Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebbeeyi y’amafuta erinnye

Ebbula ly’amafuta litandise okuluma era nga bangi baliwuliddemu Mu kadde kano amafuta (Petulooli)agabadde gagula 3550 kati ku 3800. Diesel ali ku 3150 Akulira bannayini b’amasundiro g’amafuta mu Uganda Rajeen Taylor agamba nti ebbula lino livudde misoso egiri e Mombasa Wabula newankubade ebbeeyi y’amafuta erabika nga yalinnye bbo abagoba b’ebidduka naddala ebisaabaza abantu kino tekinabanyiga nnyo. Betwogeddeko nabo bagamba nti okwongeza…

Read More

Abasiga ensimbi mu Uganda bakendedde

Omuwendo gwa bizinensi ezatandikibwaawo omwaka oguwedde gwakenderera ddala Alipoota efulumiziddwa ekitongole ekisikiriza bannaggagga mu ggwanga eraga nti emirimu 123 gyokka gyegyatandikibwawo Ku gino ebitundu 20 ku kikumi gyegikyakola ate emirala gyagwa dda Akulira ekitongole kino, Frank Ssebowa agamba nti kino kivudde ku mitendera emingi egiyitibwaamu okutandikawo bizinensi,n’ebbula ly’amasanyalaze ng’embeera tesikiriza bamusiga nsigo

Read More

Museveni yeeyongedde obuwagizi

Obuwagizi   bwa pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo ku bwa pulezidenti bulabika nga bukula buli lunaku Bannakibiina kya NRM ababeera ebweru w’eggwanga bakwataganye okuwagira nti Museveni addemu okwesimbawo Bano batudde mu kibuga London era nebavaayo n’ekiwandiiko nga kiwagira Museveni Kino kissiddwaako omukono gw’abakulira Patrick Asiimwe nga bagamba nti teri Muntu asaanye kwesimba ku Museveni mu mwaka 2016 Bano wabula bongedde okusaba…

Read More

Tujja kukuba ku Nyama- Kaweesi

Poliisi mu Kampala erayidde okuttukiza enkola y’okukuba ku nyama b’ekwatira mu bubbi. Kiddiridde okuttibwa kw’abadde akulira poliisi ye Kajjansi Joseph Bigirwa. Akulira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti bagenda kukozesa etteeka lya poliisi eribakkiriza okukuba amasasi ku nyama mu ngeri y’okwerwanako Ono agamba nti kirabika ababbi balina ekigendererwa ky’okunafuya poliisi ate nga kino tekijja kusoboka.

Read More

Ogw’omusawo gwongezeddwaayo

Okuwulira omusango oguvunaanibwa omusawo agambibwa okusiiga omwana obulwadde bwa mukenenya kwongezeddwaayo okutuuka nga 19 omwezi guno Olwaleero kkooti ewulirizza obujulizi okuva eri omupoliisi Richard Wekuyo ng’ono yeeyakulemberamu abayaza amaka g’omusawo ono Rose Mary Namubiru Ono agambye nti nga batuuse mu maka g'omukyala ono , basangayo emikebe gy’eddagala eriweweeza ku mukenenya era nga kyeyoleka bulungi nti mulwadde Ono mujulizi…

Read More

Tebakutiisatiisa- ababaka ku bisiyaga

Abamu ku babaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga basabye pulezidenti museveni obutatitiiira asse omukomo ku tteeka ly’ebisiyaga Kiddiridde akulira eggwanga lya merica Barrack Obama okulabula Uganda kukuyisa etteeka lino ly’agamba nti liyingirira embeera z’abantu Ababaka okuli Martin Muzaale ne Patrick Nsanja bagamba nti kuno kutiisatiisa era nga Uganda keekadde eyimirire okulaga nti yetongodde. Ababaka bano bagamba nti Uganda ssi…

Read More

Eyawambye enyonyi akwatiddwa

Omuvuzi w’enyonyi owokubiri abadde awambye enyonyi ya Kampuni ya Ethiopian Airlines kyadaaki akwatiddwa. Enyonyi eno ebadde eva mu kibuga Addis Ababa nga edda  Rome,bwatyo sempala ono n'agiwamba era nagiwaliriza okukakana mu ggwanga lya Switzerland. Ono olutuuse mu kibuga Geneva asabiddewo obububudamu munda mu ggwanga lino wabula oluvanyuma n'akwatibwa. Ono okuwamba enyonyi eno asoose kulunda munne bwebavuga enyonyi nga…

Read More

Aba Taxi babayiribya

Abagoba ba taxi mu Kampala balaze obutali bumativu olw’engeri kcca gyebagobaganyaamu okuvva mu bifo eby’enjawulo gyebabade bakolera Bino webigidde nga KCCA kyegye egobaganye emotoka ezibadde zikolera mu cooper complex nga kw’ogasse nabade badukidde e nsambya abagobeddwa amakya galeero  nga bonna eyagala bedde mu paaka ya Usafi. Yye ssentebe wekibiina ekitaba abagoba kko ne ba conductor ba taxi…

Read More