Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ono tayambala ngatto

Omusajja enzaalwa eya America asazeewo kumala mwaka mulamba nga tayambala ngatto okujjukiza abantu nti waliwo abaana abataliba ngatto. Richard Hudgins wa myaka 28 nga mukozi mu saluuni era nga aliko n’embaga gyeyagenzeeko nga talina ngatto. Ono ne mukutwala muwala we mu ssomero kko n’okugenda mu supamaket okugula ebintu etambuza bigere. Omusajja ono agamba nti ayagala kuweza emitwalo gya…

Read More

Ababbi b’amazzi babakutte

    Ekitongole ky’ebyamazzi  olwaleero kikoze ebikwekweto mwekikwatidde ababbirira amazzi era nebabasalako. Abasoose okusalwako beebe kifo webooleza emmotoka  ekya Evolutions washing bay ekyoku payini ekisangibwa ku luguudo lwa Lumumba Avenue. Abakulira ekifo kino kigambibwa okuba nti bataganjula mita y’amazzi nga era babadde basasula ssente ntono okusinga kw'ezo zebalina okusasula. Akuliddemu ekikwekweto kino , Gilbert Muhwezi agamba ebikwekweto ebitandise olwaleero…

Read More

Musasule abasomesa

Ababaka ba palamenti abatula ku kakiiko k’ebyenjigiriza okugwa kw’abayizi mu bigezo ebitali bimu bakutadde ku basomesa butafuna musaala gumala nga kino kibamalamu amaanyi okukola omulimu gwabwe. Ababaka okuli akiikirira abakyala b’e Lwengo Gertrude Nakabira ne  Lucy Ajoko  owa Apachi bagamba omusaala gw’amasomesa gwandiyongezeddwa olwo nabo bateeka omwoyo ku kyebakola. Abayizi abali eyo mu  13, 353 bebagudde ebigezo…

Read More

Duncan awangudde

Duncan Mubiru yeyawangudde empaka z'emotoka eza Mbarara Rally ezakomekerezebwa olunaku lw'eggulo. Empaka zino zeezaguddewo calendar y'omwoka guno 2014. Ronald Sebuguzi yakutte kyakubiri ate Leila Mayanja omukyala yekka eyatabye mu mpaka zino n'amalira mukya munaana kubavuzi 28 abeetabye mu mpaka zino.

Read More

Abadde abbye omwana akwatiddwa

  Police e Nakulabye  wano mu kampala eriko omukyala atemera mu gy’obukulu 45 gw'etaasiza ku batuuze ababadde bakaaye lwakubba baana Atwala poliisi  ye Nakulabye Musa Tamuzadde , atubuulidde nti Beatrice Malachi  yasangiddwa n’omwana wa Robinah Nakalazi  ow’emyaka 4 gyokka, nga ono kigambibwa nti abadde yabula okumalira ddala ebbanga lya nnaku ssatu. Malachi nga ono mutuuze we Bukasa mu…

Read More

Omusajja atuze omwana ow’emyezi 6 gyokka

  E Bugiri  waliwo omusajja atuze omwana ow’emyezi 6 gyokka n'amutta,  oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya ne maama w’omwana ono. Kigambibwa nti Peter Wanjala, omutuuze we  Butyabule , abadde bba wa maama w'omugenzi, era nga yajja naye okufumbirwa ewa wanjala , wabula bwebafunyeemu obutakaanya , wanjala n'akkira omwana n'amutuga  . Aduumira poliisi e Bugiri Richard Musisi, atubuulidde nti omwana omugenzi…

Read More

Ababadde bagema abaana battiddwa

Obulumbaganyi bwa bbomu obukoleddwa ku basawo ababadde bagema abaana mu ggwanga lya Pakistan bulese abantu 10 nga bafu Bbomu eno ebadde etegeddwa mu kkubo awabadde wayita oluseregende omubadde abasawo abagema abaana obulwadde bwa Poliyo nga bava nju ku nju Obulumbaganyi bw’ekika kino bubadde buludde okulabikako . Tewali kibinja kyewaanye kukola bulumbaganyi buno yadde ng’abatalibaani abawakanya eby’okugema abaana kiteberezebwa…

Read More

aba DP bajaguza myaka 60

Ekibiina kya Democratic Party kyewozezzaako ku ky’okulemererwa okuyingira mu buyinza emyaka emingi gyekimaze nga wekiri. Okwewozaako kuno kuzze ng’ekibiina kno kikuza emyaka 60 bukyanga itandikibwaawo. Ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agamba nti embeera y’ebyobufuzi mu Uganda tebaberedde nyangu ng’ekolera abo abali mu buyinza Ono era agamba n’eky’okusiba ebibiina okukola nakyo kyabakosa nnyo kyokka ng’omudde tebunnayita kubanga batandise okwetegeka

Read More

Abatta ebisolo mukube ku nyama

Pulezidenti Museveni alagidde nti abo bonna abakwatibwa nga bayigga ebisolo mu malundiro bakubwe amasasi. Pulezidenti agamba nti okuleka abantu bano nebasigala nga bajagaana , amaggye ga gebaaseemu Omukulu ono agamba nti y’ensonga lwaki gavumenti yatandika enteekateeka z’okujjako ebibinja by’abayizzi b’ebisolo emmundu neziwebwaayo eri bannamaggye Pulezidenti okwogera bino yabadde addamu abantu abeemulugunyizza ku ky’abayizzi b’ensolo ebava mu South Sudan…

Read More

Okusala obuyambi- tebannatutegeeza mu butongole

Gavumenti yakusigala ng’oyogeramu n’abaagabirizi b’obuyambi ku buyambi obuzze busalwa ku Uganda. Bino byogeddwa ssabaminista Amama Mbabazi bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu kampala. Mbabazi agambye nti wabula gavumenti tennafuna kutegeezebwa mu butongole nti banka y’ensi yonna yasazizzaamu obuyambi bw’ebadde ewa Uganda. Mbabazi yenyamidde nti ebikolw aby’okusala obuyambi biyinza okukosa eggwanga naddala mu byobulamu nebitongole ebirala obuyambi buno gyebubadde bulaga

Read More