Enjovu zisse abantu basatu ku kyaalo Lwari mu disitulikiti ye Oyama
Ensolo zino zibadde zitolose mu kuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls
Amyuka omwogezi wa poliisi Patrick Onyango abattiddwa abamenye nga
Ronald Okori , Vincent Obua ow’emyaka 70 ne Edward Ninya owe 60
Abatuuze bawanjagidde aba’ebisolo by’omunsiko okubayamba ku nsolo zino okwewala okufiirwa abantu abalala
Poliisi etandise okunonyereza ku kufa kw’omusirikale .
Omusirikale ono afiiridde mu kuwanyisiganya amasasi okubadde e Nalumunye nga poliisi erwana n’ababbi
Poliisi esoose kutegeezebwa nga bwewabaddewo omubbi ayingidde amaka kyokka okutuukawo nga bangi ate nga balina emmundu
Amyuka omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango agaba nti omugenzi ategerekese nga Nelson Tugume.
Onyango agamba nti wabula basobodde okutta ababbi 2.
Bano bategerekese nga…
Ebyewunyisa tebiggwa munsi naye mu ggwanga lya Brazil namukadde ow’emyaka 84 asangiddwamu omwana atanazalibwa mu lubuto lwe nga yakamalamu emyaka 44.
Namukadde ono agamba nti yali amanyi olubuto lwavaamu kubanga omwana yali takyekyuusa.
Wabula yatandise okulumwa ebisa nga ate ku kyalo tekulu basawo batendeke kwekusalawo okwolekera eddwaliro lya Porto Nacional eno gyebakamutemedde nga bwalina omwana munda.
Ono olumaze…
Omuzanyi wensambaggere Moses Golola afunye omutendesi omulala agenda okumuyambako okwetegekera olulwana ne Ronald Mugula omwezi ogujja.
Zebra Senyange yemutendesi agenda okutendeka Golola era amakanda bagatwala Tanzania mukibuga Dar es Salaam olunaku lwaleero okutuuka nga 4th Omwezi ogujja.
Golola agenda kulwana ne Mugula nga 7th March omwezi ogujja ke Freedon City mululwana olutali lwa musipi.
Olunaku olwaleero abakozi ba leediyo lwebakuza olunaku lwabwe okwetoloola ensi yonna.
Olunaku luno lutambulira ku mulamwa gwokutumbula embeera z’abakyaala mu mulimu gwa leediyo.
Yadde nga omulimu gwa leediyo gusingamu basajja , waliwo abakyala abamu abamaanyi abasobodde okuyitimuka mu mulimu guno era bano basabye ne banaabwe okulemera ku nsonga okubeera nga bakyuusa eggwanga
Abantu bangi balwaawo nga tebaliiko bagalana era nga bawulira okiwuubulo emirundi mingi nga tebalina ababeezabeeza
Kati nno abazungu engeri gyebayiiya buli kimu bayiyiiza ka pillow akaliko n’emimwa abatalina bagalwa kebanakozesanga okweyigiriza oba obuterebira bwebanywegeera
Bu pillow buno bukoleddwa mu kibuga Florida ekya America nga buyamba ko abo abamenyeka emitima nabatamanyi kunywegeera
Akoze bu pillow buno agambye nti abukoledde…
Tiimu ya Don Bosco okuva mugwanga lya Democratic Republic of Congo etuuka wano mukampala olunaku lwenkya kumakya okuzanya ne Victoria University mu mupiira ogwokudingana mukikopo kya Africa Confederations cup olunaku lwa Sunday.
Club ya Don Bosco yakujjira kunyonyi empangise nabantu 35 nga bagenda kusuzibwa ku Metropole Hotel wano mu Kampala.
Omupiira ogwasooka week ewedde,team eno yakuba Victoria…
Wabaddewo akasattiro mu palamenti ya Buyindi, omubaka bw’akubye omukka gwa kamulali mu banaabwe.
Omubaka ono yoomu ku babadde bawakanya eky’okutondawo ekibuga ekimanyiddwa nga Telangana mu bukiikaddyo bwa Buyindi
Ababaka abawera baddusiddwa mu ddwaliro nga bali bubi ate nga yye omubaka akoze kino ategerekese nga Rajagopal,awummuziddwa
Olwaleero lunaku lwa bupiira bukali mpitawo mu nsi yonna.
Mu Uganda olunaku lukozeseddwa okwongera okubangula abantu ku ngeri y’okukozesaamu obupiira ate nga mu bitundu ebitali bimu obupiira bugabiddwa
Ab'ekibiina kya AIDS HealthCare Foundation nga bayita mu Uganda Cares bayimiridde ku nkulungo z’omu kibuga omuli wandegeya, ku bbiri, Mulago jjinja road ne Katwe ng’abantu bafunye obupiira bwa bwereere.
Akulira…
Abantu bataano beebawereddwa ebitanda oluvanyuma lw’okukwatibwa omusujja gwa mulalama.
Bano basiibuddwa mu distulikiti ne Arua ne Adjumani
Ku lunaku lw’okubiri ,minisitule ekola ku by'obulamu yakakasa nti mulalama yali abaluseewo mu bitundu ebya West Nile era ngabantu abawerera ddala 36 baali bamaze okumufuna.
Omwogezi wa minisitule y’eby'obulamu Ruka Nakamatte agamba nti wabula abalwadde abasigaddeyo bazze baweweera
Nakamatte agamba nti bakola…