Omwana atemera mu gy’obukulu 12 agudde mu mazzi n’afiirawo .
Afudde ategerekese nga Yazida Wagongo owe ku bizinga bye Buvuma.
Omwana ono abadde ava ku ssomero wabula n’asalawo okusooka okuwuga nay nga talutonze,
Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba nti omwana ono yasoose kukozesa lyaato eryamututte ewala era nga yabbidde nga tewali asobola kumuyamba
Mu ngeri yeemu,…
Bannakibiina kya NRM abagala okukwata bendera y’ekibiina kyaabwe ku bukulembeze bw’eggwanga bategeezeddwa nti oluggi luggule.
Omwogezi w’akabondo k’ababaka ba NRM Evelyn Anite agamba abalala abaagala okukwata bendera y'ekibiina bakulinda olukungaana lwa bakungu oluddako.
Ababaka b’ekibiina kino nga bakyali mu lusirika lwaabwe e kyankwanzi baasembye omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni nate okuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2016.
Abamu ku bannayuganda…
Kampala capital city ewuluddeyo ebipande byonna ebyatimbibwa mu Kibuga
Ekikwekweto kino ekyakoleddwa ekiro kyatandikidde ku luguudo olugenda e Jjinja , okudda e Wandegeya nga tekinnaba kweyongera mu bifo ebirala.
E Wandegeya, wabula wabaddewo okusika omuguwa, abasirikale ba KCCA bwebalwaanye ne bannanyini bipande mu kitundu kino
Kigambibwa okuba nga KCCa ebadde n’obutakkaanya ne bannanyini bipande bino nga kigambibwa nti…
Ekigambo kwetonda kizibu nyo era bangi kibalema.
Naye wali wevuddemu newetonda kyokka omuntu n’atakusonyiwa.
Kati yyo kkapa eyasazeewo okwetondera ginaayo n’egaana okugisonyiwa kata afe ekisungu.
Kkapa eno esoose kukkakkana neyekulukuunya ku ginaayo mu ngeri y'okwetonda kyokka nga eringa efuuyira endiga omulere.
Kalabye biri bityo nekecanga, akabadde ketonda ate nekatandika okukakwagula mu ngeri y’okulaga essungu.
Omwana ow’emyaka omusanvu agambibwa okusobezebwaako akaabizza abantu mu kooti bw’asabye nti omusajja eyakimukola attibwe olw’obulumi bweyamuyisaamu
Kiddiridde omulamuzi wa kooti enkulu, Elizabeth Alvidiza okumubuuza kibonerezo ki kyeyandyagadde kiweebwa omusajja gw’alumiriza okumusobyaako
Omusajja kagwensonyi ayogerwaako ye Edward Nsenga nga wa myaka 48 omutuuze we Kifumbira zone e Kamwokya.
Mu kooti yeemu, omusawo eyekebejja omwana ono mw’ategerezza ng’omwana ono bwebamuyuza…
Omukuumi owa kkampuni ya Delta agambibwa okutta omusajja eyali ku gigye asibiddwa emyaka 20
Akwatiddwa ye Jonathan Byamukama nga yatta Umar Lubwama gweyasanga ng’akuuma abaali bazimba acarde ya Nalubwama
Omusajja ono okutta munne basoooka kufuna butakkaanya.
Oludda oluwaabi lugamba nti omukuumi ono emisnago yagizza mu December w’omwaka gwa 2012 ku Nalubwama Plaza.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Elizabeth Alvidiza omukuumi…
Ng’olunaku lwa Valentayini lusigaddeko olunaku lumu lwokka, abagaazi b’emizannyo abatasobola kugyerekereza bazze n’agaabwe
Bayiiyiiza kawale akaliko n’akaleega akaliko ebigambo ebisikiriza
Buno bugenda kwambalwa bannabyamizannyo mu America okusikiriza abalala okugenda er baganzi baabwe
Akoze obupale uno agambye nti ebigambo ebissiddwa ku bupale buno ebisendasenda bisobola kumenya omutima gw’omuntu abadde mu mizannyo n’adda eri muganzi we.
Ekigendererwa kusikiriza bantu kuba na…
Ministry y’eby'obulamu eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gwamulalama
Omusujja guno gwabaluseewo mu bitundu bya Arua n’ebirala ebya West Nile
Omukungu mu minisitule eno, Paul Kaggwa agamba nti bataddewo akakiiko akagenda okukolagana n’abakungu ba district ezikoseddwa okulaba nti emirimu gitambula
Kaggwa agamba nti balagidde n’abakungu b’ebyobulamu oufuba okulaba nti abasawo enkambi ezinakola ku balwadde
Ono wabula agamba nti nga buli…
Abasawo mu kalwaliro ka Victoria Medical center balumirizza musawo munaabwe Rose Mary Namubiru ku kusiiga abaana obulwadde bwa mukenenya
Gertrude Kyomugisha nga musawo mukulu mu ddwaliro lino kko ne Dr Abbas Mubiru bategeezezza kooti nti omusawo ono lumu yakyogerako nabo nti yali akuba omusaayi mu baana b’akolako
Wabula bano bagambye nti omusawo yakikola apapa kubanga omwana yali…
Akulira oludda oluvuganya gavumenti, Wafula Oguttu alonze akakiiko k'agenda okukola nako emirimu.
Mu balondeddwa Betty Nambooze ye Minista wa kampala, Muwanga Kivumbi agenda kukola ku Nsonga za Munda mu ggwanga,
Medard Ssegona ye minista w'ensonga z'amateeka, Abdu Katuntu ye ssabawolereza wa gavumenti, Dr Lulume Mayiga ye minista w'ebyobulamu, alice Alaso y'akulira akakiiko akabalirira ensimbi z'omuwi w'omusolo ng'amyuukibwa…