Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Embwa evuga eggaali

Abantu bangi bagaala nnyo embwa era abalala batuuka n’okuzagaala okusinga ku bantu Guno bweguli naye ate kw’ono gwasusse. Mu ggwanga lya Colombia, omusajja ayigirizza embwa ye okuvuga eggaali era embwa eno ekwatiddwa ku lutambi ng’essa mu nkola ebigisomeseddwa Embwa eno erabise ng’enyumirwa by’ekola kumpi kutuuka kufuuwa luwa

Read More

Singapore y’esingamu ebibuga by’ebbeeyi

Kikakasiddwa nti eggwanga lya Singapore lyerisingamu ebibuga eby’ebbeeyi mu nsi yonna Abazudde kino besigamye ku nsimbi z’eggwanga lino enzito kw’ossa n’ensimbi empitirivu omuntu zeyetaaga okubeera n’emmotoka kko n’okukola ku bintu ebirala ng’amasanyalaze n’amazzi Eggwanga lino era lyelisingamu engoye ez’ebbeeyi Singapore ezze mu kifo kya Japan eyalya ekifo kino mu mwaka gwa 2013

Read More

Omwana bamuzaalidde mu kabuyonjo

Omuwala abadde tamanyi nti ali lubuto kata asuule omwana mu tooyi Omuwala ono ow’emyaka 25 ng’abadde akyabeera wa bakadde be, olubuto olubadde lumuluma ennyo lwelumujje mu tolo ng’obudde bukya Omuwala ono addukidde mu ttooyi kyokka kimuweddeko okuwulira nga bbebi akaaba Omuala ono agambye bw’awulidde omwana akaaba, ayanguye okumubaka  era nga bagenze okumupmai ng’akunukkiriza mu kilo ssatu

Read More

Ba kansala beyawudde- Bivudde ku bukiiko

Bakansala b’oludda oluvuganya gavumenti beekandazze nebafuluma olukungaana olubadde luyitiddwa minista wa Kampala Frank Tumwebaze  okukubaganya ku biseera bya kampala eby'omu maaso. Minisita abadde yayise ba kansala bano berondemu obukiiko obunatambuza  emirimu awatali loodi meeya mu KCCA. Bano nga bakulembeddwamu kansala wa  Makindye ey’obugwanjuba  Zahara Luyirika  nga bagamba ekifo  webasisinkanye ssi kituufu. Ye minista  Tumwebaze ategeezezza ng'akawaayiro 17 mu…

Read More

Okugoyebwa omwenge tekitegeeza kunywa mulala

Kikakasiddwa nti omuntu okugoyebwa omwenge  oba kiyite hangover tekitegeeza nti ajja kwanguwa okuddamu okunywa omwenge omulala. Okugoyebwa kuno tekulina kakwate konna ku kusalawo kw’omuntu okwongera okunywa omwenge oba nedda Ekibinja ky’abanonyereza okuva mu Missouri babadde baddamu abo abagamba nti omuntu agoyebwa omwenge kimwanguyira okuddamu okunywa omulala era nga kyekivaako bangi okunywa ennyo omwenge. Ate ekyewunyisa nti begugoya bangi…

Read More

Akanguyira katta

Ekifanannyi ino kivudde ku Mukutu gwa BBC Abantu abalina akasunguyira bangu nnyo  bakulumbibwa obulwadde bw’omutima Abanonyereza abazudde bino bavudde mu America nga bagamba nti lw’ekiruyi omuntu ky’aba awulira, kikosa omutima era gusobola n’okwesiba olumu Kino kibaawo mu ssaawa  bbiri ng’omuntu anyiize Wabula abasawo bano tebannakakasa bulungi akakwate kano kava wa.

Read More

Abakyala tebazaalira ewaka

Ministry y’ebyobulamu esabye abakulembeze ku mitendera gyonna okukubiriza abakyala okukomya okuzaalira ewaka.   Avunanyizibwa ku nnaku z’amaka, Albert Kasozi Lule, agambye nti kibaluma nnyo okulaba nti abakyala ebitundu 35 bokka beebazalira mu malwaliro olwo ebitundu 65 nebazalira ewaka era ekitadde obulamu bwabwe ku mattigga. Kasozi agambye  nti abakyala bandibadde bazaalira mu malwaliro awali abasawo abatendeke tekikyakolebwa nga naye…

Read More

Amambulugga gatta obusajja

Abaana bangi balwaala amambulugga nga bato. Abazadde bangi bwebajjanjaba abaana bano nebawona tebafa ku birala Kati nno basawo bagamba nti amambulugga gano bwegatuuka mu baana abalenzi gasobola okubaviirako okufuuka ba ssekibotte. Amambulugga gano nno  gakwata mangu era nga gujabagira ssinga gadda mu Muntu emirundi. Omusawo mu ddwaliro e Mulagi, Dr Charles Kasozi agamba nti amambulugga gano gasobola bulungi okukkirira…

Read More

Eby’abasawo tubikolako

Eby’omusaala gw’abasawo e Kalangala abassizza wansi ebikola nga beekalakaasa ekolebwaako. Abasawo bano beedimye nebagaana okukola nga bagamba nti babanja emyezi mukaaga ate abamu bbo basasulwaako bitundu. Akulira ekitongole ekirondoola entambula y’eddagala mu malwaliro ga gavumenti Dr Dina Atwine agamba nti bazzeemu okwekenneenya enkalala okusasulirwa abakozi okulaba nti tebalwaawo kusasula basawo bano. Ono agamba nti bagala kulaba nga bakungaanya…

Read More

Kanyeihamba agobeddwa mu musango gw’ababaka

Ababaka abana abagobwa mu palamenti ne mu kibiina kya NRM basazeewo okusuula ebbali abadde munamateeka wabwe  George Kanyeihamba nebamusikiza Caleb Alaka ne Peter Walubiri. . Ono akitegedde ku makya galeero bw'abadde azze mu kooti okuwolereza abana bano mu kooti ensukulumu era alagiddwa okwamuka awatuula abawolereza aban bano. Bbo abalamuzi ba kooti ensukulumu abataano batuuse dda okuwulira okwemulugunya…

Read More