Eyali omubaka akiikirira abantu be Bubulo mu bugwanjuba Tonny Kipoi Nsubuga akwatiddwa
Ono akuumirwa mu kibuga kya DR. Congo ekikulu Kinshasa ng'alindirira okuvunaanibwa
Akulira poliisi y'ensi yonna mu Uganda Assan Kasingye agamba nti Kipoi akwatiddwa oluvanyuma lwa poliisi ya Uganda okuwereeza okusaba kwaayo mu Congo nti yetaagibwa
Ono akadde konna agenda kuba akomezebwaawo e Uganda okuvunaanibwa.
Kino kizze nga…
Gavumenti esabiddwa okusooka okusomesa abantu ku tteeka ly'obuseegu nga terinnassibwa mu nkola.
Okusaba kukoleddwaa ababaka ba palamenti abakyala oluvanyuma lw'abasajja abambula abakyala okweyongera
Omubaka omukyala akiikirira abantu be zombo Grace Freedom Kwiyucwunyi agamba nti abantu kino bakikola kubanga tebamanyi mateeka
Ono wabula agambye nti abakulembeze basaanye okukulemberamu omulimu ogusomesa abantu okukoma okuwebuula omukyala.
Ono asabye poliisi okussa essira ku…
Ow’ekitiibwa Aga Khan ategezezza nga abantu okulemwa okutegeera obulungi amateeka g’ekiyisiramu kyekiviriddeko obutabanguko mu mawanga agatali gamu mu nsi yonna.
Bino yabyogedde ayogerako eri palamenti y’eggwanga lya Canada nategeeza nga abamu obuyisiramu bwebabuletamu olukaalikali gamba nga mumawanga nga Central African Republic, South Sudan, Nigeria, Myanmar, n’amawanga amalala.
Omukulu ono nga yomu ku bakulembeze ba bayisiramu abashia agamba…
Abavubuka b’ekibiina kya NRM bayise olukungaana okusobola okwogera ku kulumangana okuli mu kibiina.
Okuinziira ku ssabawandiisi w’ekibinja kino Sulaiman Mayanja agamba agamba nti yadde nga bawagira ekyokusemba omukulembeze w’eggwanga okukwata bendera y’ekibiina mu kulonda okujja, naye bbo balekeddwa ttayo mu kusalawo kwonna.
Agamba ebitongole byonna mu kibiina birina okutekebwamu ekitiibwa saako n’okuwuliriza ebirowoozo byonna okulaba nga enkola…
Gavumenti eweze oputabondooka ku teka ly’ebisiyaga yadde nga amawanga gabakyeru ppe gatandise okusala ku ggwanga obuyambi.
Omwogezi wa gavumenti Ofono Opondo agamba eggwanga teriyinza kudobonkana kubanga ssi gwegusoose nga kino kibaawo.
Agamba gavumenti yakubeezawo abntu baayo nga yemalira ku bintu ebisinga omugaso n’enkola endala ez’okutaasa eggwanga.
Banka y’ensi yona yegasse ku balala abatandise okusala ku buyambi bwebawa eggwanga…
Kooti ey’okuntikko mu gganga etaddewo olunaku lwa nga 4 omwezi ogujja okusalawo ku nsonga z’ababaka abana abagobeddwa mu palamenti.
Ssabiiti ewedde, ababaka bano okuli Theodre Ssekkubo, Mohammed Nsereko, Wilfred NIwagaba ne Barnabas Tinkasimire bawaayo okwemulugunya mu kooti y’okuntikko nga bawakanya ekyasalibwaawo kooti
Bano okujulira baayise mu bannamateeka baabwe aba Caleb Alaka bagala kusooka kufuna kiragiro ekiyimiriza akakiiko…
Gavumenti esindise obuyambi eri abantu abagoyebwa enkuba e Luweero ssabbiiti eno ng’etandika
Abakulembeze ba disitulikiti baali basabye obukadde 300 okuyamba abaakosebwa
Abantu abasoba mu 100 beebakosebwa enkuba mu bitundu bye Luweero nga baludde nga basaba obuyambi
Minista omubeezi akola ku bigwabitalaze Musa Ecweru agamba nti ebiwereddwa abantu byakuyamba okujja mu nyanga gyebasigalamu
Bano bawereddwa amabaafu, Bulangiti,obuwunga bwa kasooli n’ebijanjajaalo
Ssabaminista wa Uganda Amama Mbabazi yejjerezeddwa ku ky’okubwebwena ensimbi z’okuzza obuggya obukiikakkono bw’eggwanga
Kiddiridde ababaka mu palamenti okumuwemukira nga bagala alekulire oluvanyuma lwa alipoota eyakoleddwa omubaka Joseph Sewungu okulaga nti yakozesa bubi ensimbi zino
ono bamulanze kwegulira mmotoka etunula ng’omuntu ng’abantu beyalina okuwereeza bali bubi
Akawungeezi ka leero ababaka basazeewo okulonda okulaba abo abawagira nti alekulire era okukkakkana…
Obadde okimanyi nti embeera y’omwana erina akakwate ku myaka kitaawe kw’amuzaalira.
Kati nno bannasayansi bakizudde nti abaana abasinga okwewunika baba bazaalwa ba taata abakuliridde
Mu ngeri yeemu era abaana abazaalibwa abavubuka babeera bajagujagu era nga tebekubagiza
Bannasayansi tebattottodde lwaki kino kiri kiti kyokka nga bagamba nti kyandiba nga kiva ku bavubuka okusiiga abaana baabwe obukujjukujju .
Abaana abazaalibwa abasajja…
Kizuuliddwa nti abaana abazaalibwa ku kiso emikisa gyaabwe egy’okugejja nga bakuze mingi ddala.
Okuzuula bino, abasawo batunuulidde abaana emitwalo esatu mu kanaana
Abanonyereza okuva mu ggwanga lya Bungereza agamba nti kiba kirungi abakyala nebalabulwa ku bulabe obuli mu kuzaalira ku kiso kubanga obulabe butuuka ne ku baana baabwe
Okunonyereza kuno kwalaze nti ku buli baana 100 abazaalibwa obulungi…