Ekitongole kya KCCA Kyakukwatagana n'abakola ku byobulamu wano mu kampala bakole ebikwekweto ku basawo abafere n’abatunzi b’eddagala abatatukagana na mutindo.
Ebikwekweto bino byakutandika mu wiiki 2 nga bakutuuka mu malwaliro ga gavumenti n’agobwananyini.
Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr Daniel okello agamba Kampala alimu obulwaliro obutonotono obuli eyo mu 1500 nga bwetaaga okulondoolwa okulaba engeri gyebukolamu emirimu gyaabwo.
Mu…
Abatuuze ku kyaalo Kitabu Mu gombolola ye Kyalahumba mu disitulikiti ye Kasese baguddemu ekyekango omukyala bw'azadde omwanang'alina emitwe ebiri.
Ekikulekule kino kizaaliddwa omukyala ategerekeseko erya mukyala Kighina wali ku Ddwaliro lya St. Francis of Assisi health center ku kyaalo Kitabu.
Omwana ono afudde amangu ddala nga yakazaalibwa
Abeerabiddeko n’agaabwe bakakasizza nga bwebaziise omwana ono nga alina amagulu abiri,…
Gavumenti yakuno ssi yakupondoka olw’okusindikirizibwa okujja amaggye munda mu ggwanga lya South Sudan okutuusa nga embeera edidde ddala mu nteeko.
Minista w’eby'amawulire n’okulungamya eggwanga Rose Namayanja agamba nti obutabanguko bukyali munda mu ggwanga eryo, amaggye teri kusegula kigere kubanga galiyo kukuuma mirembe.
Minista okwogera bino kiddiridde gavumenti ya Norway okutegeeza nga ekitiibwa bwekitayinza kussibwa mu ndagaano ya…
Minisitule ekola ku by'obulamu ekakasizza nti obulwadde obwakatta abantu 6 e Hoima bwa kiddukano kya musaayi
Obulwadde buno bwatandikira ku kyaalo kiyoola era nga bukutte abawera
Obulwadde buno bukosa ekyenda omuntu n’afuna obuzibu mu lubuto ekivaako okuddukana.
Minisitule egamba nti amaze okusindika abantu baayo okuyambako okusomesa abantu ku ngeri y’okukuumamu obuyonjo
Mu ggwanga lya Hong Kong, enkoko ezisoba mu mitwalo 2 zittiddwa oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti nyingi zibadde zirina akawuka akaleeta ssenyiga w’ebinyonyi.
Enkoko zino zibadde ziggyiddwa mu ggwanga lya China.
Gavumenti era eweze eby’okuyingiza enkoko mu ggwanga okumala ssabiiti ssatu
Obulwadde bwa senyiga w’ebinyonyi muyite bird flu yatandika okukwata abantu mu mwaka 2013
Embeera yeemu mu ggwanga lya China…
Abakyala abalya ebintu ebirimu amasavu nga bali embuto basaanye okuwulira bino.
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti buli mukyala lw’alya ebisava bikosa obwongo bw’omwana ekivaamu ye mwana okugejja ekisukkiridde ng’akuze
Okunonyereza kuno bakukoze ku mmese era nga kulaze akakwate wakati w’abazadde abanene okuzaala abaana abanene.
Obunene bufuuse ensonga naddala mu mawanga agaakula edda kyokka nga buno era kituufu nti buva…
Ssabasajja Kabaka Ronald Mutebi ssabawanguzi alabude abo abazannyira ku nsalo za Buganda n’addamu okukakasa nti Bugerere ssaza lya Buganda
Omutanda okulabula akukoze afundikira okulambula kwe ow’essaza lino okumaze ennaku 3
Agambye nti ekya Bugerere okubeeramu abantu ab’amawanga agatali gamu tekitegeeza nti tekyaali ya Buganda.
Ono ku nsonga z’obwavu naddala mu bavubuka,asabye bantu abeekolamu ebibiina okubikozesa okwetandikirawo emirimu.
Yye kamalabyonna…
Ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu bigenda kufuluma ku lw’okutaano luno.
Akakasizza bino ye minisita akola ku by’enjigiriza Jessica Alupo
Ono asanguddewo okutebeereza okubaddewo nga teri amanyi ddi bigezo lwebinafuluma
Kino kyaddirira amawulire nti ekyuuma ekisoma obubonero bw’abayizi kyabadde kifudde
Alupo agambye nti olunaku lw’enkya lw’egenda okusisinkana abakungu okuva mu kitongole ky’ebigezo okumaliriza ku nteekateeka y’okufulumya ebigezo bino
Bannanyini maduuka abatasasula misolo ku luno baakuliira ku nsiko
Ab’ekitongole ekiwooza ekya URA bazzeemu buto okulabula nga bwebagenda okuggala abo bonna abatasasula
Akulira ababanja, Abdi Salam Waiswa agambye nti abantu abano baagufuula muze obutawa misolo ate nga bagala okukola ensimbi.
Ono bino abyogedde aggalawo amaduuka abiri mu kibuga wakati wa butasasula misolo
Bannasayansi bagamba nti waliwo akakwate wakati kokoolo w’olususu n’okunywa omwenge
Kigambibwa okuba nti omwenge guno gulimu ebirungo ebivaamu kokoolo ow’olususu.
Gujabagira ssinga omuntu anywedde omwenge ogwo yeeyanika mu musana n’atuyaana .
Bannasayansi kuno kwebasinzidde okusaba abantu okwegendereza nga banyw aomwenge gubanga gw abulabe eri obulamu bwaabwe