Obunzaali obusinga obungi ku katale bujingirire.
Obusinga obubi bwebwo obusibibwa mu buveera nga bukoleddwa mu laagi ez’enjawulo.
Akulira ekibiina ekigatta bannamakolero , Sebaggala Kigozi agamba nti obunzaali buno bulimu ebirungo ebikyaamu era eby’obulabe eri obulamu b’omuntu
Obunzaali buno bwa bika 20 kyokka nga tayogedde bika byaabwo.
Kooti yakutandika okuwulira okwemugulunya kw’eyali meeya wa kampala Alhajji Nasser Ntege ssebaggala nga yemulugunya ku bamujerega ku luzungu
Yawaaba ba kkampuni ya MTN lwkaukozesa bigambo bye eby’oluzungu mu buyimba bwaayo eri ba kasitoma
Sseya agamba nti aba MTN tebamwebuuzaako kukozesa doboozi lye
Ayagala kooti ayise ekiragiro ekiyimiriza MTN okukozesa ebigambo bye ayagala era ku buli kasitoma eyakozesa akayumab…
Bakadde b’omwana omuwala wa myaka 12 basobeddwa eka ne mu kibira
Kiddiridde omwana waabwe okujja yenna kumpi kuggwaawo nga yeebase
Ekyewunyisa nti omwana ono ku mufaliso kweyabadde yeebase tekuliiko kiraga nti wabaddewo omuliro yadde amasuuka geyabadde yeebisse
Christine Komuhangi ali mu kibiina kya kutaano nga yenna aleenya ng’omuntu ayidde omuliro yenyini
Omwana ono agamba nti yabadde yebase agenda okudda…
Ensonga y’ebikolwa bya sodoma ekutte wansi ne waggulu.
Poliisi mu Kampala ekutte abantu bataano ababadde batumbula okulya ebisiyaga
Kiddiridde abaana abalenzi bataano okuwaaba emisango nga bonna bagamba bakolebwaako ebya sodoma
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Ibin ssenkumbi agamba nti abaana basatu ku bano babadde basiigiddwa siriimu.
Asabye abazadde obutajja liiso ku baana baabwe ng’agamba nti ebisiyaga bitabuse ennaku…
Kizuuliddwa nti abantu ebitundu 2 ku bisatu abagenda mu ndongo omuziki gusigala gubakubira mu matu.
Kino kivaako bangi okufa amatu.
Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bantu 1,000 ababadde banyumirwa ebinyumu.
Abasawo bano bagamba nti kyandibadde kirungi omuntu n’ayamba obuuma obukuuma amatu obutayonooneka olw’embekuulo ebeera mu binyweero.
Obadde okimanyi nti okuboggolera omwana kimukosa
Abasawo bagamba nti buli mwana lw’aboggolerwa akyuukako ku bwongo
Dr Charles Kasozi okuva e Mulago agamba nti kiba kirungi omuzadde n’awuliriza omwana oba okwogerako naye
Musawo agamba nti okuwogganira omwana kikosa obuvumu bwe era bangi ku baana abayita mu mbeera eno bakulu bebwaalabwaala.
Abantu abawerako e magombe basimbyeyo kitooke oluvanyuma lw’akabenje k’emmotoka akagudde e Lweza ku luguudo oluva e Kampala okudda Entebbe emu ku mmotoka neva ku luguudo nesabala saluuni ebadde okumpi.
Akabenje kano kaguddewo amakya ga leero wakati wa Pajero n’emmotoka endala ekika kya Spacio namba UAP 880D ezitomereganye.
Byo ebintu ebyenjawulo byononese nga ne poliisi yabakanye dda n’ogwokunonyereza…
Poliisi e Jinja ekutte omusomesa omulala ow’emyaka 26 lwakusiyaga muyizi we ow’emyaka 14.
Akulira poliisi ye Bugembe,Patrick Nuwagaba agamba nti akavubuka kano yakalimbidde ku nviiri bweyakatutte ewa kinyoozi nebakasalako enviiri.
Bwebavudde wano n’akagulira empale empya wano n’akatwaala ewuwe.
Wabula akaana kano kakubye enduulu eyasombodde abantu abayise poliisi n’ekwata omusajja ono.
Kino okubaawo nga wakayita wiiki mbale ng’omusomesa omulala mu…
Ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga kirabudde abantu ku bebayise abafere abeefuula abafunira abantu paasipoota
Kiddiridde okukwatibwa kw’omusajja agambibwa okuba ng’abadde afunira abagwiira paasipoota
Omwogezi w’ekitongole kino, Benjamin Katana agambye nti omusajja akwatiddwa ye Eddy Kalule n’omuyindi abadde mu ggwanga mu bumneyi bw’amateeka Deepak Pahalajani
Katana agambye nti tebakkiriza ba bulooka ba paasipoota n’alabuala bantua basasula abalala…
Abayizi abasoba mu 950 beebatikkiddwa ku ttendekero kya techonoligya e Mbarara
Bano baweereddwa diguli ne sipulooma mu masomo agatali gamu
Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutikkira abayizi, minisita akola ku byenjigiriza Jessica Alupo nti abayizi abatikkiddwa bagenda kuyamba okuzibikira ebituli mu kisaawe kya tekinologiya ekitaliimu bantu bamala
Ono asiimye banaka ekola ku by’enkulakulana olw’okussa ensimbi mu pulojekiti ezitali zimu omuli…