Omwana ow’emyaka omwenda yesse ng’atya okubonerezebwa.
Isma Gabula nga mutuuze we Kasubi yeeyeyimbyemu ogwa kabugu oluvanyuma lw’okubba sente zanyina omuto.
Nyina ategerekese nga Aida Nabaggala nga ssente bazimulekedde kugulamu mmere.
Okusinzira ku OC we Kasubi William Ngabirano omwana asangidwa mu nyumba ya neyiba ategerekeseeko erya Lukwago ng’alengejjera ku muguwa
Omulambo gw’omwana ono gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow'okubiri akubirizza abantu be Bugerere okunyikira okulima enyo okusobola okwejja mu bwavu.
Bino Beene abyogedde alambula omusiri gw’emmwanyi wali mu gombolola ye Busaana gyali okulambula kati.
Luno lunaku lwakubiri nga ssabasajja alambula essaza lye erye Bugerere nga olwajjo namunji w’omuntu yamwanirizza mu ssaza lye lino erye Bugerere.
Mu ngeri yeemu Katikiro…
Poliisi e Kamuli ekutte omusajja eyakkakkanye ku muwala we n'amusobyako okwesasula fiizi ze yamuwa okugenda ku ssomero.
Vincent Musiro omusomesa ng'atemera mu gy’obukulu 60, era omutuuze we Namwendwa Kamuli y'akwatiddwa.
Ono yayise muwala we owa siniya ey’okubiri mu kisenge kye n'amusobyako era olwakwatiddwa kwekutegeza ng'ono bw'amwononerako fiizi enyingi nga yabadde yeesasula.
Mu ngeri yeemu, poliisi e Bugiri eri…
Ettendekero ly’e Makerere liwereddwa amagezi okussa essira ku bintu ebinaavamu ensimbi mu pulaani zaalyo ezo mu maaso.
Kino kyakulisobozesa okufuna ensimbi ezinaddukanya emirimu egy'enjawulo ku ttendekero lino.
Omulanga guno gukubiddwa amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Prof. Mondo Kagonyera bw'abadde ayogerera ku matikkira g’abayizi i wali ku kasozi k’abayivu e Makerere.
Ategezezza nga kino bwekijja okuyamba okufulumya abayizi abalina obwongo…
Ssabassajja asimbudde okuva mu lubiri lwe ku ssaza e Ntenjeru gyeyasuze.
Ayolekedde olusuku lw'agenda okulambula olwaleero nga tannatongoza kyuuma kya mwaanyi e Busaana.
Ayambadde suuti ya kitaka n'ettaayi ya kitaka.
Olunaku olwaleero Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ayingidde olunaku olw'okubiri ng'alambula essaza lye erye Bugerere.
Olunaku olw’eggulo namungi w’omuntu yayanirizza omutanda okwabadde bannabyabufuzi abakulembeze be Kayunga…
Ssabasajja kabaka empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri agamba nti ekituusizza Buganda ku buwanguzi e Kayunga bubadde bumu.
Omutanda era agamba nti n’abantu benyini bamanyi kyebagala.
Bino maaso moogi abyogeredde ku gombolola ye Bbale nga akomekkereza emikolo gy’olunaku lwe olusoose e Bugerere.
Omutanda agambye nti Buganda eyise mu bingi okuva mu mwaka gwa 2009 kyokka nga kirungi…
Pulezidenti Museveni akyasibidde weyali ku nsonga z'okweyimirira abantu.
Ng'aggulawo olukungaana lw'abalamuzi olw'ennaku ettaano, pulezidenti agambye nti okweyimirira abantu abazizza ogw anaggomola kuba kucokooza bantu
Asonze ku misango nga ettemu, okusobya ku baana abatannaba kwetuuka kko n'okulya mu nsi olukwe ng'agamba nti emisango gino minene nnyo .
Ono era yeewunyizza lwaki Dr Kiiza Besigye akyayimbulwa ate nga teyeddako mu…
Abantu bakola obumodi obutali bumu okusanyusa baganzi baabwe.
Kati yye omuvubuka abadde ayagala okusaba muganzi we okumukkiriza amufumbirwe abiyingizizzaamu poliisi.
Mat van ateesezza n’aba poliisi nebamukwata ne muganzi we nga batambulira mu mmotoka .
Babasanze batambula nebamusikayo mu motoka era wano omuwala n’atandikirawo okukaaka.
Wano omupoliisi w’ajjiddeyo empingu naye nga mu kugyaawula munda agyemu empeta n’ajiwa omusajja era mu…
Abavuganya ne gavumenti mu ggwanga lya Syria basibaganye enkalu mu nteseganya ezigenda mu maaso
Kiddiride aba gavumenti obutakkiririza mu kya kusaawo gavumenti ya kiseera ng’enjuuyi bwezetereeza okuzza eggwanga ku mulamwa
Enjuuyi zombie era zikyagaanye okukaanya ku ky’okukolera omukulembeze ali mu ntebe bashar Al Assad.
Eggwanga lino limaze kati kumpi emyaka 3 mu lutalo oluvanyuma lwa bannansi okweyiwa mu…
Abayizi be Makerere abatali ku lukalala lw'abalina okutikkirwa basabiddwa okugumikiriza okutuuka omwaka ogujja
Kiddiridde abayizi abamu okutandika okwemulugunya nti tebali ku lukalala lw'abagenda okutikkirwa olunaku lw'enkya
Omwogezi w'ettendekero lino Ritah Namisango agamba nti abatali ku lukalala tebamalangayo fiizi ate abalala balina empappula zebaagwa nga balina okuziddamu.
Abayizi omutwalo gumu mu nekumi bbiri beebgenda okutikkirwa mu masomo agatali gamu.