Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Sematimab bamusuuzizza omugaati

Emirimu ku kifo ekiwummulirwaamu ekyaa Muyenga Resort Hotel gyesibye nga kooti egenda mu maaso n’okusengula omusumba Peter Ssematimba Ekifo kino kigambibwa nti kya mugenzi Paulo Ssebalu eyali munnamateeka omugundiivu eyafa omwaka oguwedde. Olunaku lwajjo kooti ekola ku nsonga z’amaka yaloze amyuka ssabalamuzi Alice Mpagi Bahigeine, munnabyabusuubuzi  Gordon Wavamuno, kko n’ab’olugand alw’omugenzi okuli ne muwala we okugenda mu…

Read More

Obukiiko bwa Tumwebaze butandise okukola

Obukiiko bwa ba kansala obwalondeddwa minister wa kampala Frank Tumwebaze butandise emirimu olunaku lwaleero. Obukiiko buno bwatondeddwa okukola emirimu egirina okukolebwa loodimeeya. Obumu ku bukiiko obwatondeddwaawo kwekuli akakola ku by’abakozi akakulirwa Baker Sserwamba , ak’amateeka akakulirwa Bernard Luyiiga, n’ak’ebyenjigiriza akakulira Bruhan Byaruhanga kko n’obulala SSentebe Bruhan Byaruhanga agamba wabula basanze emivuyo mingi egyekuusa ku by’amateeka nga kwebagenda okusookera. Loodimeeya…

Read More

Abasawo tebamala

Abakulembeze mu disitulikiti ye Lwengo bakaba lwa basawo batamala. Akulira disitulikiti eno, George Mutabaazi agamba nti amalwaliro ga gavumenti mu disitulikiti eno gafuna abalwadde bangi naye nga tebasobola kukolebwaako olw’omuwendo gw’abasawo omutono. Mutabaazi agamba nti bategeeza ko dda gavumenti ku nsonga yaabwe kyokka nga tebakolebwako Kyokka ono agamba nti balina essuubi nti omwaka ogujja wegunatuukira nga balowozeddwaako

Read More

Okulwanyisa ekikulukuto- Buganda ebiyingiddemu

Obwakabaka bwa Buganda butandise kawefube ow’okulwanyisa ekirwadde kya fistula . Kawefube ono atongozeddwa Katikiro ngayita mu misinde egyokujukira amazalibwa ga Kabaka, era ng’ensimbi ezinava mu misinde gyino zakulwanyisa ekirwadde kya Fistula. Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga agambye nti abantu abasinga tebasobola kufuna bujanjabi bwa Fistula ate ngabamu balowooza nti babaloga. Yo Kampuni ya Airtel ewaddeyo kavu wa…

Read More

Bana bakwatiddwa lwakutunda ddagala Mulago

Abantu bana ababadde batunda eddagala mu ddwaliro e Mulago mu bumenyi bw’amateeka bakwatiddwa Ku bakwatiddwa kuliko n’omuyindi nga bano babadde bekobaana n’abasawo mu ddwaliro okuguza abalwadde eddagala eririna okuba ery’obwereere. Mu ddagala lyebabadde batunda kwekuli erya sukaali. Akulira poliisi y’okuddwaliro lye Mulago Hashim Kasinga agamba nti abantu bano baliko beebabbye. Wabula bbo abakwatiddwa bino babiwakanyizza nebategeeza nga bwebabadde batatunda…

Read More

Obukiiko obwakoleddwa minista wa kampala bukyaamu

Abamu ku babaka b’oludda oluvuganya gavumenti bakyawakanya ekya minisita wa Kampala Frank Tumwebaze okuteekawo obukiiko bwa bakansala okuddukanya emirimu mu KCCA awatali loodi meeya. Minista wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisikirize  Betty Nambooze  agamba nti minista akkirizibwa okuyita olukiiko lwa bakansala  ssi kubateeka mu bibinja okukola emirimu gya KCCA. Agamba amyuka loodi meeya yabaddewo kale nga talaba…

Read More

Okulwana e South Sudan- amasasi gavuga mu nkambi y’amaggye

Amasasi ganyoose ku kitebe ky'amaggte e South Sudan mu kibuga ekikulu Juba Amasasi ganmo gatandise ku makya okulirana yunivasite y'eggwanga Abeerabiddeko n'agaabwe bagamba nti abantu batandise okusibamu ebyanguwa nga badduka ekibambulira Gavumenti tannaba kuvaamu mwasi yokka nga tekinnategerekeka oba okulwanagana kuvudde ku ki. Abayeekera abakulira Riek Machar basalawo okutandika okulwanyisa gavumenti ya Salva Kiir oluvanyumwa lw'okugobwa ku kifo…

Read More

Emisinde gy’amazaalibwa g’omutanda

Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga atongozezza emisinde gy’amazaalibwa g’omutanda. Emisinde gino gigenda kubeerawo nga 4th omwezi ogujja ng’abaddusi bakusimbula Mengo Ku Lubiri basale okuyita ku Kayanja ka kabaka okutuuka e Kasubi. Kamalabyonna agambye nti ekigendererwa kya luno kwolesa byabuwangwa bya bwakabaka. Emikolo gino byebimu ku bikujjuko bw’okukuza amazaalibwa ga ssabasajja agagenda okubeerwo nga 13-omwezi ogujja Emisinde gino…

Read More

Okusiiga evvu- ekisiibo kitandise

Olunaku olwaleero abagoberezi ba Kristu lwebasiigibwa evvu nga akabonero akalaga okutandika ekisiibo. Ekisiibo kino kikulungula ennaku 40 era nga kifundikirwa na bikujjuko bwa mazuukira Ebikumi n’ebikumi by'abagoberezi bano bakweyiwa mu makereziya basiigibwe evvu lino mu byenyi byaabwe. Evvu lino lijjibwa mu bisansa, akabonero ka mataba aganyeenyebwa ku lunaku lw'amatabi olw'omwaka oguba gwaggwa Ku ekelezia y’o mutukuvu Petero e Nsambya…

Read More

Mbabazi agyiddwaako obwa ssabawandiisi- Wakubonerezebwa

Amama Mbabazi ajjiddwaako emirimu gy'obwa ssabawandiisi w'ekibiina kya NRM. Kati minisita Richard Tadwong y'agenda okukola emirimu gino. Ababaka ba NRM ababadde mu kafubo beebasazeewo bino era nga bagaala na kuleeta kiteeso nti ssabawandiisi alondebwe ssntebe w'ekibiina. Omu ku babaka ababadde mu kafubo kano, Sam Ssimbwa agamba nti kino era bakikoze okussa mu nkola ebyasalibwaawo mu ttabamiruka w'ekibiina eyasemba…

Read More