Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abbye Etooke Atanziddwa

  Mu district ye Lwengo omusajja atanziddwa emitwalo 75 lwakubba enkota ye tooke okuva mu lusuku lwamuliranwa. Wasswa Sentongo nga mutuuze ku kyaalo  kyanukuzi yakwatiddwa oluvanyuma lw’okuyunja etooke lya Jimmy Makumbi mu matumbi budde. Ono olukedde atukidde ku poliisi nemuwa embwa enkonzi y’olusu era okukakana nga batuuse ku mulyango gwa  Sentongo. Makumbi alemeddeko nti okujako nga aliyiriddwa emitwalo 75…

Read More

Ayambye Okugyamu Olubuto Akwatiddwa

  Police mu District ye  Namayingo ekutte omusajja ow’emyaka 43 lwakuyambako mukyaala kugyamu lubuto. Twayiri Bataamye yakwatiddwa oluvanyuma lw’okuyamba sarah Taabu okukwakulamu olubuto . Aduumira poliisi ye Namayingo Benson kiconco ategezezza nga ono bwali ow’okutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunanibwe ogw’okuyambako omuntu okujjamu olubuto n’okutta omwana ow’emyeezi 7.

Read More

Ababaka baddembe okukiika- Kadaga

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alangiridde nti ababaka abana abagobwa mu palamenti baddembe okuddamu okwetaba mu nkiiko za palamenti Ng’ayogerako eri palamenti olw’eggulo lwa leero, Kadaga agambye nti ababaka bano era bakusasulwa omusaala n’ensako zaabwe Kiddiridde kooti y’okuntikko mu ggwanga okulagira ababaka badde mu palamenti okutuusa ng’emaze okuwulira okujulira kwaabwe Ababaka aboogerwaako kuliko Mohammed Nsereko, Theodore Ssekikubo,…

Read More

Twegatteko- Besigye eri Mbabazi

Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akokonye ku luggi lwa ssabaminista amama Mbabazi. Besigye asabye Mbabazi obutasuula kigendererwa kya kya kwesimbawo  kubanga oyo ye demokulasiya Bino bizze ng’ababaka mu kabondo ka NRM alemeddeko nti teri Muntu kwesimba ku pulezidenti museveni . Besigye agamba nti ekirooto kye kisobola okutuuirira ssinga yegatta ku bakkiririza mu demokulasiya nga yye

Read More

Aba baasi za pioneer bakole

Kampala capital city authority ekkirizza aba kkampuni ya Pioneer Easy Bus okuddamu okuddukanyiza emirimu gyaabwe mu kibuga AKulira abakozi mu Kibuga Jennifer Musisi agamba nti baliko okutegeragana kwebatuuseeko n’aba baasi Wabula Musisi agambye nti bano baasi zaabwe tezijja kuweebwa nkizo kubeera na nguudo zaazo nga abakungu baabwe bwebaali bagaala

Read More

Omuyizi yetuze

Omuyizi mu ssomero lya Trinity College Nabbingo yetuze Mwana ono ategerekese nga Mariam Kamwaka nga yetugidde mu kisulo ky’abayizi. Bakwano be bagamba nti yali yasigala mu siniya y’okusatu kyokka n’alemerako ng’ayagala ku siniya ya kuna era okuwandiika abanaakola ebigezo bwekwatuuse, omwana ono nebamugaana okwewandiisa Wano weyavudde n’agenda mu kisulo era neyeyimbamu omuguwa neyetuga Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano…

Read More

Ogwa Lukwago gwa mwezi guno

Kooti enkulu mu ggwanga etaddewo olwa nga 20 March okuwulirako omusango ogwawaabwa loodimeeya Erias Lukwago ku by’okumugoba mu ofiisi. Lukwago ayagala alipoota eyakolebwa akakiiko eyamulumiriza obutakola mirimu esazibweemu  kubanga yalimu kyekuubira Lukwago era agamba nti ekya minista Frank Tumwebaze okwongezaayo obudde bw’akakiiko kano nakyo kyaali kikyaamu era ng’atankana ebyaliwo okuva olwo. Ayagala er asasulwe olw’okutulugunyizibwa kw’ayiseemu ebbanga lino…

Read More

Mulekere awo okwambula abakyala- Katikkiro

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde nti wabeewo ekkomo ku bikolwa by’okwambula abakyala. Bw’abadde ayogerako eri nasiisi w’omuntu ku katale ke wa kiseka, kamalabyonna agambye nti ekikolwa kino kiweebula abakyala era nga kirina okukoma mbagirawo. Agambye nti abasajja abakola kino bagweenyufu nnyo n’okusingako abambala enkunamyo Agambye nti mu nnono ya Buganda kikyaamu okwambula omukyala era nga abakikola…

Read More

Abazungu basemberedde okufuna eddagala eriwonya siriimu

  Ekifananyi kino kya BBC Abasawo abaludde  nga bayiiya engeri y’okujjanjabamu akawuka ka mukenenya baliko webatuuse bwebayambye abalwadde 12 ababadde bakafuna akawuka okuwona Kino kireeseewo essuubi nti abantu banakoma okumira eddagala buli lunaku ate nebasigala ngabalamu Abalwadde abakoleddwako okunonyereza kuno bagyiddwaako omusaayi nebakubwaamu eddagala lino Bano balondoddwa era okuddamu okukeberebwa ngabawonye

Read More

Omusolo ku sigala gwongezebwe

Abalwanirira ebyobulamu ebirungi eri bannayuganda bagaala omusolo ogugyibwa ku sigala gwongezebwe Bano balumiriza nti ebbeeyi ya sigala eri wansi nnyo ng’abamunywa banguyirwa okumugula Akulira omukago gw’okulwanyisa okufuweeta taaba , D.r Prossy Mugyenyi agamba nti kyandibadde kirungi amawanga negakwatiza wamu okulwanyisa omuze guno Sigala kyakakasibwa nti akola ekikka ku mawuggwe omuntu n’alwaala akafuba ate ng’abamu bafa n’amannyo Kwo okunonyereza okwakolebwa…

Read More