Poliisi erayidde okulinnya eggere mu Lukiiko olutegekeddwa abavuganya gavumenti wansi w’ekisinde kya For God and My Country.
Akulira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba nti abavuganya tebagoberedde amateeka agalagira nti omuntu alina okusaba olukusa ennaku ssatu ng’olukiiko terunnatuuka
Kaweesi agamba nti n’aba 4GC tebanyonyodde bantu bameka beebasuubira kale nga nabo kibakalubirira okutegeka
Aba 4GC babadde bategekese…
Abatuuze be Kasokoso bongedde okutabukira gavumenti
Bano bagamba nti tebagenda kukkiriza kuteesa na gavumenti okutuusa ng’eraze ekyaapa ky’ettaka kwebabagoba
Abatuuze aboogerwaako beebali ku byaalo okuli Kasokoso, Kireka D ne Banda B1.
Bano balumiriza nti ettaka lyaabwe
Bano babadde mu kakiiko akakola ku by’obuzimbi akanonyereza ku nsonga zaabwe
Akakiiko kano kati kalagidde aba national Housing okuleeta ekyaapa ky’ettaka lyebagamba nti lyaabwe
Bannalukalala mu ggwanga lya Somalia balumbye wooteeri mu masekkati gekibuga ekikulu Mogadishu
BBomu gyebateze ebalukidde wabweru wa wooteri eno eyali esulwaamu amakuuma ddembe ne bakomando mu maggye
Okuwnayisiganya amasasi kumaze essaawa nga 5 era abantu 14 okuva ku njuuyi zombie beebattiddwa
Abakabinja ka Alshaabab beewanye dda okukola obulumbaganyi buno era nga bbo balumiriza nti basse ba komando 30
Baasi ezibadde zisimbiddwa mu garage zikutte omuliro
Baais bbiri zeezakasaanawo ng’omuliro guno gukyayaka
Abeerabiddeko n'agaabwe bagamba nti omuliro guno guvudde ku makanika wa baasi abadde azikanika omuliro negutandika.
Abaziinya nooto tebannatuuka mu kitundu kino
Poliisi e mulago ekutte omusawo eyalongosezza omulwadde mu ngeri emenya amateeka naafa.
Dr Henry Kagoda okuva mu kalwaliro ka Mulago medical center kigambibwa nti yabadde ajjamu omukyala nabaana oluvanyuma lw'okufuna obuzibu mu kuzaala.
Ab’enganda z’omugenzi baddusizza omugenzi mu ddwaliro ly’emulago nga ali bubi wabulo nebagaana okumulongoosa wabula yye omusawo ono ku mpaka n'amulongoosa okukkakkana ng'afudde.
Atwala poliisi y’emulago…
Nabagereka wa Buganda Maama Sylvia Nagginda asabye abakyala okwongera okwegatta mu kulwanyisa ebikolwa ebityoboola eddembe lyaabwe.
Maama okusaba kuno akukoze atongoza Ttabamiruka w'abakyala mu Buganda ku pope Paul hotel mu Kampala.
Nabagereka agambye nti abakyala balina okwerwanako naddala ku bikolwa eby'obutabanguko mu maka, okusobya ku baana wamu n'obwavu.
Nabagereka era asabye wabeewo obwenkanya mu kugabana eby'obugagga mu maka naddala ensimbi…
Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku bulumbaganyi bw’ekitujju.
Kino kiddiridde ebifulumya nga abakambwe ba Al-Shabab bwebagala okulumba amaundiro g’amafuta, n’ebimotoka abigatambuza.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango agamba poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala kati batunulidde ebifo ebimotoka by’amafuta bino webitera okusimba Naluwerere, Mbiko, Lugazi, Nakawa n’ebifo ebirala nga era basindiseyo dda basajja baabwe okubikuuma.
Agamba abasirikale ba…
Kampuni gagadde esaasadde ssemazinga zonna eya Aga Khan Foundation for Economic Development nate eguddewo omukutu gw’ebyempuliziganya ogwa Smart -Tele Communication Company.
Kizuulidwa nga guno gwegumu kumukutu ogugenda okubeera nebisale ebyawansi, kale nga gwakubeera gwankizo eri bamufuna mpola abaagala okutambula n’omulembe
Abdellatif Bouziani nga ono y’akulira emirimu mu kampuni eno , agambye nti bagenda kuba basolooza kubili simu…
Omwana ow'emyaka etaano amaze olunaku lwonna ku ssomero ekyaamu lwakulinnya baasi nfu mu kibuga New York.
Abakulira essomero lya Schenectady city school bagamba nti maama w'omwana ono yakkirizza nti yakoze ensobi omwana n'amuteeka ku baasi enfu kubanga yalabye dereeva ng'amumanyi.
Ab'essomero babaddeko omwana omupya gwebasuubira era nabo bwebatyo bamwanirizza kyokka kibaweddeko okulaba ng'omwana ono ku ssomero lino yatuseeko…
Ebifananyi ebifulumiziddwa mu ggwnaga lya Malysia biraga nti omugoba w’enyonyi eyabula yali musajja mukugu era yakeberebwa bulungi ng’agenda okulinnya enyonyi eno
Omugoba ono Zaharie Ahmad ow’emyaka 53 yali ayambibwaako Abdul Hamid ow’emyaka 27
Mu bifananyi ebifulumiziddwa, ababiri bano balagibwa nga bakeberebwa kisaawe mu kibuga Kuala Lumpur.
Omusajja ono era kigambibwa okuba ng’abadde yakavuga enyonyi okumala emyaka 30 era…