Abantu gyebayoyoza enkoko n'enyama ono yye ayoya bakyala byebakozesa okwebyuula.
Britoni okuva mu kibuga Ohio wa myaka 22 ng'alya lipusitiika, ayishado ,'ebirala
Abajaasi mu maggye g'eggwanga olwaleero balongoosezza eddwlairo ekkulu e Mulago ng'egimu ku mikolo gy'okukuza olunaku lwa Tarehe Sita
Olunaku luno olubaawo buli nga 6 omwezi ogw'okubiri lukuzibwa okujjukira olunaku abaali abayekeera ba NRA lwebalumba enkambi y'amaggye ge Kabamba.
Eggye ly'eggwanga era liwerezza ne ba yingiya baalyo okuddabiriza aby'amasanyalaze byonna ebyaafa
Yye ekulembeddemu bannamaggye bano nga ye Col Mugenyi…
Omusajja ono asingisiddwa omusango gw'okukwata ente n'endiga mu Kibuga Totenham ekya Bungereza.
Omusajja ono yasangibwa abagaalana abaali bawummuddemu nga yeberese ku nte.
Omusajja ono yegaana emisnago yadde nga yasnagibwa ali mu sitokisi na ngatto zokka.
Ebigezo by'ekibiina eky'omusanvu bifulumiziddwa.
Abayizi abalenzi basinze abawala okukola obulungi ate nga lyo essomo ly'ebyafaayo( SST) lyeryasinze okukolebwa obulungi
Kuno kuzzeeko okubala(Maths) nekuddako Sayansi ate nga lyo essomo ly'oluzungu likoleddwa bubi
Ezimu ku disitulikiti ezikoze obulungi kuliko, Wakiso, Kampala, Mbarara , Mukono n'endala ate nga yyo Bukwo y'esinze okukola obubi
Ebigezo by'abayizi 1,424 bikwatiddwa lwakubba bigezo.
Bano kiteberezebwa okuba nga…
Eyali muganzi w'omubaka Cerina Nebanda nga ye Adam Suleiman Kalungi omusango gumusse mu vvi.
Omulamuzi wa kooti ento e Makindye agambye nti Kalungi yalwaawo okuddusa Nabenda mu ddwaliro ekyamuviira okufa.
Abalala abasingisiddwa omusango gwekuli omusajja ategerekese nga Ali Umar ng'ono yye ogumusinze gwakusangibwa na biragalalagala.
Bbo abalala abana b'ababadde avuunanibwa nabo bejerezeddwa
Kalungi yakwatibwa amangu ddala ng'omubaka Nebanda yakafa…
Ebyava mu bigezo b’ekibiina ekyomusanvu eby’omwaka oguwedde bifuluma olwaleero.
Ekitongole kya UNEB kyakufulumya ebigezo byabayizi 581,586 wali ku statistics house mu kampala.
Omwogezi wa UNEB Hamis Kaheru agamba amangu ddala nga byakafuluma, abazadde n’abaana bakubifunira ku bubaka bw’amasimu.
Ente eyamenyeka amagulu gyebuvuddeko etadise okutambula oluvanyuma lw'okugifunira age kimpatiira
Ente eno nyini yo abeera mu kibuga Texas
Ekibiina ekifuga omuzannyo gw’ensamba ggere mu ggwanga kikkiriza oluzannya wakati wa Moses Golola ne Ronald Mugula ogugenda mu maaso.
Omuwandiisi w’ekibina kio Eddie Gombya agamba nti oluzannya luno lwakubaawo ng’abagenda okukwatagana bawezezza Kilo 70
Gombya agambye nti bakukolagana ne poliisi okulaba nti tewabaawo kavuyo konna
Oluzannya luno lwakubeerawo nga 7 omwezi ogw’okusatu ku Freedom city
Waliwo omusajja akwatiddwa oluvanyuma lw’okuzinira mu maaso g’omupoliisi omukyala mu ngeri esoomooza ng’amuyita bano abazina obukunya
Omusajja ono atandise okuzina nga bw’awuuba akatawulo obwedda k’akoona ku musirikale ono
Omusajja ono abadde asiibye ng’anywa ayanguye okusemberera omupoliisi ono abadde anonyereza era ku batamiivu balala abaali basiwuuka empisa
Omusajja asowaganye ne mukyala we amuggalidde mu nyumba ne muwala we n’oluvanyuma n’agikumako omuliro
Christine Nalwoga ne Dorothy Nabweteme abe Luweero beebasumattuse omuliro guno kyokka nga bali mu mbeera mbi.
Omukyala ono Nalwoga agamba nti bba yakomyeewo ewaka nga bulijjo n’amuwa ekyeggulo era nebeebaka
Kyamuweddeko okuzuukuka ng’enju eteta ate nga bba tamulabako
Omu ku b’oluganda lwa Nalwoga agamba nti…