Alipoota efulumiziddwa ab'ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ekya Human Rights Network for Journalists eraga nti poliisi yeeyakasinga okulinnyirira eddembe lya bannamawulire.
Alipoota eraga nga bano bwebeyongera okusambirira eddembe ly’abannamawulire ebitundu 81% bwogeregeranya n’ebitundu 61% mu mwaka gwa 2012.
Bbo abantu ssekinoomu batereddwa ku bitundu 10%, ababakozesa 2%, abakuumi ba kampuni z’obwananyini enkuumi ku 2%, ba RDC 1%,…
Ababaka mu kibiina kya NRM basisinkanye mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebbe kwetegereza ebiteeso ebyakolebwa e Kyankwanzi
Kino kikakasiddwa amyuka akulira akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti David Bahati
Bahati agamba nti bagenda kuteesa ku ngeri y’okussa mu nkola byebasalawo e Kyankwanzi
Ebimu ku biteeso kyekya pulezidneti Museveni okwesimbawo nga teri amuvuganyizza okuva mu kibiina
Poliisi mu kampala eweze ebimotoka bya breakdown okuddamu okusimba okumpi ne zi poliisi.
Kino kiddiridde abantu okwemulugunya nti aba poliisi bakolagana ne banyini byo okusika mu bagoba b’emmotoka ensimbi.
Akulira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba nti kino kirina okukoma kubanga kivumaganya bbo.
Wabula bbo abamu ku basing okukululwa ebimotoka bino aba taxi bagamba nti kino…
Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Kalangala bassizza wansi ebikola lwa musaala
Omu ku bakozi bano atatubuulidde mannya ge agamba nti abamu bamaze emyezi mukaaga nga tabafuna musaala.
Ate abalala bafuna bitundu.
Omusawo ono agambye nti bafunye okutegeeza bekikwatako naye nga tewali kikolebwa era nabo kwekwelakaasa olunaku lwaleero.
Kino nno kikosezza balwadde obwedda abajja nga teri abalabirira era obwedda…
Ebiri mu kaduukulu ka poliisi ku CPS mu kampala byewunyisa.
Lino yadde kkomera naye waliyo abaloodi n’abaavu.
Obadde okimanyi nti ba ofiisa ba poliisi baling bakatonda nga beebasalawo wa w’osula.
Wano ekikweyimirira nsimbi zo.
Kati nno aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi akyaddeko mu kaduukulu kano mu ngeri ey’ekibwatuukira naye by’asanzeeyo naye asigadde anyeenya mutwe
Ba ofiisa ssente…
Abaana abato okugugumuka nga beebase bayinza okuba akabonero akalaga nri banditawanyizibwa ku bwongo mu biseera byaabwe eby’omu maaso
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti yadde abaana abangi bagugumuka, bwekiremera ku mwana kayinza okuba akabonero akalaga obuzibu obusingako
Okuwoggganira mu tulo, n’okwogerera mu tulo bwebumu ku bubonero.
Abanonyereza bano bagamba nti kino kyakubayamba okumanya abo abayinza okugwa eddalu mu bukulu.
Abantu abasoba…
Abasawo mu ddwaliro erimanyiddwa nga Great Ormond Street Hospital mu kibuga London batandise omulimu gw’okukola okutu okukolerere.
Okusinziira ku nteekateeka zaabwe, bano bakusalanga ku Muntu obuyama ku bigere baguttegatte obunyama buno babukubemu eddagala, bumeremu okutu.
Bano bagamba nti kijja kuyamba abantu abatali bamu abafuna ebizibu gaabwe okusobola okufuna amalala.
Abantu bangi bagaala okunywa ku ka wayini mu biseera byaabwe eby’eddembe.
Naye okimanyi nti yadde wayini ono mulungi naye bw’omuyitiriza kiba kibi.
Abasawo bagamba nti omuntu yenna talina kusukka giraasi za wayini bbiri lunaku.
Omusawo mu ddwaliro e Mulago, Dr Charles Kasozi agamba nti omwenge gwonna bweguyitirira guttattana ebitundu by’omubiri ebitali bimu.
Dr Kasozi agamba nti wayini naddala omumyuufu…
Abalwadde abasoba mu 100 beebatubiridde ku ddwaliro ekkulu e Masaka oluvanyuma lw’abakulira eddwaliro okuggala ekifo awatuukira abali obubi
Ekifo kino kyaggalwa olw’ebigambibwa nti tekyalina basawo balina bukugu bumala.
Obwedda abalwadde abatwalibwaayo nga basindikibwa mu malwaliro amalala kyokka ng’abamu bekandazze nebagaana okuvaayo nga bagaala kukolwaako.
Omu ku bano ye Ruth Kobusingye abadde atutteyo omulwadde we nebabagoba naye kwekuva mu…
Wali olabyeeko abantu abafagana nga kizibu nnyo okubaawula.
Kubamu akafanyi ng’oli musomesa ng’olina emigogo gy’abalongo ng’ena mu kibiina ky’osomesa, osobola okubawuula?
Kati nno omusomesa mu ggwanga lya China yye abivuddeko olw’ekibiina ky’asomesa okubaamu emigogo gy’abalongo 10.
Bano baweza abaana 20 ku bayizi 22 b’alina mu kibiina Abaana bano bafanagana okufaako obufi nga tasobola kubwuula
Omukyala ono agambye nti tasobola…