Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abe Kyambogo beekalakaasizza

Abayizi mu ttendekero e Kyambogo bavudde mu mbeera nebekalakaasa. Kivudde ku bayizi abagambibwa okuba basasula ebisale byonna naye ng’amannya gaabwe tegali ku lukalala. Abyizi bano abamu bategeezezza nga bwebagenda okugenda mu kooti okusaba nti okutikkirwa kw’abayizi kuyimirizibwe okutuusa ng’ebitategerekeka biweddewo. Akulira abayizi, John Mugabi agamba nti mu masomo agamu, abayizi batono ddala abakakasiddwa okutikkirwa kyokka nga bamalayo ebisale…

Read More

Abavubuka ba NRM betemyeemu

Abavubuka mu kibiina kya NRM beetemyeemu ku by’okuwagira pulezidenti museveni. Nga wakayita mbale ng’akulira abavubuka, Joseph Ssewava avuddeyo n’ategeeza nga bwebawagira museveni ate banne b’akulembera bamulumbye olw’okwetulikiriza n’aboogerera nga tebasazeewo Abakulembeze b’abavubuka okuva mu masekkati,buvanjuba n’obukiikakkono bbo bategeezezza nga bwebawagira Amama Mbabazi ku bukulembeze bw’eggwanga era nga gwebalonda Bano bakulembeddwaamu ow’omu bukiikakkono Omodo Omodo nebategeeza nga bwebagenda okuwenjeza…

Read More

Endogoyi eyagala malidaadi

Enjogera y’ekisa kitta etuukidde bulungi ku mboozi eno, Mu ggwanga lya Germany, omukyala atutte endogoyi ewuwe okugiwonya omuyaga yejjusa Endogoyi eno egaanye okuddayo ewaabwe waayo Omukyala ono agambye nti alabye ng’omuyaga guno guyinza okweera endogoyi eno negujiviirako okufa era bw’atyo kwekugyetikka okutuusa ewuwe Endogoyi eno asiiba yeeyagalira mu nju ey’ebbeeyi era nga Kati erya ne ku mmere y’abantu Sebo endogoyi…

Read More

Emmundu ezzemu e South Sudan

Okulwanagana kuzzeemu buto mu ggwanga lya South Sudan. Kuno kwekusoose bukyanga gavumenti n’abayekeera bassa emikono ku ndagano esaba nti okulwanagana kukome Okulwanagana kuno kutandikidde mu kibuga malakal kyokka nga buli omu anenya munne okutandika okulwana kuno Gavumenti egamba nti era okulwanagana kubaluseewo mu bibuga ebitali bimu

Read More

Ekiremesa abaana kizuuliddwa

Abakugu mu nsonga z’okuyonsa abaana bagamba nti bafunye eky’okuddamu eri abaana abatayagala kuyonka Bano bagamba nti abaana bangi bagaana okuyonka olw’ensonga nti ennimi zaabwe ziva tezitambula Abasawo bano wansi w’ekibiina kya NCT bagamba nti kino kikolebwa mu ggwnaga lya Bungereza ate nga ssikizibu lwakuba nti kyetaaga okwongera okusomesa abantu. Wabula bbo abasawo abazaalisa bagamba nti okusiba olulimi lw’omwana…

Read More

Mulemesa olutalo ku mukenenya

Akakiiko akakola ku kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya kalaze okutya olw’okuboolebwa lw’abalwadde ba mukenenya okweyongedde. Bano babadde banukuula ku ngeri amawulire gyegabadde gakolebwaamu ku musawo RoseMary Namubiru agambibwa okugezaako okusiiga omwana omuto obulwadde bwa mukenenya. Akulira akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti abantu bangi batandise okwebwaala okwogera ku bwebayimiridde mu nsonga za mukenenya ate ng’abalala eby’okwekebeza baabivaako prof…

Read More

Etteeka ku buseegu liyise- Teri kwambala nkunamyo

Eteeka ku buseegu liyisiddwa. Omukulembeze w’eggwanga yalitaddeko dda omukono nga kati abanasasanya obuseegu bakukangavulwa. Kati anakwatibwa nga afulumya oba okwetaba  mu kusaasanya ebintu by’obuseegu wakusibwa emyaka 10 oba okusasula engassi ya bukadde 10. Ate bbo abakozesa obutambi n’ebifananayi by’obuseegu nga bateekamu abaana bakusibwa emyaka 15 oba okusasula engassi yabukadde 14. Wansi w’eteeka lyerimu omuntu anasingisibwa ogw’okwambala mungeri eyesitaza gamba…

Read More

Ono akaboozi kamutabula

Omukyala ono atabuse nga ssi nsonga ndala wabula Kaboozi Ashley Marie Prenovost, 24,  nga wa mu kibuga Arizona, akanyizza kusendasenda bba nga talina ky'akola era ky'akoze kukwata mwana waabwe ow'emyezi ena n'adduka naye ngabw'awogganira waggulu nti bamummye akaboozi. Mu Kwecakula kuno, omwana ono akubye omutwe ku ndabirwaamu n'alumizibwa Ono era afunye ebisago kubanga akubye ekisenge ebikonde, era nga…

Read More

Ono yakoowa aba poliisi

Abantu bangi naddala abagoba b’emmotoka bangi obasanga nga bawanda abapoliisi olulusu Bangi bakoma wano naye ssi bangi eri ono abeera mu Kyrgyzstan. Ono yayimiriziddwa owa poliisi era naye n’ayimirira wabula nageze azze mu maaso g’emmotoka n’asimbula Mu kwewala okukoonebwa, omupoliisi abuukidde emmotoka neyenywereza ku bonnet kyokka tekirobedde mugoba wa motoka kugenda mu maaso.

Read More