Enkayaana mu kampala capital city authority zikutte ekkubo eppya.
Ekibinja ky’abantu abeeyita aba kampala Yaffe bakyukidde ba councilor abagaala loodimeeya agyibweemu obwesige
Bano bagamba nti bagenda kuwandiikira akakiiko akalondesa n’emikono egyetaagisa okusaba nti ba cuncillor bano nabo bagyibweeyo.
Akulira abantu bano Vincent Mayanja agamba nti bagaala bano bagobwe kubanga tebakyaliwo ku bantu
Okusinziira ku teeka la KCCA, councilor ayinza…
Kampuni ekola nappi enzungu abasinga zebayita diapers ekozeeyo ezisobola okutegeeza omuzadde oba omwanawe afunye obulwadde olwomusulo ogumukulukutiramu.
Ebisabika bino bisobola n'okulaga nga omwaana aweddemu amazzi mu mubiri.
Omuzadde okusobola okumanya oba omwaana alina obuzibu, ekisabika kino kijjako ekizigu n'okukyuusa langi
Bulijjo abasawo bagamba nga sukaali omungi bwaali owobulabe eri omubiri gwomuntu .
Olwaleero abasawo era bazzeemu okukikatiriza wabula abantu abasinga bakyaaganye.
Abakugu bagamba nti sukaali akyankalanya obwongo bw'abantu abamu n'okumalamu amaanyi naddala mu basajja.
Abantu abasinga balowooza sukaali bwebuweke obuteekebwa mu kyaayi, wabula ssi bwekiri, sukaali asangibwa mu bintu bingi omuli omubisi gwenjuki, ebibala n'ebyokulya ebirala bingi.
Abasawo…
Okunoonyereza kulaze nga banamukadde abemyaaka 90 abenaku zino bawangaala nga nobwongo bukola bulungi nyo okusinga abedda.
Abantu abazaalibwa mu 1915 abasinga abakebeddwa basangiddwa nga bbo bagumu nyo okusinga kwaabo abaazalibwa mu myaaka egyemabega
Kino kivudde kumbeera yenaku zino enunji nga balya bulunji saako nebyensula ebiri ku mulembe.
Bano era bazuuliddwa nga absinga balina amaanyi mumikono nemumagulu okusinga kubanaabwe…
Ministry yebyobulamu etandise okulondoola abalwadde bakafuba bonna muggwanga.
Kino kigendereddwamu okukugira abantu bano okusaasanya obulwadde buno eri abalala.
Omukugu ku kirwadde kino mu ministry yebyobulamu Dr. Isa Makumbi agamba bagezako okukola kino okusobola okukendeeza ku kafuba kano akeegiriisiza mu bantu abataagala kumira dagala.
Makumbi agamba balina e namba zamasimu agabalwadde bakafuba bonna era nga gebagenda okukozesa okubalonfdoola.
Bwiino aliwo…
Eyaliko omwogezi w’amaggye ‘eggwanga, Col Shaban Bantariza yeeyimiriddwa.
Ono alabiseeko mu maaso ga ssentebe wa kooti y’amaggye Brig Moses Ddiba.
Ono ayimbuddwa ku kakadde kamu akabuliwo oluvanyuma lwa munnamateeka we Frank Kanduho okutegeeza nga bweriri eddembe lye.
Abamweyimiridde kuliko, Gen Kahinda Otafire ne Col John Kaganda nga bano basabiddwa obukadde butaano ezitali za buliwo.
Wakudda mu kooti nga 23rd omwezi…
Waliwo obuboozi obunyuma okuwulira naye nekano kewunyisa.
Abazigu mu ggwanga lya Amerika babbye omusajja obutamulekera kantu mu nyumba bw'abadde asamaaliridde ku kabiite we abadde akuba eddubi mu kidiba kyaabwe eky'awaka.
Gyooli tasula naye, musajja mukulu ono aweddemu nga atunulira embooko ye ebadde esuddemu obugoye obuwugirwamu .
Ono yeekanze police etuuse ewuwe oluvanyuma lw'omu ku babbi okukoona ku alarm…
Tiimu taano ezigenda okukiikirira eggwanga mumpaka zokubaka ezobuvanjuba olwwegulo lwaleero zaakwolekera ekibuga Nairobi
Sentebe wakakiiko kebyemizanyo John Bosco Onyiki yagenda okusiibula ababsi bano.
Uganda yakukiikirirwa aatiimu omuli eya Kampala University ne Prisons mu basajja ate mu bakyaala Uganda Christian University, banantameggwa aba National Insurance Corporation , ne Uganda Prisons Services bebokukiika.
Empaka zomwaaka guno zakubeera Kasarani okutandika nga…
Banabyabuzi bakubiriziddwa okukozesa omweezi guno omutukuvu ogwa Ramadhan okwekubamu toochi ku bikolwa byaabwe neneyisa yaabwe eri abantu bebakulemberamu.
Lord mayor wa kampala ssalongo Erias Lukwago agamba kano kekaseera abantu okwekuba mu kifuba balongoose ensobi zaabwe nokwenkanyankanya mu bantu bagateko nokwenenya.
Lukwago agamba nga obuli bwenguzi bufuuse baana baliwo muggwanga, namayiosa amalala agafumbekedde mu banabyabufuzi, eno ye saawa…
Palamenti esabiddwa okussa amaanyi ku nsonga y'okwongeza abasomesa emisala.
Ababaka ba palamenti abakikiirira abakozi baweze okukunga abasomesa beekelakaase singa gavumenti tetuukiriza bweyamo bwayo ku ky'okubongeza ensimbi ebitundu 20 ku buli 100 ezaabasuubizibwa mu mbaliruira y'eggwanga eyaggwa.
Ssentebe w'ekibiina ekigatta ebibiina by'abakozi Usher Wilson Owere agamba nti weaaliwo endagaano eyatuukibwako ey'okwongeza abasomesa ensimbi ebitundu 50 ku buli 100…