Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ssabassajja atongozezza okugema abaana

Ssabassajja Kabaka atongozezza enteekateeka y'okugema abaana . Kawefube ono amutongolezza ku ddwaliro lye Kayunga ng'egimu ku mikolo  gy'amakulambula kwe e Bugerere. Ssabasajja eno era agabidde abalwadde emifaliso n'abasaasira nako. ssabasajja bw'avudeyo eno eyolekedde bbaae gy'agenda okwogerako eri abantu. Omutanda guno gwegusoose okugenda e kayunga bukyanga gavumenti yeewera okumulemesa okugenda mu kifo kyekimu mu mwaka 2009

Read More

Etteeka ku sigala liyise mu Bungereza

Mu ggwanga lya Bungereza etteeka erigaana abavubuka abali wansi w’emyaka 18 okufuuka sigala omulongoseemu liyise. Sigala ono yefananyirizaako ddala sigala owa bulijjo kyokka ng’ono bamupikabupisi era ng’avaamu ekikka ekikkakkanya omuywi wa sigala Sigala ono asinga kusangibwa mu mawanga ga Bulaaya nga yatondebwaawo okuyamba abantu okuva ku sigala mpola kubanga tabaamu taaba mungi. Abantu abakunukkiriza mu kakadde akamu n’ekitundu…

Read More

Sukaali wabulabe ate okusingako

Bulijjo endowooza eri nti okubeera ne sukaali omungi kyekiyinz aokuvaako omuntu okufuna obulwadde bw’omutima. Kati nno kikakasiddwa nti sukaali ono n’abalina omutima basobola okufuna obulwadde bw’omutima Sukaali ono asobola okuzibikira emisuwa egitambuza omusaayi omuntu n’akutuka omulundi gumi Abasaawo bano bagamba nti kino kitegeeza nti omuntu alina kubeera ne ka sukaali katono ddala okuyimirizaawo omubiri gwe era nga wekasukkira…

Read More

Mufu ssi mufu -kkooti eragidde agyibwe ku byuuma

Omukyala eyafuna obuzibu ku bwongo ng’ali lubuto kyaddaaki aggyiddwa ku byuuma ebibadde bimuyamba okussa. Abasawo bazuula nti omukyala ono alina omusaayi ogwakwata ku bwongo era bwebatyo nebamussa ku byuuma okulaba nti asooka okuzaala omwana. Omukyala ono ow’omu kibuga Texas ekya America wa myaka 33 ng’ali lubuto lwa wiiki 14 Ab’enganda ze beebaddukira mu kooti nga bagamba nti kuno…

Read More

Enyimba zikkakkanya ebirowoozo

    Kizuuliddwa nti abavubuka abalina kokoolo basobola okuweweerako ssinga bawuliriza mu nyimba zebaagala. Abanonyereza okuva mu America batunuulidde abalwadde ba kokoolo abali wakati w’emyaka 11 ne 24 nga bano babadde bawuliriza enyimba okumala ssabiiti 3. Bano bakizudde nti enyimba zino zibayamba okubazzaamu essuubi nebaddamu n’okwagala ab’emikwano n’enganda zaabwe Abaana bano nno era bangi bayiga enyimba nga boogera ku bulamu…

Read More

E Bugerere abasuubuzi banoga

Abasuubuzi by'ebyamaguzi ebitali bimu e Bugerere bali mu keetalo ng'abantu bagula ng'abawendule Ebisinga okutunda bye by'okulya, eby'okunywa, n'ebirala ebikwata ku Buganda nga baaji n'obukofiira. Gwo omwenge omugand an'omuzungu gutunda kiralu ng'abantu baakedde kwesiwa magengere. Ku lutindo ssezzibwa abantu bayitirivu nga ekitundu kyonna kikwtairidde balinda mu  

Read More

Abapangisa bakuwandikibwa

Abapangisa bonna mu disitulikiti ye Mubende bakuwandikibwa. Kino kigendereddwaamu kukendeeza ku misango gy'ettemu n'ettemu egisusse mu distulikiti eno Mu ngeri yeemu n'amabaala gonna ssigakukola kusukka ssaawa ttano ez'ekiro. Bino bituukiddwaako mu lukiiko lw'eby'ebyokwerinda olutegekeddwa poliisi n'abatuuze AKulira ebikwekweto e Mubende Dan Ampadde agamba sabye abantu okukolagana ne poliisi okulaba nti amateeka agayisiddwa gassibwa mu nkola okukendeeza ku buzzi bw'emisnago…

Read More

Enguuli emusse

Omusajja eyeetabye mu mpaka z'okunywa Waragi kati z'embuyaga ezikaza engoye Emmanuel Sserwadda wa myaka 50 ng'abadde mutuuze ku kyaalo Kyakanyomozi ekisangibwa mu disitulikiti ye Lwengo. Omusajja ono empaka zino yazeetabyeemu olunaku lwajjo era nga kigambibwa okuba nga yenyedde liita za Waragi kkumi nga talidde Baliranwa bakedde kugwa ku mulambo gwe nga mufu wajjo era nga kiteberezebwa nti omwenge…

Read More