Tiimu y’eggwanga lya Iran ey'abakyala ey’omupiira egobye abantu 4 ku tiimu eno lwakusangibwa nga balina ebitundu by’ekyama eby'abasajja n’eb'yabakyala.
Bano bewozezaako nga bwebewulira nga abakyala era bagenda kulongosebwa basigale n’obwerere obwa bakyala naye nga buterere.
Wabula abakulira tiimu eno babasuubizza okubazza ku tiimu amangu ddala nga bamaze okubalongoosamu obukyala.
Abazungu tebaggwa kuyiiya era nga bakozesa buli mukisa
Kati bbo abalina ettaka elyetolodde enguudo z’eggali z’omukka bagaanye okufiirwa nga balizimbyeemu enyumba
Enyumba eno kati etundibwa ku bukadde bwa pawunda 2 kyokka nga bw’obeera ku lubalaza lwaayo osobola okubuuka n’ogwa ku nyonyi.
Abagiranga bagamba nti tetawaanya nga nebwooba okooye obuuka katono n’ogwa ku gaali y’omukka n’ekutwaala
Kino kyebayita okuyiiya n’obutakkiriza…
Enyonyi y’amaggye ga Algeria egudde n’efiiramu abantu abasoba mu 100
Enyonyi eno egudde mu nsozi ezimanyiddwa nga Ouma Al Boughi okusinziira ku zimu ku Tv mu ggwanga lino
Kigambibwa okuba nti akabenje kano kavudde ku mbeera ya budde ng’eremedde omugoba waayo n’ekoona olusozi
Abaddukirize bamaz okusindikibwa mu nsozi zino okuyamba ku bayinz aokuba nga balamye n’okujjayo emirambo gy’abafudde
Ekibinja ky’ababaka okuva ku palamenti bakanze nga bwebagenda okwekalakaasa .
Ensonga eva ku nteekateeka y’okuwola abayizi ensimbi kusoma nebasasula nga bamaze okufuna ku mirimu.
Kiddiridde amawulire okufuluma nga galaga nti gavumenti yakusaba bayizi bano okuwaayo emisingo okufuna ensimbi zino
Ababaka okubadde Gerald Karuhanga ne Joseph ssewungu agamba nti kino tekyalimu nga bayisa enteekateeka eno.
Buno babuyise bubbi bwa nkukunala…
Poliisi ekutte abafere ababadde bajja ensimbi ku bantu mu mankwetu nga befuula ba bulooka b’ettaka
Bano babadde basuubiza abantu okubafunira ebyapa kyokka nga tebakikola ate lwebatuukirizza nga babawa bicupuli
Akulira poliisi ye Wandegeya, Brian Ampiire agamba nti omu ku bano ye Fred Kasumba agamba nti mutuuze we mukono.
Abadde ababa Nicholas Tumusiime obukadde 20 okumuguza ettaka e bbira…
Gavumenti kyaddaaki ewerezza eddagala lya kokoolo mu ddwaliro e Mulago
Kiddiridde abakulira eddwaliro lino okwekubira omulanga nga bayita ku mukutu guno nga bategeeza nga abantu bataano bwebafa buli lunaku olw’obutabaawo ddagala
Eddwaliro lino libadde lifuna abantu 150 buli lunaku naye nga bataano kubano bafa kubanga babadde tebalina kyakubakolera
Ab’ekitongole ekikola ku by’eddagala olwaleero bevuddemu nebaweereza eddagala
Wabula omwogezi w’eddwaliro…
Bannakibiina kya NRM abagaala okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga ku bendera y’ekibiina bandiba nga baloota
Ababaka ba palamenti aba NRM abatudde e Kyankwanzi balabudde abo bonna abagaala okwesimbawo obutamala budde wabula bawagire pulezidenti Museveni
Kino kizze nga bano bakamala okwekolamu omulimu okusaba nti pulezidenti addemu okwesimbawo.
Omwogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM, Everln Anite agamba nti abakulu bonna abayinza okwesimbawo…
Wabaluseewo obulwadde bwa poliyo mu ggwanga lya Afghanistan mu kibuga Kabul
Omwana omuwaka y’akakasiddwa okuba n’obulwadde buno obwaali bwasemba okulabikako mu mwaka gwa 2001.
Ministule y’ebyobulamu mu ggwanga lino emaze okulagira nti wabeewo kugema abaana bonna
Obulwadde bwa poliyo bukyaali kizibu mu mawanga agatali gamu omuli Pakistan Afghanistan ne Nigera
Mu mawanga gonan aasatu agakyalimu obulwadde buno, kivudde ku…
Ebbula ly’eddagala ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago likyagenda mu maaso n’okuluma
Tuzzeemu kugenda ku ddwaliro lino ng’abalwadde bangi bakonkomalidde wabweeru w’eddwaliro nga basobeddwa
Akulira eddwaliro lino Dr Jackson Oryem agamba nti abajja babagamba kugenda wabweru gyebaba bajja eddagala kyokka ng’abamu tebalina ssente kubanga lyabuseere.
Dr Oryemu agambye nti obulwadde bwa kokoolo buzibu nnyo ng’eddagala lyaabwo zzibu ate…
Buli Muntu abeera n ‘ebigendererwa mu bulamu.
Ebimu ku bintu abantu byebagaala ennyo y’emmotoka era buli afuna ssente agirowozaako.
Mu Bungereza omukyala aguze emmotoka nga ky’ayagala kugitomza supamaket ebadde yamutama
Omukyala ono kino akituukirizza nti abadde yakagula emmotoka ye n’agiyisa mu ka spuamaket k’okukyalo.
Kino ssi lw’asoose okukikola, yakikolako emyaka 15 emabega
Omukyala ono ow’emyaka kati 52 ategeezezza poliisi nti…