Omukozi mu kifo ekiriibwaamu emmere, mu ssanyu eringi akubye omulanga, abazze okulya bwebamusasulidde amasanyalaze g’omu maka ge
Khadijah Muhammad abadde alemereddwa okusasula amasanyalaze oluvanyuma lw’okukozesa ensimbi zonna z’afuna ku mulimu kujjanjaba nyina abeera mu kibuga Ohio ekya America.
Omuwala ono yakubisizza akapappula keyassizza ku nju ye ng’asaba obuyambi kyokka nga yabadde tamanyi nti kiyinza okuvaamu ebibala amangu…
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu abatandise okusuula kasaasiro ku bbugwe w’amasiro nti kakubajutuka.
Katikiro agambye nti buli muntu alina okubeera mbega wa munne okulaba ng’obuyonjo bukuumibwa mu masiro ge Kasubi.
Katikiro agambye nti omuntu yenna anakwatibwa ng’asuula ebisasiro wamu n’okusalimbira mu masiro ge Kasubi wakutwalibwa mu mu mbuga z’amateeka babitebye.
Zzo ensimbi ezisoba mu bukadde…
Kkanisa ya Uganda ebaze ku mulimu gw’okuzimba ekifo awanakuumirwa ebyafaayo ku bajulizi e Namugongo
Ekifo kino ekiteberezebwa okuwemmenta obuwumbi 36, kigendereddwaamu kulaba nti ebyo byonna ebikwata ku bajulizi bikuumwa bulungi kubanga bikulu eri abakkriza mu nsi yonna
Ssabasumba wa Uganda Stanley Ntagali agambye nti ekifo kino kisikiriza abalambuzi okuva mu bitundu by’ensi ebitali bimu n’eggwanga nga ssinga…
Omuvubuka azuukuse n’asanga ng’awabadde emmotoka ye waliwo ekinnya ataddeko kakokola tondaka nyuma .
Omuvubuka ono adduse n’ayita nyina ne kitaawe omuto nebabulawo nga batya nti beebaddamu okubulira mu ttaka
Abakugu mu mbeera z’obudde batandise okunonyereza ekivuddeko ekintu kino
Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga kyaddaaki avuddemu omwaasi ku bigambibwa nti waliwo abamuwereza obutwa bw’obuwunga mu bbaluwa.
Kigambibwa okuba nti waliwo ebbaluwa eyaweerezebwa Kadaga era ng’omuyambi we Herman Kabogozza eyagibikkula yamukosa ng’abadde ajjanjabwa
Mu kiwandiiko sipiiika ky’afulumizza kyokka nga kimpi bulala, Kadaga agambye akkirizza nti mu butuufu kino kyaliwo kyokka n’ategeeza ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.
Yadde Kadaga…
Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kokoolo.
Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu bagala wabeewo okukoma ku bantu abanywa sigala n’omwenge.
Ekibiina kino kigamba nti omuwendo gw’abantu abalina gwakweyongera okutuuka ku bukadde 24 ssinga kino tekikolebwa
Ekibiina kino kigamba nti waliwo era obwetaavu obukoma ku banywa sigala n’abagejja ennyo olw’okunywa omwenge.
Bbo ab’ekibiina ky’ensi yonna ekinonyereza…
Abakungu okuva mu ministule y’ebyobulamu bagobeddwa mu kakiiko akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Abakulu ababadde bakulembeddwaamu omwuandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr Asuman Lukwago babadde bagenze kutangaaza babaka ku byafulumira mu alipoota ya ssababazi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka 2011.
Ensimbi eziwerako obuwumbi 3 zeezitamanyiddwaako mayitire nga tewali mbalirira eraga engeri gyezakozesebwaamu yadde nga kyeyoleka nti zaweebwa bakungu abatali…
Minisitule ekola ku by'obulamu egamba nti obulwadde bw’embiro z’omusaayi e Hoima basobodde okubutangira okukwata abantu abalala.
Obulwadde buno obwabalukawo ku kyaalo kiyoola e hoima bwatta abantu 6 ate abalala nebaweebwa ebitanda
Omwogezi wa ministule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti Ttebannafunayo Muntu afuna bulwadde buno bukyanga batandika okusomesa abantu ku ngeri y’okubwewalamu.
N’abo abaali bafuna embiro zino basiibuddwa
Omulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi eby'okujja enta mu musango gwa loodi meeya Erias Lukwago abiganye.
Ono era alagidde nti ssabawolereza okusasula ensimbi kooti olw'okugimalira obudde mu kwemulugunya kweyakola.
Nga ayita mu munamateeka we Martin Mwangushya, ssabawolereza wa gavumenti nga 15 January yasaba omulamuzi ono omusango guno agudde ebbali, kubanga yandibaamu kyekubiira okuva bwekiri nti yeyayisa ekiwandiiko…
Ababaka ba palamenti abatali abatali bami bagaala ebivudde mu maosmero ga bonna basome bifulumizibwe byokka
Kiddiridde ebyavudde mu bigezo okulaga nti abayizi mu masomero gano bakyakolera ddala bubi kyokka nga tewali ekissaako ssira kubanga bifulumira wamu n’ebigezo by’abalala buli omu amaaso n’agassa ku bayise.
Omubaka akiikirira abantu be kalungu mu bugwanjuba, Joseph Ssewungu agamba nti kino kyakuyamba…