Amawanga aga Asia gakwataganye okuyigga enyonyi ebaddeko abant 239 ebulidde mu bwengula.
Enyonyi eno ebadde eba Malaysia ng’eyolekera Vietnam
Enyonyi eno ebuze yakava mu kibuga Kuala Lumpur
Minista wa Malaysia akola ku byentambula agamba nti tebannafuna mawulire gonna gakwatagana na kipapangulo kya nyonyi eno kusangibwa wntu wonna.
BBo ab’enganda z’abantu ababadde ku nyonyi eno bakunganidde ku kisaawe ekikulu mu…
Eggwanga lya South Africa ligobye ababaka aba Rwanda basatu nga kiteberezebwa nti bano baliko kyebamanyi ku kuluma okwakoleddwa kw’omu ku bavuganya gavumenti ya Paul Kagame
Ne Rwanda nno nayo eyasimudde egoba abakungu ba South Africa 6 ababadde mu ggwanga lino.
Kino kiddiridde abasajja ababadde bakwaataganye n’emmundu okulumba amaka ga Kayumba Nyamwasa ng’ono tebaima kaambugu na Kagame
Ekirungi nti…
Moses Golola awangudde munne gwebaludde nga begaya Ronald Mugula
Golola Mugula amukubidde mu luluma lw'okutaano mu mpaka ezibadde ku Freedo City.
Mu luzannya lwonna nga Golola emiguwa agyefuze
Ekibiina ekikulembera omupiira mugwanga ekya Fufa wamu ne Uganda Super league kyaddaaki bamaze nebakiriziganya ekyokubeera ne league emu mu ggwanga.
Kino bakikoze mu office ya minister Charles Bakabulindi akawungeezi ka leero okumalawo endoolito mu mupiira ezimaze omwaka gumu nekitundu nga Uganda erina leagues bbiri.
Fufa ekikiridwa omukulembeze waayo Moses Magogo ate ku ludda lwa USL,Kavuma Kabenge yabaddewo…
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti balumbye akakiiko akalondesa olw’okutegeka okulonda kwa loodimeeya ate nga bakimanyi nti wakyaliwo emisango mu kooti
Kiddiridde akakiiko kano okussaawo olunaku lwa nga 17 omwezi ogujja okulonderako loodimeeya omuggya
Omubaka akiikirira abantu be Rubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi agamba nti kuno kuba kuyisa maaso mu kkooti eyalagira nti Lukwago ye loodimeeya.
Asabye…
Emikolo gy’olunaku lw’abakyala mu nsi yonna gigenda mu maaso e kumi ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri kaguta Museveni amaze okutuuka
Emikolo gino gyetabiddwaako abantu abatali bamu okuli ababaka mu palamenti, ba minister n’abakulembeze ku mitendera gyonna
Yyo gavumenti etenderezeddwa olw’omulimu gwekoze mu kulwaniriraa eddembe lyabakyala
Omubaka omukyala owe Ibanda Margaret Kiboijana agamba nti abakyala bazze betongola , bafubye okwekolerera naye…
Poliisi Mu kampala eri ku muyiggo gwa muSajja atemudde muganzi we
Juliet Nabona abadde akola ng’omuwandiisi ku ssomero lya Bukoto high school.
Omukyala ono yattiddwa muganzi we ategerekese ga David Mulindwa oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya.
Akulira poliiisi y’oku luguudo lwe Kira, Denis Waayama agamba nti omusajja ono bweyamaze okutta muganzi we naleka akapappua akalaga lwaki amusse
Ono asabye omuntu yenna…
Obudde bw’abantu abazimba mu ntobazi buweddeko.
Minisitule ekola ku nsonga z’amazzi n’obutonde bw’ensi egenda kutandika okussa mu nkola ekiragiro kya ssabawolereza wa gavumenti okusazaamu ebyapa by’ettaka lyonna eriri mu ntobazi
Minisita omubeezi akola ku by'obutonde bw’ensi , Flavia Munaaba agamba nti omulimu guno gutandise
Ono agamba nti ekintu kino bakiteesezzaako ne mu Lukiiko lwa ba minista kyokka nga…
Abazungu byebakola tebiggwaayo.
Kati yye ono egeze embwa ye eri mu kulongoosebwa n’akwata omusaayi gwaayop n’agukozesa okugikubako ttatu
Ttatu eno ebadde ya mUtima oguyiseemu akasaale nga kabonero ka mukwano era bw’amaze awo n’awandiika ko n’erinnya lya mukyala we
Bino byonna ebikoze ng’embwa esirisiddwa era ng’ebadde mu tulo naye nga bagirongoosa
Wabula omusajja ono ayolese okuvunanaibwa emisnago gy’okulinyirira edembe ly’ebisolo.
Abalabye…
Omusango oguvunaanibwa munnabyabusuubuzi Andrew Kananura amanyiddwa nga Desh tegugenze mu maaso olwaleero era bwegutyo negweongezebwaayo okutuuka nga 16 omwezi ogujja
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu Joyce Tumushabe lutegeezezza kkooti nti okunonyereza kukyagenda mu maaso
Desh ne muganda we Raymond Kananura bavunaanbwa kukuba nebatta omukozi mu baala ya Panamera nga bamulanga kukkiriza omutwalo kasitoma gweyali amuwadde