Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebya Museveni okwesimbawo bitabudde bangi

Ebya pulezidenti museveni okusembebwa okuddamu okwesimbawo bikyayogeza abantu ebikankana Omubaka akiikirira ab’omu bugwanjuba, Gerald Karuhanga agamba nti okuddamu okukakasa museveni okwesimbawo kiraga nti ekibiina kino tekiriimu Demokulasiya. Ekya Museveni okuddamu okwesimbawo kigambibwa okuba nga kyatandikiddwa ababaka Evelyn Anite, John Ssimbwa ne Barbara Nekesa era nga ssinga kyebagaala kiyitamu, pulezidenti Musevenia ganeda kuba yesimbawo omulundi ogw’okutaano Karuhanga agamba nti…

Read More

Amasomero matono agalina ebisanyizo

Nga KCCA ekyagenda mu maaso n’okusunsula mu masomero okulaba agalina ebisanyiizo, yakafunamu amasomero ga nasale 33 gokka ku masomero enkumi 2000 agali mu kibuga Omwogezi w’ekitongole kino Peter Kawuju agamba nti bakyagenda mu maaso n’okutuuka mu masomero gano nate nga mangi gali mu mbeera mbi ddala. Aba KCCA bazzeemu okujjukiza abazadde ku ky’okulambula amasomero g’abaana baabwe okulaba…

Read More

E Mulago teri ddagala lya Kokoolo

Embeera ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago yeeralikiriza. Obadde okimanyi nti buli lunaku abantu bataano beebafa olw’obutabaawo ddagala. Eddwaliro lino kati kumpi emyezi ebiri nga terifuna ddagala. Kino kikakasiddwa amyuka akulira eddwaliro lino, Dr Victoria Walukansa Dr Walukansa agamba nti buli lunaku bafuna abalwadde 150 nga bataano ku bano bafa buli lunaku olw’obutabaawo ddagala. Abasinze okukosebwa be baana n’abakulu abalina…

Read More

An’abba ez’amasiro njakumunyoola omukono-Katikkiro

Katikkiro wa Buganda Ow'ekitiibwa Charles Peter Mayiga aweze okufafagana n’omuntu yenna anemolera ku nsimbi z’obwakabaka bwa Buganda. Katikiro ategezezza nti abantu ba SSabasajja befiirizza bingi okusonda ensimbi okudukanya emirimu mu bwakabaka bwa Buganda nga tagenda kuttira Muntu yenna ku liiso anakwatibwa nga azzemu engalo ey’omukaaga Bwatuuse ku nsimbi z’amasiro ategezezza nga akawumbi akasoba mu kalamba bwekakasondebwa  era…

Read More

Ssemaka yetugidde mu kabuyonjo

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo kyebe mu gombolola ye kyebe mu district ye Rakai, ssemaka atemera mu gy’obulu 42 bwasazeewo okwetugira mu kabuyonjo. Paulo Lubega yaasangidwa mu kabuyonjo nga alengejja, wabula nga kigambibwa nti entabwe yandiba nga yavudde kubbula lya nsimbi. Betty Nakawombe nga yemukyala w’omugebnzi, ategeezeza nti baawe yakomyewo kiro nga munakuwavu,namutegeeza nti tafunye nsimbi nga…

Read More

Omubaka akwatidwa lwa kuvugisa kimama.

Police etegeezeza nga bw'ekute omubaka akiikirira ekitundu kye Buyaga eyo’bugwanjuba Banabaus Tinkasiimire ,nga ono bamuvunaana kuvugisa kimama. Ono yakwatidwa kawungeezi kayisse mu kibuga kye kibaale , oluvanyuma lw'okusangibwa  nga avuga emotoka obuteebalira kko n’abantu abalala abakozessa oluguudo. Amyuka omwogezi wa police mu uganda patrick Onyango, atubuulide nti mukaseera kano police ekyafuba okukola ku  musango gw'ono , era…

Read More

Mbarara ayuguumye nga Katikkiro asonda eza Masiro.

Kamala Byonna wa Buganda owekitiibwa Charles peter Mayiga asiimye esssanyu n’ebbugumu eribadde e Mbarara ng’alambula abantu be. Kamala byonna olwaleero olusiisira lw’okusonda ez’amasiro alukubye Mbarara . Oweki Mayiga agamba nti asanyuse ntia bantu bagala Obuganda era n’asaba n’abennono endala okuzitumbula Mu kusooka wabaddewo okutya nti okukyala kwa katikkiro kwandirinyibwaamu eggere olw’abavubuka okuva mu Ankole okuwera nga bwebadde bagenda…

Read More

KCCA esenze obuyumba

Ekitongole kya Kampala capital city authority kikedde kusenda bizimbe ebiri mu maaso g'akatale ke wandegeya Mu bisendeddwa kwekuli n'ekizimbe okubadde akafo akaganzi aka Chicken Tonight. Abasirikale ba KCCA obwedda abakolagana ne poliisi bategeezezza ng'abasuubuzi bonna abasendeddwa bwebalabulwa nate nga tebafaayo. Yye ekulira poliisi ye wandegeya, Julius Tusingwire agamba nti bakusigala nga bakuuma ekifo okulaba nti tewabawo kavuyo Abasuubuzi abakoseddwa…

Read More

Teri kuva South Sudan-Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Museveni agamba nti amaggye ga Uganda gakusigala mu ggwanga lya South Sudan Amaggye gano gabadde ku ludda lwa gavumenti ya South sudan okulwanyisa abayekeera abakulirwa Riek Machar Ng’ayogerera mu lusirika lw’ababaka ba NRM olwaleero, pulezidenti asekeredde abasaba mu amaggye gaveeyo ng’alumiriza nti miriraanwa gya Uganda girina okuba nga gitebenkedde olwo ne wano wabeewo emirembe Mu ngeri yeemu…

Read More