Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

pulezidenti alabudde abajaasi ku mpisa

Pulezident Museveni akandudde eddoboozi ku bajaasi abenyigira mu bikolwa by’ekko ng’okukaka abakyala omukwano Ng’ayogerera ku mikolo gy’olunaku lwa Tarehesita,pulezidenti agambye nti kyenyamiza okuwulira amawulire g’abajaasi abakaka abakyala omukwano, ababatta, ababba n’ebikolwa ebirala kubanga biswaza. Ono agamba nti empisa kikulu nnyo mu maggye nga tajja kukkiriza muntu yenna ayonoona linnya lyaabwe

Read More

Essasi liramudde

Abasajja bangi abakyala babakubira amasimu nebagatunulako nebaleka awo nga tebagakutte Eyakikoze mu kibuga Florida mmundu yebimaze. Omuwala ono abadde amaze emyaka 2 nga bayomba ne bba era lwabutakwaata ssimu kyokka nga ku luno yamujjiddeyo emmundu era nebatandika okugirwanira Mu butanwa essasi lyakubye omusajja era nga poliisi w’ejjidde ng’ali ku ttaka avaamu omusaayi

Read More

Aba NRM batuula nkya

Ababaka mu kibiina kya NRM baddamu olw’enkya okwesogga akafubo ku nsonga z’etteeeka ly’ebisiyaga Ensonga eno y’eri ku mwanjo ng’ababaka basisinkana ekyankwanzi Owmogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti, Everlyn Anite agamba nti wakyaliwo okukubagana empawa ku tteeka ly’ebisiyaga oluvanyuma lwa pulezidenti okwemulugunya ku kuyisibwa kwaalyo Omwezi oguwedde, Pulezidenti yawandiikira spiika Kadaga ng’amutegeeza ng’okuyisa etteeka lino bwekwakolebwa mu kupapa. Gwo…

Read More

Ez’obutale zaabula

Abakungu okuva mu minisitule ekola ku gavumenti ez’ebitundu batunudde ebikalu nga bakunyizibwa ku nsimbi z’obutale mu kampala. Ensimbi ezoogerwaako ziwerera ddala obuwumbi 3 nga zaali zakugula ttaka lya kuzimbako butale e Kalerwe, Kitintale ne Nakulabye Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku gavumenti z’ebitundu, Patrick Mutabwire akkirizza nti ensimbi zino bazikozesa mu birala kyokka abadde akyanyonyola ababaka nebamucoomera. Ababaka…

Read More

Obuduuka bw’eddagala bulabuddwa

Ab’ekitongole kya KCCA olwaleero basisinkanye ab’obuduuka obutunda eddagala mu Kampala mu kawefube w’okutereeza omulimu guno. Eno gyebategerezeddwa nga lisinsi zaabwe bweziggwaako ku nkomerero y’omwezi guno era nga balina okuzizza obujja Akulira eby’obulamu mu KCCA, Dan Okello agamba nti era bagenda kunyweeza amateeka ku buduuka buno kubanga bungi buvuddeko abantu okufa Okello agambye nti era teri kaduuka kagenda kuweebwa…

Read More

Abalombe bakyabuze

Nabuli kati mu gwanga lya south Africa abaduukirize bakyagenda mu maaso nokunoonya abalombe 17 abakyalemedde wansi mukirombe ekya Doornkop  ekyagudemu mu kibuga Johannesburg. Abadukanya ekirombe kino ekya Gold bategeezeza nga bwebawulizza abalombe 8 abakyali mutaka era nga basuubira nti akade kona babatuukako Bano okufuna obuzibu kivudde kumyliro ogukutte ekifo kyona, olwo abakoz bebabuna emiwabo

Read More

Amasomero gagaddwa

E Kasese amasomero 26 gagaddwa lwabutaba na bisanyizo byetaagisa . Akulira eby’enjigiriza mu district eno  Emmy Kayiri agamba nti kino kigendereddwamu kutereeza ntambuza ya mirimu mu masomero gano okuyitimusa omutindo gw’amasomero. Agamba amasomero agasinze okugalwa gasangiddwa nga tegalina basomesa batendeke, eby’obuyonjo nga bikuba enkyukwe nga ate byo ebizimbe ebisinga bibadde bikutte mu mbinabina.

Read More

Ab’amaggye balongoosezza

Olunaku olwaleero amaggye gakoze bulungi bwansi nga era gatandikidde mu katale kewa kisekka gyebalongoserezza ebifo ebyenjawulo. Bino by’ebimu ku bikujuko ebikulembedemu okukuza olunaku amaggye ga NRM lwegasooka okulumba Barakisi ye Kabamba nga 6 omwezi guno. E Wa Kisekka wabula obwedda emirimu bagikola bafuna okucookozebwa okuva eria basuubuzi obwedda ababasaba bazannyemu mu ngeri y'ekisaazi Embeera ebadde yeemu ne mu…

Read More