Ab'ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ku byobulamu bagenze mu kooti ey’okuntikko nga beemulugunya ku mbeera mu malwaliro ga gavumenti evaako abakyala okufiira mu ssanya.
Bano bayise mu bannamateeka Peter Walubiri ne David Kabanda abagamba nti tebakkiririza mu kusalawo okwakolebwa kooti etaputa semateeka
Kooti yagamba nti ebintu by'okuzaala kwa bakyala tebiriimu byabufuzi nga bikolebwaako buli omuli ne palamenti
Bannakyeewa bano…
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga eraze obwenyamivu olw’amantu obutafa mu ndwadde ezikwata amannyo.
Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr Ellioda Tumwesigye agamba nti abantu abaweza ebitundu 93 ku buli kikumi balina ebizibu nku mannyo gaabwe.
Mu ngeri yeemu, abantu ebitundu 35 ku kikumi beebatasobola kujjanjaba mannyo gaabwe
Minisita agamba nti bagenda kati okutandika okutambula nga basomesa abantu…
Waliwo enjogera egamba nti buli omu kyalina kyaseera.
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omuwala asoma obusawo asazeewo yerange ku mukutu gwa yintaneti omusajja anasinga okuva e kasawo y'aba abuuka nekimeeme ye.
Omuwala ono agamba talabanga ku musajja yenna era analoza ku ssanyu lye nga bikira alina kusola nsimbi ziwerako.
Embooko y’omuwalo ono omubalagavu Elizabeth Raine, agamba asuubira okweyolera…
Abasawo babiri bawumuziddwa oluvanyuma lwokukikakasa nti ddala bano bezibika eddagala .
Dr Joseph Isanga omusawo mu ddwaliro ly’e Kabonga awumuziddwa oluvanyuma lw’okukikakasa nti yezibika eddagala eribalirirwamu obukadde bw’ensimbi 30.
Akulira akakiiko k’abasawo akakwasisa empisa , Dr Okello Ogwang agamba Dr Isanga nga ono yasingisibwako n’omusango mu kooti ewozesa abakenuzi agobeddwa mbagirawo.
Alagiddwa okuzaayo layisinyi y’obusawo mu nnaku 7…
Oluvanyuma lwabavuzi ba taxi okumala akabanga nga bemulugunya ku basirikale ba poliisi n’ebizibu ebirala, Minister wa Kampala Frank Tumwbaze ayise olukiiko bateese ku nsonga ez'enjawulo bazinogere eddagala.
Omubaka wa Makindye eyobuvanjuba gyebuvuddeko yakwanga minister ekiwandiiko ku kwemulugunya kwaba taxi bano nga bawakanya empooza eyitiridde eri KCCA saako n’ebigambibwa nti batulugunyizibwa.
Sentebe w’ekibiina ekigatta badereeva nebakondakita ekya DAK…
Okuwulira okwemulugunya kwe ku ky’okugobwa ku bwa loodi meeya Kooti enkulu ekwongeddeyo okutuusa nga 25 omwezi guno.
Kino kiddiridde banmamateeka ba Lukwago nga bakulembeddwamu Medard Lubega Seggona okusabayo akadde okwongera okwetegereza okwewozaako kwa ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi, minister wa Kampala Frank Tumwebaze, ssenkagale wa poliisi Gen. Kale Kaihura n’akulira ekibuga Jennifer Musisi ku nsonga eno.
Mu…
kkooti ekKirizza okweneneya kw’omusawo Rose Mary Namubiru agambibwa okukuba omwana empiso ya siriimu nga amaze okwefumita.
Namubiru yakirizza nga bweyafumita omwana ono ow’emyaaka ebiri n’kitundu n’empiso gyeyali amaze okwefumita nga ate alina siriimu wabula nti teyalina kigenderewa kyakusiiga mwaana ono iriimu.
Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Olive Kazarwe agamba mpaawo yatulugunyiza yadde okukaka Namubiru okukiriza kino…
Abasuubuzi mu ttawuni kanso ye Wakiso bavudde mu mbeera nebekalakaasa lwabakulira ekitundu kino okuggala amaduuka gaabwe .
Kanaluzaala gwe musolo gw’amayumba nga aba tawuni kanso balumiriza abasuubuzi bano okugwebalama.
Abasinga ku basuubuzi bakedde ku makya nebasanga nga amaduuka gaabwe kuliko kufulu wabula nga mpaawo mukungu wa tawuni kanso alabikako.
Abasuubuzi betwogeddeko nabo baweze okugenda maaso n’kwekalakaasa okutuusa nga…
Akakiiko k’eggwanga akalwanirira eddembe ly’obuntu kafulumizza alipoota namutayiika elambise nga abatuuze abaali bananyini ttaka ewasimwa amafuta mu districts ezenjawulo bwebaliyirirwa obusente obwomunyoto.
Alipoota eraga nga abatuuze bano bwebasulwa wakati million satu n’ekitundu n’omusanvu okusinziira ku bunene n’ettaka werisangibwa.
Abatuuze bagamba zino ssente ntono nyo okusobozesa abatuuze bano okwegulira ettaka ewalala era babafotola.
Alipoota era eraga nga abantu abenyigira…
Mu kawefube w’okukendeeza ku nsimbi ezisaasanyizibwa, abayizi b’amasomero abasasulirwa State House bakutwalibwa mu masomero ga gavumenti.
Akola kui nsonga eno mu state house , Lucy Nakyobe yategeezezza akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapulezidenti nga bwebasazeewo bwabati.
Abo bokka abali mu bibiina ebigenda okutuula ebibuuzo ebyakamalirizo bebagenda okusigala mu massomero gyebali.
Agamba abazadde b’abaana bano bategezeddwa ku nsonga…