Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Japan ekyebuuza ku bisiyaga

Gavumenti ya Japan etegezezza nga okusala obuyambi ku Uganda olweteeka ly’ebisiyaga bwekitajja kumalawo buzibu ku teeka lino nga era enkolagana y’amawanga abiri esukka ku by’ebisiyaga. Bwabadde ayogerako eri banamawulire olunaku olwaleero , omubaka wa Japan mu uganda  Junzo Fujita, ategezezza nga Japan bwegoberera amateeka g’ensi yonna era nga bakusooka okwebuuza kubanga balina okugassamu ekitiibwa. Wabula agambye nti…

Read More

Tukooye okutuboola- ababeera mu bukiikakkono

Ababaka ba palamenti abakyala bavuddeyo ku basajja abagufudde omuze okwambula abakyala mbu bambadde enkunamyo Nga boogerako eri bannamawulire, ababaka bano nga bakulembeddwaamu abakulira Betty Amongi bagambye nti akategeezebwa ku bakyala 3 abakambulwa Amyuka abakulira Grace Nyakikongolo agamba nti etteeka ku buseegu naddala akawaayiro akoogera ku nkunamyo kirabika lyayisibwa mu bwangu Ono agamba nti kikyaamu etteeka lyona okuba nga…

Read More

Ebigezo bifulumye, ebya baana lukumi bikwatiddwa

Ebigezo ebikolebwa abayizi ba siniya y’okuna omwaka oguwedde bifulumye. Kyeyolese bulungi nti abayizi ku luno baakoze bubi bw’ogerageranya omwaka guli Abayizi emitwaalo ebiri beebayitidde mu ddaala erisooka, ate abayizi emitwalo ena beebayitidde mu ddala ery’okubiri ate ng’abayizi abasoba mu mitwalo ebiri bbo bagudde ebigezo. Okutwaliza awamu, abaana abawala bakubye banaabwe abalenzi mu ssomo ly’olungereza ne litulica ate abalenzi…

Read More

Ebigezo bifuluma akadde konna

Ebya mu bigezo bya s4 omwaka oguwedde bifuluma akadde konna Abakungu abagenda okubifulumya bamaze okutuuka ku kizimbe kya Satistics house mu Kampala. Mu batuuse kwekuli omuwandiisi w'ekitongole ky'ebigezo, Mathew Bukenya, akikulira Fagil Mande n'abakungu abatali bamu Abayizi abali eyo mu 295,472 bebatuula ebigezo bino omwaka oguwedde mu massomero 2,888 . Ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya UNEB Mathew Bukenya…

Read More

Omwana abadde abaza bakadde be bamukutte

Omuzadde abadde atambula agage kimuweddeko bwagudde ku mutabani we ng’ali mu kuzannya na bubwa obutaliiko nyini bwo Omwana ono abadde abaza nga kitaawe ng’amulimba nti agenze kutambulamu ne banne olwo n’agenda eri obubwa buno Omwana ono alabise ng’akikola buli lunaku kubanga obubwa olumulabye nebumuyiikira mu ngeri y’okumwaniriza Bwebakebedde mu nsawo ye basazeemu emere gy’abadde yetikkira embwa eno buli…

Read More

Omukyala asse bba

Omukyala afumise bba ekiso n’amuttirawo ng’amulanga bwenzi . Agavaayo gooleka nga Bennah Gatuganyurwe enzaalwa ya Rwanda  wabula ng’omutuuze mu kibuga Mbarara bw’akidde bba Frank Bashaija n’amufumita akaso mu kifuba akamutiddewo. Ayogerera poliisi mu kitundu kino polly Namaye  atugambye nti bano bonna babadde batunda manda mu kitundu kino. Omukyala ono akwatiddwa avunaanibwe ogw’obutemu

Read More

Abasajja bangi banyiiga ng’abakyala bafunye embuto

Kano ka bakyala. wali ofunyeeko ku kirowoozo ekikwata ekibeera ku maaso ga balo ssinga omugamba nti oli lubuto. Kati yye omukyala ono yateze bba kamera olwo n’amutegeeza nga bwebabadde bagenda okuzzaako omwana waabwe kubanga yabadde lubuto Omusajja ono yalabise ng’atidde kyokka ng’atya okukiraga mukyala we . Mu kwebuzabuuza yasese amajemulukufu kyokka ate n’anyiiga omulundi gumu,. Wano wewebuuliza nti abasajja bameka…

Read More

Amalwaliro gazimbibwa

Enteekateeka z’okuddabiriza amalwaliro agatali gamu agali wansi wa minisitule y’ebyobulamu zitandise. Omwogezi wa minisitule eno, Rukia Nakamatte agamba nti bamaze okukwasa ba kontulakita amalwaliro kano era ng’omulimu gutandise Nakamatte agamba nti batandise nga kutereeza bifo awagenda kuzimbibwa amalwaliro gano n’oluvanyuma era boogereko n’abantu abayinza okukosebwa Amalwaliro gano gagenda kusakirirwa ebbanja eryava mu banka y’ensi yonna Malwairo agagenda okuganyulwaamu kuliko…

Read More

Etteeka ku bisiyaga liyise

Etteeka ku bisiyaga limaze okuyita. President museveni amaze okussa emikono ku tteeka lino erissaawo ekibonerezo ky'omuntu okusibwa obulamu bwe bwonna ssinga asingisibwa omusnago gw'okusiyaga. Pulezidenti agambye nti kino akikoze oluvanyuma lw'okukakasa nti obusiyaga buva ku busiwuufu bwa mpisa sso ssi buzaale ng'abamu bwebaali bamutegeeza. Pulezidenti agamba nti buli ggwanga lirina kyerikkiririzaamu nga kikyaamu eggwanga eddala okutunuulira eddala. Ono agambye…

Read More