Amaggye mu ggwnaga lya Syria gatandise okwokya amayumba g’abantu mu bugenderevu
Ab’ekibiina ekirondoola eddembe ly’abantu ekya Human Rights watch kyekitegeezezza bino
Ebifananyi ebifulumiziddwa ekibiina kino biraga bbomu nga zikubwa ku maka g’abantu nga n’abamu badduka ekibambulira
Kino kyakolebwa mu bibuga Damascus ne Hama nga bino byaali bisingamua bavuganya gavumenti
Abasuubuzi abakolera mu ggwanga lya South Sudan bategeezeza nga emirimu bwegigenze gidda mu nteeko ,newankubada abaguzi bakyali batono.
Akulira ekibiina ekitaba abagoba b’ebimotoka ebitambuza eby’amaguzi Bylon Kinene, atubuulide nti mu kibuga Juba emirimu gigenda bulungi.
Kinene agamba nti bannayuganda abaliyo nabo betaaya awatali kutya kubanga kati olutalo lwadda mu byaalo
Enteeka nteeka y’okufunira bannayuganda endaga Muntu ziyite ID eyongeddwaamu ensimbi.
Kiddiridde olukiiko lwa ba minista oluyisaawo embalirira ya buwumbi 138 ez’okukola ku nteekateeka eno
Minista akola ku nsonga zamawulire, Rose Namayanja agamba nti basooka kubala ensimbi nga tezimala nga basazeewo nti bajja kwetaagayo ensimbi endala
Mu ngeri yeemu era poliisi ne minisitule ekola ku nsonga z’amawanga ga East…
Endwadde z’ekikaba zikyaali waggulu mu bifo by’enzigotta.
Ayogedde bino y’akulira eddwaliro lya Marie Stopes e Namuwongo ng’agamba nti buli lunaku bafuna abantu bataano
Abasinga ku bano nti akibi bajja buyise ekikalubya obujjanjabi
Eno y’ensonga lwaki ab’eddwaliro lya Mariestopes bataddewo enkambi abantu mwebagenda okuyita okwekebeza obulwadde bw amukenenya, ne kokoolo era abasangibwa nga balwadde bajjanjabwe.
Enkambi eno egenda kumala ennaku…
Ab'obuyinza mu disitulikiti ye Mbarara bawanjagidde bekikwatako okubaweereeza eddagala ly'omusujja gw'ensiri.
Kiddiridde amalwaliro agasinga okuggwaamu eddagala nga katia balwadde abagenda mu malwaliro gano bagoba bagobe.
Akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno, Dr Amoti Kaguna agamba nti amalwaliro ga gavumenti agasinga tegalina ddagala lya musujja.
Dr Kaguna ategeezezza nti bafuna abantu abali wakati wa 5 n’olukumu nga beetaga ddagala lya…
Omu kubaddusi ba Uganda abamannya Jackson Kiprop ,kikakasidwa nga bwatandise okukuba ku matu.
Yatwalibwa mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw'ensigo ze okufunamu obuzibu.
Mukulu wa kiprop ng’ono ye Michael Kusuro, atutegeezeza nti mu kaseera kano omulwadde bw'azzaamu essubi nga yanywedde ku butunda n'obuugi
Yye ayogerera eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira, atugambye nti kati Kiprop alinamu enjawulo, era nga…
Ab’ekitongole ky’eddagala ekya National drug authority bakuggala obulwaliro bwonna obutalina layisinsi.
Akulira ekitongole kino Dr Gordon ssematiko agamba layisinsi zonna ziweddeko leero ng’omuntu yenna atalina layisinsi okuva enkya wakukwatibwa
Asabye n’abantu benyini obutagenda mu bulwaliro butalina layisinsi kubanga buba tebwekebejjeddwa
Mu ngeri yeemu aba KCCA bakutandika ekikwekweto okukwata abasawo ab’ebicupuli n’abalina obulwaliro obumenya amateeka.
Akulira eby’obujjajanbi ebyawamu mu KCCA…
Minisitule ekola ku byobulamu efunye bu baasi 12 obugenda okuyambako mu kutambuza abasawo
Bugenda kusindikibwa mu bitundu by’eggwanga byonna 12.
Mu ngeri yeemu bu kabangali obulala 7 obugenda okukanikanga ebyuuma by’amalwaliro ebinaava bifunye bizibu.
Bugenda kukola mu bitundu byonna eby’eggwanga nga mu bamu ku bagend aokufuna mu kuliko Arua, Gulu, kabaale n’endala.
Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza nti…
Gavumenti etandise okusomesa abantu ku ngeri y’okutangiramu ekirwadde ky’embiro z’omusaayi ekyabaluseewo e Hoima.
Ekirwadde kino kisse abantu 6 ate ng’abawera bajjanjabibwa mu ddwaliro e Hoima
Obulwadde buno buva ku bujama era nga bukamula mangu omuntu olw’ekiddukano yenna n’aggwaamu
Minista ekola ku byobulamu, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti obujama bwo bungi mu bantu nga n’abamu tebalina zi kabuyonjo ate…
Minister omubeezi ow’ebyemizanyo Charles Bakkabulindi talabiseeko mu kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza.
Ono abadde yayitiddwa okunyonyola ku by'ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga okuwandiisibwa nga kampuni y’obwananyini.
Amyuka ssentebe wakakiiko kano Jacob Opolot ategezezza nga minister bw'amugambye nti teyafunye kumanyisibwa nti yabadde yetaagibwa mu palamenti.