Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ababaka bagobwe mu palamenti- Kkooti

  Ababaka abana abagobwa mu kibiina kya NRM kooti etaputa ssemateeka esazewo bagobwe mu palamenti. Abana bano kuliko Theodre Sekikubo owe  Lwemiyaga, Wilfred Niwagaba owa  Ndorwa ey’obuvanjuba , Mohammed Nsereko owa kampala eyo mumassekati ne Barnabas Tinkasimire owa  Buyaga ey’obugwanjuba. Abalamuzi 3 ku 5 nga bakulembeddwamu omulamuzi Richard Buteera basazeewo bano bagobwe mu palamenti nti baliyo mu bukyamu,…

Read More

Omufere Akwatiddwa

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okujja  obukadde 15  ku b’enganda z’omusawo avunanibwa okukuba omwana ow’emyaka 2 empiso ya siriimu nga abasuubizza omuntu wabwe okweyimirirwa awoze nga ava bweru. Kob Mpango  yakwatiddwa olwaleero ku kooti enkulu oluvanyuma lw’abenganda bano okumusalira amagezi nebamukubira essimu olwo poliisi nemukwata. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano  Ibn Senkumbi ategeezezza nga ono bwabadde yeyita…

Read More

abawola bakuwandiisibwa

Gavumenti etandise okuddamu okwetegereza etteeka ku bantu abeewola ensimbi Minister omubeezi akola ku byobusuubuzi, James Mutende agamba nti abantu bangi abali mu mulimu gw’okuwola ensimbi naye nga tebalina bisanyizo gyebigweera nga babbye abantu Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku busuubuzi, Mutende agamba nti abanti bangi babatuukirira naye nga tebalina ngeri gyebabayamba. Mu tteeka eppya bagaala abawola bonna…

Read More

Namukadde alumirizza muzzukulu we okumukaka omukwano

Abadde katemba ku ddwaliro e Kawolo,omukyala ow’emyaka 72 b’walumirizza muzzukulu we okumukaka omukwano Josephine Namusisi alumirizza muzzukulu we Moses Kibirango nga bonna batuuze ku kyaalo Nakusubyaako e Kawolo Omukyala ono agambye nti ku lunaku olwo muzzukulu yamukonkona mu kiro n’agaana okumuggulira era yakozesa lyaanyi okweggulira Bweyayingira , yamwekakaatikako era naye teyebaka n’aloopa ewa LC Ssentebe ono, Eric Mukasa agambye…

Read More

Omupoliisi attiddwa mu bubbi

Poliisi ekakasizza okuttibwa kwa musajja waayo mu bubbi Dan Kato attiddwa abantu abakaaye obugo oluvanyuma lw’okumusanga ng’amaze okutta omusajja gw’abadde agezaako okubbako emmotoka. Kato ono ne munne atolose bapangisizza omusajja ono abadde avuga mmotoka kika kya Noah kyokka nga bwebatuuse mu kkubo nebamusiba omuguwa mu bulago  mu kumutuga. Mu kwerwanako, emmotoka evudde ku kkubo n’egwa kyokka nga wabaddewo…

Read More

Okukuba ku Nyama kikyaamu

Ab’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu bategezezza nga ekyokukuba ku nyama okutta ababissa emmundu bwekitali kyakuddamu okumalawo bubbi bw’emmundu n’obutemu mu ggwanga. Bano bagamba poliisi yandyongedde maanyi mu bukessi nakubeera bulindaala okulwanyisa obuzzi bw’emisango. Akulira akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga  Meddie Kaggwa agamba kino kisoboka nga bakwataganye n’abakulu b’ebyalo ekitaliiwo kati. Poliisi wiiki eno yatukizza enkola y’okukuba ku nyama…

Read More

Dr Tamale abyegaanye

Omusawo amanyiddwa mu kujanjaba  abakyala  Dr Edward Tamale Ssali ebyokuviirako omukyala gwebalongoosa okufa abyeganye. Ono avunanibwa kuvaako kufa kwa  Mercy Ayiru eyamufaako mu ddwaliro lye e Bukoto. Ono era aganye okukuba ebilayiro nga ali mu kooti era nategeeza nga omukyala ono bweyamwekenenya oluvanyuma lw’okumulongoosa nga ali bulungi. Agamba ab’enganda z’omugenzi ono bakiriza omuntu wabwe alongosebwe wano mu Uganda…

Read More

Bad Black bimutabukidde

Mwana muwala Shanita Namuyimbwa bangi gwebamanyi nga Bad Black byongedde okumuddugalira. Ng'akayaali ku kibonerezo eky'emyaaka 4 mu kkomera olw'okufera  eyali muganzi we omuzungu David Green Hagh obuwumbi 11, nate kooti emulagidde asasule engassi ya bukadde 5 eri omuvuzi wa Bodaboda gweyatomera nga aweese mukyala we n’omwana waabwe n'abalumya. Omulamuzi w’eddaala erisooka owa kooti ya City Hall Juliet…

Read More

Abe Kyambogo batikkiddwa

Gavumenti emaliridde okuyingiza nga abayizi ababa batudde siniya ey’omukaaga mu yunivasite zaayo  zonna buli lusoma. Mu biseera bino yunivasite za gavumenti ziwandiisa abayizi buli mwaka nga kino kivaako omugotteko naddala mu kwewandiisa. Bwabadde ayogera ku matikira g’ettendekero lye Kyambogo minister w’ebyenjigiriza , Jessica Alupo ategezezza nga bwebalina okusomozebwa okuva eri amattendekero g’obwananyini go agatandika dda enkola eno. Wabula…

Read More