Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Azadde bana omulundi gumu

Omukyala abadde asuubira okuzaala abaana basatu kumuweddeko n’ow’okuna bw’avuddeyo Omukyala ono ow’emyaka 42 wa mu kibuga Mississippi era nga balongoosezza mulongoose Abasawo bagambye nti omwana ow’okuna omuwala abadde yekweka ng’emyezi gyonna omwenda tebamulaba yadde bakola sikaani ezitali zimu. Abaana bano bonna bawala era nga bakyassiza ku byuuma kubanga bazaaliddwa nga tebannatuuka

Read More

Embuto zisobola obutavaamu

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ensonga ezivaako embuto okuvaamu zisobola okwewalibwa Abanonyereza bagamba nti ekisinga okuvaako embuto okuvaamu naddala mu mawanga agakula edda , mugejjo okuva ku kulya enyo ate ng’ebiriibwa birimu amasavu mangi. Mu ngeri yeemu era abakyala abanywa omwenge n’okukola ennyo naddala mu biseera by’ekiro nabo bali mu bulabe obw’okuvaamu embuto. Ate kino kibaawo nnyo ku bakyala…

Read More

Abalala balumirizza omusawo

Abantu abalala babiri olwaleero bongedde okulumiriza omusawo agambibwa okukuba omwana empiso n’ekigendererwa ky’okumusiiga obulwadde bwa mukenenya. Olwaleero Mariam Sayuuni nga musirikale e wandegeya ategeezezza ng’omusawo ono RoseMary Namubiru bweyamutegeeza nti akikoze mu butali bugenderevu yadde nga teyegaana kusiiga mwana ono obulwadde Omusirikale ono agambye nti omusawo yamugamba nti yali akooye eta nga n’enjala emuluma kale obutetawaanya n’akozesa…

Read More

400 beebafuna mukenenya buli lunaku

Obadde okimanyi nti buli lunaku abantu 400 beebafuna ekirwadde kya Mukenenya. Amyuka akulira ekibiina ekirafubana okutumbula ebyobulamu , Denis Kibira agamba abantu bangi baleese obugayaavu mu lutalo ku mukenenya olwo naye neyegiriisa. Ono omusango agusalidde gavumenti olw’okulemererwa okuteekawo ebikozesebwa mu kukebeza siriimu. Agamba amalwaliro ga gavumenti mangi agamaze kati emyezi 3 nga tegalina bikozesebwa mu kukebera siriimu. Kibira agamba…

Read More

Abasumba gwabasinga- Kkooti

Kkooti enkulu eremezzaawo ekibonerezo ekyaweebwa abasumba abana abagambibwa okuwayiiriza musumba munaabwe Abasumba bano okuli Martin Ssempa, Michael Kyazze, Robert Kayiira ne  Solomon Male balagirwa okukola bulungi bwa nsi okumala essaawa 100 n'okusasula engassi ya kakadde kalamba lwakuwaayiriza omusumba Robert Kayanja nti asiyaga abalenzi abato. Ng'awa ensala ye mu kujulirwa okwakolebwa abasumba bano, omulamuzi Joseph Mulangira agambye nti omulamuzi…

Read More

Abayizi be Kyambogo bazzeemu okwekalakaasa

Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abayizi be Kyambogo abakedde okuddamu okwekalakaasa. Abayizi bano bavudde mu mbeera oluvanyuma lw'okusanga ng'amannya gaabwe tegali kw'ago ag'abagenda okutikkirwa olunaku lw'enkya. Abayizi bano bategeezezza nga bwebamalayo ebisale byonna kyokka nga kibaweddeko okusanga nga tebassiddwa ku lukalala olusembayo. Abantu ku betwogeddeko nabo bali ku nkola ya gavumenti naye nga nabo tebagenda kutikkirwa. Wabula yye omwogezi…

Read More

Okuddukirira obuganda- Enkola yiino

Abaganda n'abaagaaliza obuganda ebirungi bajja kusobolanga okuyambako mu kubukulakulanya. Obwakabaka bwa Buganda olwaleero bukwataganye ne banka ya Centenary okutongoza enkola enasobozesa abantu okutoola nebawaayo okukulakulanya Obuganda. Mu nkola eno omuntu assa ssente ku akawunta ya Bugandaeri mu Centenary Bank era nga wano aba aliko ettofaali ly'atadde mu kukulakulanya Obuganda. Ng'atonza enkola eno etuumiddwa Buganda Twezimbe, Kamalabyonna Charles Peter…

Read More

Omu akwatiddwa nga Katatumba asengulwa

Omuntu omu y'akwatiddwa wakati mu kugoba abapangisa mu kizimbe ekikayanirwa omubaka wa Pakistan mu uganda  Bonny n’omuyindi Shumuk Mukesh. Wabadde wakayita mbale nga kooti eddizza Katatumba ekizimbe kya  Katatumba  ekisangibwa ku luguudo colville  nate Mukesh Shukla afunye ekiragiro kya kooti ekirala ekikyediza Omuduumizi wa poliisi ya CPS , Denis Namuwooza agamba akwatiddwa musirikale wa kampuni enkuumi ey’obwananyini akubye…

Read More

Omusajja asse mutabani we

Poliisi mu disitulikiti ye Manafwa ekutte omusajja wa myaka 56 lwakutta mutabani we wa myaka 16 gyokka. Akwatiddwa ategerekese nga Stanley Tikitiki omutuuka ku kyaalo Bumbo e Manafwa  Omwogezi wa poliisi mu bitundu ebyo Diana Nandawula agamba nti entabwe evudde ku nkayaana za ttaka Omwana ono omulambo gwe gusangiddwa nkya ya leero.

Read More

Musikirize bamusiga nsigo

Pulezidenti museveni asabye wabeewo obukuumi ku ttaka lya gavumenti naddala erisengulwaako ababundabunda Pulezidenti agamba nti ettaka lino lisobola okukozesebwa okusikiriza bamusiga nsigo  mu ggwanga Pulezidenti agamba nti era kino kyakuvaamu emirimu ekinayamba okujja bannayuganda bangi mu bwavu. Pulezidenti abadde ali ku mukolo gw’okutema evuunike ery’okuzimba ekifo ekigenda okukola nga lufula ety’omulembe mu kitundu kye Nakaseke

Read More