Abakulemberamu olutalo lw’ekiyeekera mu ggwanga lya South Sudan gyebuvuddeko bakuggulwaako misango gyakulya mu nsi yaabwe olukwe
Minista wa South sudan akola ku nsonga z’amateeka, Paulino Wanawila agambye nti kuno kwekuli n’eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Riek Machar
Gavumenti mu kusooka yategeeza nga bweyali tegenda kuvunaana bantu bano oluvanyuma lw’okussa emikono ku ndagaano y’emirembe n'abayeekeera
Bannamawulire erudde eyo bagamba nti…
Abayiiya tebaggwa mu nsi.
Mu ggwanga lya China, omukyala ayiyiiza esweeta okuva mu nviiri ze
Omukyala ono eyali omusomesa amaze emyaka 11 ng’atunga esweeta eno .
Enviiri mw'atunze esweeta abadde aziggya mu kasanirizo ke k'akozesa buli lunaku.
Omukyala ono agambye nti abantu bangi beegomba enviiri ze olw’okunyirira nga y’ensonga lwaki abadde takyazisuula
Abaganda bagamba nti buli mbwa n’olwaayo.
Akagero kano katuukidde ku mbwa eyambadde engatto omulundi ogusoose
Embwa eno bakama baayo bagyigulidde engatto olw’omuzira oguusukkiridde mu kibuga New York kyokka ng’erabiddwaako nga yonna acacanca nga bw’edduka okwetoloola enyumba.
Ssabasajja Kabaka Ronald Mutebi ssabawanguzi alabude abo abazannyira ku nsalo za Buganda n’addamu okukakasa nti Bugerere ssaza lya Buganda
Omutanda okulabula akukoze afundikira okulambula kwe ow’essaza lino okumaze ennaku 3
Agambye nti ekya Bugerere okubeeramu abantu ab’amawanga agatali gamu tekitegeeza nti tekyaali ya Buganda.
Ono ku nsonga z’obwavu naddala mu bavubuka,asabye bantu abeekolamu ebibiina okubikozesa okwetandikirawo emirimu.
Yye kamalabyonna…
Olunaku olwaleero ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow'okubiri lw'akomekkereza okulambula essaza lye erye Bugerere .
Beene asuubirwa okuggulawo kkanisa y’abadiventi wali e Bukolooto eya ng'ezimbiddwa omubaka omukyala owe Kayunga Aida Nantaba.
Olunaku olw’eggulo Beene yalambudde emirimu gy’abantu be mu ssaza lino era n'agabula n’ekijjulo.
Ebisingawo birinde ku 90.4 Dembe Fm Omuziki N’ebikuzimba
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri akunze abakulembeze ku mitendera egitali gimu okuyiiya engeri y’okulongosaamu ebirime by’abantu
Ng’ayogerako eri abantu be Busaana ng’alambula essaza lye olunaku olw’okubiri, ssabasajja agambye nti abalimi mu kaseera kano bafuna kitono kubanga eby'amaguzi byaabwe ssi birongoofu
Ssabasajja era agambye nti n’abakulembeze bano benyini balina okukolagana okuyambako abantu okusitula embeera zaabwe
Yye…
Ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya gavumenti mu ggwanga lya South Africa bikoze omukago nebisimbawo Mampela Rampele.
Ono y'agenda okukwatagana ne Jacob Zuma ssinga ayita mu kasengejja k'ekibiina kya Africa National Congress (ANC)
Gwebalonze y’abadde akulira ekibiina nga Agang Party kyeyatandikawo omwaka oguwedde
Akulira ekibiina ekisinga obunene mu bavuganya ekya Democratic Alliance Helen Zille agambye nti tewali Muntu asinga…
Gavumenti yakuvaayo n’enkola erambika obujjanjabi eri abantu abalina endwadde ezitawona.
Akulira ekibiina ekitumbula enkola eno, Rose Kiwanuka agamba nti abalwadde bangi abalina endwadde ezitawona abayinza okuyambibwa kyokka nga bafiira mu kwewunika kubanga tebalina buyambi bwonna
Kiwanuka agamba nti abalwadde bangi abalina kokoolo ne mukenenya beetaaga obujjanjabi buno
Akikkatiriza nti ssinga enkola eno ebaawo, olwo buli ddwaliro kiba kirikakatako…
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Mukono bagadde amasomero mukaaga lwabutaba na bisanyizo.
Amasomero gano gonna gasangibwa mu divizoni y Goma nga kuno kuliko Jjogo Parent's, Winland Junior School, Brilliant Day Care Educational Center ,Friends junior School n’amalala.
Akulira okulawuna amasomero mu kibuga kye Mukono, Margret Bulya,agamba nti amasomero agamu tegalina bibiina, lisensi ate ng’abalala gakolera mu maduuka.
Bannanyini masomero…
Omuvubuka ow’emyaka 19 akoneddwa omupiira gw’emotoka nafa.
Okusinzira ku OC atwala eby’entambula poliisi ye Kanyanya, Richard Wabwire agambye nti omuvubuka akooneddwa ategerekese nga Ibrahim Kawere nga mutuuze we Nameere ekisangibwa e Kanyanya .
Omupiira guvudde ku motoka no.UAN 724P ekika kya Noah ebadde ku misinde egitagambika.
Omulambo gutwaliddwa e Mulago okwongera okwekebejjebwa nga yye omugoba w’emmotoka eno aggaliddwa.