw’eri entandikwa y’olutalo mu kibiina olunakisuula
Nga bawayaamu naffe, ababaka okubadde Alex Byarugaba, Emmanuel Dombo, Michael Mawanda ne Magret…
Abantu byebegomba bikusobera mu nsi.
Kati yye omuvubuka ono yezira kulaba ku kiyenje kyonna ng’akuba mu ttama
Omuvubuka ono agamba nti ebiwuka ayoya biyoye ng’aby’akererako , by’alya ekyemisana nga n’ekyeggulo bw’atyo.
Yasooka kulya nzige ezamuwoomera kwekugezaako ebiwuka ebirala nga nabyo biwooma era tadda nga mabega
Kooti y’ensi yonna esingisizza eyali omukwata muntu mu ggwanga lya Congo emisango gy’okutanula entalo kyokka egy’okukaka abakyala omukwano n’agibuuka
Germain Katanga emisnago gino yagizzamu mwak agwa 2003 mu kitundu kye Ituri nga kino kikubyeeko zaabu
Y w’okubiri okusingisibwa emisango mu kooti eno bukyanga essibwaawo mu mwk agwa 2002.
Kkooti eno terina Muntu gweyalie singisizzaako misnago gyakukwata bakyala
Abatuuze mu division ye Makindye basabiddwa okukolagana ne KCCA olw’empeereza ennungi
Omulanga guvudde w’akulira abakozi mu kampala Jennifer Musisi bw’abadde ku mukolo gw’okutongoza omulimu gw’okuzimba n’kuddabiriza enguudo nnya e Makindye
Musisis agambye nti Kontulakiti eno egenda okumala emyezi mukaaka yakuwemmenta obuwumbi 8 nga kkampuni ya China Construction Company y’epatanye omulimu guno
Kizuuliddwa nti ebbugumu elisukkiridde lyongera ku musujja gw’ensiri okweyongera eri abantu ababeera mu bifo ebitali bya kikko.
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abanti ababeera mu nsozi za Africa ne South America beebamu ku balumwa ennyo omusujja mu nnaku z’ebbugumu.
Kino kikivaako ensimbie zissibwa mu kujjanjaba omusujja okweyongera.
Ministule ekola ku byobulamu erabudde nti omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa mukenenya gwolese okweyongera mu baana abato.
Minista akola ku byobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti abavubuka aboogerwaako beebali wakati w’emyaka 24 okutuuka ku 35
Rugunda agamba nti abavubuka bangi abalina emyaka gino tebafa ku bulamu bwaabwe nga bangi tebakozesa bupiira ate nga bakyakaze nnyo
Minista bino abyogedde…
Gavumenti ewadde amagezi abalimi mu ggwanga okwetegeka okusiga kubanga enkuba essaawa yonna etandika okutonya.
Minister omubeezi ow’obutonde bw’ensi Flavia Munaaba agamba okusiziira ku kitongole ky’entebereza y’obudde, enkuba yandyeyongera okuba eyamanyi ku nkomerero y’omwezi guno.
Wabula alabudde ababeera mu bitundu ebitera okutataganyizibwa amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka okubeera obulindaala kubanga enkuba yandiba nyingi nebatataganya
Kino kiddiridde ekyeeya ekiludde okuva mu mweezi…
Nabagereka wa Buganda maama Sylvia Nagginda,aweereddwa obuyima bw’ekibiina ekibudabuda n’okujanjaba abantu abalina obulwadde obutawona ekya Hospice Africa Uganda..
Nabagereka azze mu kifo ky’omugenzi Prof. James Mulwana eyafa omwaka oguwedde
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ekibiina kino, okulonda Nabagereka besigamye ku mirimu amakula gyakolera obwakaba naddala mu by’obulamu ne Uganda okutwaliza awamu.
.Abakulira ekibiina bagamba ye nga Nnabagereka ,wakuyamba mu kusembereza…