Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kkampuni y’amazzi ga Eco Fresh eggaddwa

Ab'ekitongole ekikola ku mutindo ekya UNBS kigadde kkampuni ekola amazzi g'okunywa eya Ecofresh. Kkampuni eno esangibwa ku luguudo lwa Spring close Bugoloobi. Amazzi gano kigambibwa okuba nga gabadde gakolerwa wajama era nga gassa obulamu bw'abantu mu matigga. Akulembeddemu ekikwekweto ekiggala kkampuni eno, Martin Imalingat agamba nti ekisinze okuggaza kkampuni eno bya bulamu. Kampuni eno bannanyiniyo ba China era nga…

Read More

Nyakairima asoyezeddwa ebibuuzo

Eyali aduumira amaggye g’eggwnaga Gen Aronda Nyakairima olwaleero kyadaaki alabiseeko mu kakiiko akasunsula abalondebwa okufuuka ba ministera n’asoyezebwa kajogijogi w’ebibuuzo. Guno gubadde mulundi gw akubiri ng’akikola era ng’ogwasooka ebibuuzo byaggyawo olw’ensonga nti ono yali talekulidde kuva mu maggye.   Nga yakafuluma okuva mu kakiiko, Nyakairima agambye nti mukakafu nti ebibuuzo ebikubye budinda era nga mulimu gw’akakiiko okutegeeza eggwanga…

Read More

Abayisiraamu tebatidde bulwadde-Tugenda Mecca

Abayisiraamu mu Uganda abateekateeka okugenda e Mecca bagamba nti bakusigala ku nsonga eno yadde wabaluseewo obulwadde mu ggwanga lya Saudi Arabioa Ekirwadde kino ekyabaluseewo kikosa okussa kw’omuntu era nga kitera okutwaanya abantu ababeera mu mawanga ga Buwarabu.. Abakungu mu byobulamu mu ggwnaga lya Saudi balabudde dda abagenda ku lugenda olutukuvu okwetegekera endwadde eno.   Omwogezi w’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu, Hajji…

Read More

Yesozze akabaga kwebatamuyise

Abantu abagwiira obubaga obutali bwaabwe tebali Uganda wokka Mu ggwanga lya America, omusajja ow’omusajja ow’emyaka 28 yesozza akabaga k’amazaalibwa ag’omwana ow’emyaka 8. Ono atuukidde mu byakulya n’okukwata balooni z’abana ekinyizizza abazadde ababadde baleese abaana baabwe Omusajja ono abadde tayambadde ngatto na ssati webamufuumulidde Ono nno okumanya yeekaza asoose kugaana kufuluma kyokka poliisi eyitiddwa n’emutwaala nga nabugi ssimufungize

Read More

Amakovu gakola olususu

Abakyala bakola bingi okukuuma ensusu nga zitemagana wano mu Uganda. Bw’oba olowooza nti ofubye nyo wulira bakyala banno byebakola mu Japan. Mu ggwanga lino waliwo saloon eleese enkola y’okukozesa amakovu okukuuma ensusu z’abakyala nga zitemagana Amakovu gano bagasse omuntu mu maaso olwo negatandika okusonokerako okubikka embalabe, n’olusolo.   Omu ku baozi agamba nti batandikira ku makovu asatu gebassa omuntu mu…

Read More

Emmere elimu ekiriisa

Mu Bungereza gavt gavt eyongezaawo enteekateeka zaayo ku teeka eriragira abakozi ba sigara okumusabika mu bisabika ebifanagana okuva mumakolero gonna.   Gavt eyagala ebisabika bya sigala ebitasikiriza nyo bantu kumunywa nokusingira dala eri abavubuka. Abakugu munddwadde ya kookolo mu ggwanga lino bazzenga bavumirira ekya gavumenti okwagala enyo omusolo okusinga okufa ku bulamu bwabantu. Gavt eyagala ebisabika byonna bibeera ne…

Read More

Obuganda busomye embalirira

Olukiiko lwa Buganda lusomeddwa embalira ya buwumbi 7 mu myezi omukaaga,egyisooka mu mwaka gw’ebyensimbi 2013/2014.  Bwabadde asoma embalirira eno , omuwanika wa Buganda owek. Eva Nagawa, agambye nti ensimbi ezisinga obungi zaakuva mu kitongole kya Buganda land board n’okutunda certificate. Buganda   Eva Nagawa era ategezeza nti basuubira okufuna ensimbi obuwumbi  bubiri n'ekitundu  ku nsimbi Buganda z'ebanja government…

Read More

Emmotoka esse omupoliisi

Omusirikale wa police atomeddwa emotoka nafiirawo. Assistant Superintendent of Police Wyclif Kamanyira  yaakoneddwa wali e  Bwebajja  ku Luguudo lw’entebe. Ono akooneddwa  Henry Kimera 26, abadde avulumula emotoka yekika kya  Subaru imprezza UAF 726 M. Atwaala police ye  Kajjansi Ibrahim Saiga agamba Kimera abadde atamidde era olumaze okutomera omusirikale ayongedde kuvuga. Oluvanyuma akwaatiddwa omusirikale wa police omulala e kajjansi  alabye…

Read More

Agambibwa okutta bba ali Luzira

  Omusuubuzi agambibwa okutta bba , Jackline Uwera Nsenga asindikiddwa ku mere e Luzira..   Oludda oluwaabi lugamba nga  10th of January 2013 mu makagaabwe e Bugolobi , Nsenga yatomera bba bweyali amugulira gate yawaka.   Omulamuzi wa kooti ye Nakawa Sylivia Nabaggala yamusindise e Luzira nga okunoonyereza kunsonga eno bwekukyagenda maaso.

Read More