Gavumenti etandise okunonyereza ku lugambo olwayita mu bitundu bye Kasese nti amazzi gaali gassiddwaamu obutwa
Bino byogeddwa minister omubeezi akola ku by’ebyuma bikali magezi, Nyombi Thembo ategeezezza nga kino bwebakikoze oluvanyuma lw’omubaka omukyala ow’ekitundu kino ensonga okugituus amu palamenti
Nyombi agamba nti ministry eno neerarikirivu era nga ssinga kizuulibwa nti kituufu, abantu abakoze ekikolwa kino bakuvunaanibwa
Wabula Nyombi…
Omupoliisi abadde mu kikwekweto ekubiddwa amasasi.
Geoefry Sekajigo ng’ono akolera ku poliisi ye Kireka
Abazigu ababadde bagenze okubba mu supermarket beebamukubye amasasi.
Mukyala we agamba nti babadde ne bba ewaka nebabakubira essimu nga waliwo abazigu balumbye supermarket emanyiddw anga Star era nga yasitukiddemu.
.
Omusajja ono bamukubye amasasi 2 mu lubuto agalina okumulongosebwaamu
Akakiiko akakola ku byokulonda keekubidde enduulu mu kooti nga kagaala ebibiina by’obufuzi 10 biwandukululwe
Ebibiina bino biremereddwa okulaga wa gyebiggya ensimbi eziddukanya emirimu
Munnamateeka w’akakiiko kano, Patrick Byakagaba agamba nti ebibiina bino bafubye okubijjukiza naye nga butereere
Ebibiina ebyogerwaako mwemuli Action party, Bridge party, progressive alliance party, Uganda mandate party, new order democracy, Peoples Independent party, movement for…
Spiika wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde ministry ekola ku nosnga z’abakozi okuleeta alipoota ennambulukufu ku misaala gy’abakozi ba gavumenti egikyabuze
Kadaga agamba nti palamenti bagissa ku nninga okuyisa embalirira ey’enjawulo kyokka nga kyewunyisa nti ensimbi zino ezayisibwa tezizingiramu misaala gya bakozi ba gavumenti
Ababaka okuli Odonga Otto ne Medard Bitekyerezo be baleese ensonga eno mu palamenti nga…
Abakugu mu by’obulamu bakizudde nga omuntu bw'ayinza okufuna obulwadde bw'okugejja okuva ku bajjaja be.
Bakakensa bano bazudde nga omuntu omu ku mukaaga bwebasobola okusikira obulwadde buno okuva ku bajjaja baabwe, oba abazadde.
Kino kimaze ebbanga nga kinonyerezebwako okutuusa bwe kizuuliddwa nti omuntu asobolera dala okugejjulukuka olwa jajja we eyali omunene oba abamusokawo.
Obulwadde bwomugejjo buvaako omuntu okugejuluku nokusingira…
Kizuuliddwa nga abakyaala abasinga bwebamala okuzaala bwebakweka emibiri gyaabwe, nga tebaagala kubalaba.
Ebiseera ebisinga abakyala bangi nga tebanazaala babeera nga nyo ku mikutu gya yintanet olw’okubeera ababoobevu.
Wabula ebiseera ebisinga oluvanyuma lwokuvaamu ekiwanga, bangi basangula nebifananyi byaabwe ku yintaneti.
Abakyaala bano bagamba okuva bwekiri nti baba bafunye mugaba ku mibiri gy’abwe, baba tebakyalabika bulungi nga tebalaba lwaki baba…
Bannayuganda basabiddwa okukendeeza ku kunywa omwenge kubanga gwe gusinga okuvaako endwadde y'omutima.
Kakensa mu ndwadde z'omutima , Doctor Wilson Nyakoojo , agamba nti endwadde z'omutyinma zisibuka nyo ku bitamiiza.
Agamba nti abanywa buli lunaku boolekedde obuzibu bw'okukwatibwa endwadde z'omutima.
Okunoonyereza okwakoleddwa mu mwezi gw'okusatu kulaga nti Uganda eri mu kifo kya munaana mu nsi yonna mu butamiivu ate…
Oluvanyuma lw’abanonyi bobubudamu okuva e congo okweyongera okweyiwa mu ggwanga, Ministry y’ebyobulamu eri bulindaala okwanganga endwadde eziyinza okubalukawo.
Waliwo okutya nti endwadde nga cholera ne Ebola zandibalukawo.
Omwogezi wa Ministry eno , Rukia Nakamatte agamba bakebedde abaabadde balwadde ekidukano naye tebanazuula alina cholera.
Agamba balagidde ab’ebyobulamu mu district ye Bundibugyo okutwala abo bonna be batebereza okuba ne Cholera…
Abasomesa ba university ye Makerere begasse ku banaabwe okuteeka wansi ebikola okutuusa nga bongezeddwa omusaala.
Bagamba omweezi ogujja, okujjako nga bongezeddwa omusaala ebitundu 100% kikafuwe okulinya mu bibiina okusomesa.
Sentebe wekibiina ekigatta absomesa mu University eno Muhamed Kigundu, agamba gavumenti tebasuubira mu bibiina olusoma olugya nga tenabongeza musaala.
Wabaddewo akasattiro ku kizimbe kya workers house mu kampala, akade k'omuliro bwekavuze mu butanwa.
Abeerabiddeko n'agaabwe bagamba nti omu ku balongoosa mu butanwa akoonye ku kade akawogganidde waggulu abakozi bonna tebatandika okudduka.
Bangi balabiddwaako nga balwanira emiryango egifuuse emitono mu kadde eko.
Akulira abakuumi ba Saracen abakuuma ekizimbe kino Yahaya Mutabaazi agambye nti banguye okuyita abazinya mooto kyokka…