Abasawo bakakasizza nti okumira obukerenda obuzzaamu omusaayi emyezi esatu ng’omukazi tanafuna lubuto kyamugaso nyo okusinga okubumira ng'omukyala ali lubuto
Omusawo okuva mu ddwaliro e Mulago Dr. Moses Othin agambye nti obukerenda buno bulimu ekirungo kya Victim B obuyamba omwana ali mu lubuto.
Ono era sgambye nti abakyala abamira obukerenda buno nga bali mbuto kibayambako okulwanyisa ekirwadde ky'omutima…
Obwakabaka bwa Uganda bukakasizza nti Kamala byonna wakugenda mu maaso n’olugendo lwe mu kitundu kye Ankole
Okukakakasa kuno kuddiridde okutiisatiisa okuva eri ekibinja ky’abavubuka ekimu e Ankole nti babadde tebakkiririza mu kya Katikkiro kubakyalira era nga babadde bakulemesa olugendo luno
Omwogezi wa Buganda oweki Denis Walusimbi Ssengendo agamba nti bakwataganye ne poliisi kko n’abakulu mu Ankole okulaba…
Poliisi ekakasizza nti omuliro ku bbanka enkulu ey’eggwanga gwavudde ku byuuma ebyookya ssente enkadde okwekuuba
Akulira abaziinya mooto Joseph Mugisa agamba nti guno gwabadde mulundi gwakubiri mu myaka mukaaga ng’omuliro guno gubalukawo ku byuuma bino
Wabula ono agamba nti byonna byateredde nga n’emirimu kati gitambula bukwakku
Wabaddewo akasattiro mu banka eno eri ku luguudo lwa kampala , olunaku…
Minisitule ekola ku byenjigiriza amaaso egenda kugassa ku babba ebigezo n’empisa ensiwuufu mu masomero
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr Rose Nassali agamba nti obuyisa obusiwuufu bususse mu masomero ng’abaana batuuka n’okunywa enjaga
Ono agamba nti bagenda kukwatagana n’abakulembeze b’amasomero okulaba nti watemebwaawo emakubo eg’okulwanyisaamu ekizibu kino.
Omukolo ono ebigambo bino abyogedde agggulawo okusunsula mu bayizi abagenda okugenda…
omusawo owemyaka 64 agambibwa okwefumita olugalo n’empiso namala nagikuba omwana namusiiga siriimu kooti emuganye okweyimirirwa.
Omukyala ono yasabye yeyimirirwe kubanga akuliridde mu myaka nga ate mulwadde wa Mukenenya eyetaaga okujanjabibwa.
Wabula omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Olive Kazaarwe akamutemye nti tafaayo n’eLuzira abalwadde ba siriimu babajanjaba bulungi ddala.
Omulamuzi ategezezza nti omusango guno munene nga aguzizza tayinza…
Adam Sulaiman Kalungi nga ono y’eyali muganzi w’omugenzi Cerina Nebanda eyali omubaka omukyala ow’eButalejja asibiddwa emyaka 4.
Bwabadde amuwa ekibonerezo kino, omulamuzi wa kooti ento eye Makindye Esther Nambayo ategezezza nti kalungi yalagajalira omugenzi Nebanda okumutwala mu ddwaliro bweyamusanga nga ataawa ekyamuviirako okufa.
omulamuzi era ategezezza nti okufa kwa Cerinah Nebanda kwava ku bitundu bye ebyomunda byonna…
Abantu abalina okutawanyizibwa mu bulamu basabiddwa bulijjo okujjumbira abantu ababudabuda abantu bayite ba kansala.
Akulira eddwaliro lye butabika, Dr David Basangwa agamba nti abantu bangi balina okunyigirizibwa ku bwongo nga batuuka n’okwetuga
Dr Basangwa agamba nti abantu bangi batendewalirwa era gyebiggweera nga bakoze ebitajja
Ono agamba nti ebyembi nti abantu ebitundu 2 ku bisatu balina obuzibu buno naye…
Loodimeeya wa kampala Erias Lukwago azzeemu okuddukira mu kooti ku kiragiro ekyayisibw akooti nti adde mu ofiisi ye
Loodimeeya ayagala abantu bataano bayitibwe mu kooti nga bano abalumiriza okuba nti beebamulemesezza okudda mu ofiisi
Mu bano kwekuli akulira abakozi mu kampala Jenifer Musisi, akulira poliisi mu kampala, Felix Kaweesi,aduumira poliisi Kale Kayihura,minista wa kampala Frank Tumwebaze ne…
Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu ba RDC ng’asudde bangi ate n’aleeta abapya
Enkyukakyuuka zino zirese nga Aisha Kabanda ye RDC wa kampala .
RDC we Nakawa kati ye Jackie Kemigisha Kiiza, owe Kawempe ye Mercy Deborah Nabukenya, owe Deborah Mbabazi, owe Makindye ye Henry kitambula ate ow’omu masekkati ye Allan Kajik
Abadde RDC we Kampala, Mpimbaza Hashaka kati…
Omuliro gukutte Banka enkulu ey'eggwanga.
Abaziinya mooto batuuse mu kitundu nga akola kyonna ekisoboka okulaba nti tegubuna.
Tekinnategerekeka oba omuliro guno guvudde ku ki