Abakyala abalina obulwadde bwa Mukenenya mu Africa tebafuna buyambi bwebetaaga
Ab’omukago gwa palamenti ya Africa balaze obwenyamivu nti abakyala bakyaboolebwa olw’okubeera n’akawuka ka mukenenya.
Ababaka abakyala mu palamenti eno boogeddeko eri bannamawulire nebategeeza ng’abakyala bwebalekeddwa amabega mu nsonga eziwera ebikwata ku byobulamu ate nga beebamu ku babonaboona ennyo.
Bano bagamba nti abakyala bangi tebafuna bujjanjabi bwebetaaga naddala abo…
Ababaka basatu bakwatiddwa oluvanyuma lwa poliisi okukuba omukka ogubalagala mu katale ke wa kisekka.
Emirimu gisoose kusanyalala mu katale kano oluvanyuma lwa Poliisi okukuba omukka ogubalagala mu basuubuzi kano ababadde bakungaanye okukulisa ababaka muhammade Nsereko ne Theodre ssekikubo.
Omubaka we Butambala Muwanga Kivumbi yabadde abavuga era naye akwatiddwa.
Abalala abakwatiddwa kuliko Theodre Ssekikubo, ne Mohammed Nsereko
Ababaka bano babadde…
Amasomero agasinga gasizza obubonero abayizi ba siniya eyokutaano kwebagenda okuyingirira .Mengo senior Secondary School abalenzi ebatwalidde ku bubonero 21 ate abawala 18 .
Ndejje Senior secondary school 20 eri abalenzi, 22 ku bawala.
Gombe senior secondary ekomye ku 21 abalenzi ate 24 abawala.
Masaka Secondary school abalenzi etutte bafunye 38 nga abawala ekomye ku 42 .
Twogeddeko n’akulira essomero…
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agumizza abantu b’omu katale ka paakyaadi nti byonna bijja kuba bulungi
Ono agenze okukimayo ettofaali ly’amasiro agambye nti mu bulamu buno mulimu okugezesebwa kyokka ng’obuvumu ky’eky’okuddamu eri ekizibu kino.
Katikkiro era abagaanye okutitiira olw’omuliro oguzzenga gusaanyaawo akatale kaabwe enfunda eziwera bagume bongere kukola.
Ono abategezezza nga mu mulembe guno omutebi eby’okwekubagiza…
Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga eragidde nti ababaka abana abaagobwa mu kibiina baddeyo mu palamenti.
Abalamuzi abataano abatuula mu kkooti eno nga bakulirwa Stella Arach Amoko bagambye nti bafunye obukakafu obulaga nti ababaka bano bawaayo okujulira kwaabwe mu kkooti yeemu kale nga balina okuweebwa akadde.
Abalamuzi era bagambye nti bamaze n’okussaawo olunaku lw’okuwulirako okujulira kw’ababaka nga 28th omwezi…
Buli kimu kiwedde okufuna loodimeeya w’ekibuga Omuggya.
Akakiiko akalondesa kataddewo olunaku lwa nga 17 omwezi ogujja okulonderako loodimeeya omuggya.
Olunaku luno era kwekugenda okulonderwaako abo abanadda mu bifo by’ababaka abaali aba NRM abana abagobwa mu palamenti
Akulira akakiiko akalondesa, Eng Badru Kiggundu alangiridde nti okuwandiisa abagenda okwesimbawo ku bifo bino bbo bakuwandiisibwa nga 31 omwezi guno ne nga…
Ababaka mu kibiina kya NRM bagala nongosereza mu ssemateeka w’ekibiina kino
Mu byebagaala ky’eky’okulonda ssabawandiisi w;ekibiina omuto ow’amaanyi okutwaala ekibiina mu maaso.
Ng’ayogerako eri bannamawulire ku lukiiko olukulu olw’eggwanga, omwogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti Evelyn Anite agambye nti era bagaala pulezidenti y’aba alonda ssabawandiisi .
Anite era agambye nti basazeewo nti ssabaminista Amama Mbabazi ne mukyala…
Eby'entambula bisanyaladde mu kibuga kya Kenya ekikulu Nairobi oluvanyuma lw’abagoba ba Taxi okwekalakaasa.
Bano babadde beeekalakaasa lwa nsimbi z’okusimba mu kibuga okwongezebwa
Meeya w’ekibuga kino Evans Kidero yeeyarangiridde ensimbi zino.
Aba taxi bano batadde emisanvu mu makubo era ng’abantu balabiddwaako nga batambuza bigere.
Ne meeya yenyini eyaleese amateeka gano, naye alozezza ku bukambwe bwa ba Taxi bano bwebamugaanye okutambulira…
Eklezia Katolika egasse eddoboozi ku basaba nti alipoota ezizze zikolebwa ku muliro gw’omu paaka yaadi zifulumizibwe.
Akatale kano kaddamu okukwata omuliro ku nkomerero y’omwaka oguwedde.
Ssabasumba Cyprian Kizito Lwanga olwaleero alambuddeko abantu bano era nga bino gy’abyogeredde.
Ono wabula asabye abasuubuzi okusigala nga bakkakkamu kubanga akavuyo tekalya era ng'eno gy'avudde n'agenda okusiiga abakkiriza evvu.
Bbo abasuubuzi b’omu katale kano…
Poliisi ekola mu bifo by’obulamu ekutte omukyala abadde alimba abazungu ng’ayita mu kkmapuni y’ebicupuli.
Omukyala ono ategerekese nga Lucky Katebire, abadde alina ka kkampuni k’ayita nako mu nkwaawa olwo n’alimbira okwo abazungu
Ng’ayogerako eri bannamawulire, omukessi okuba mu poliisi eno, Patience Kembabazi agambye nti omukyala ono abadde n’emikutu egisoba mu etaano egikla mu mawanga agatali gamu
Agambye nti…