Okuvaako mu Fufa,abadde akulira ebyensimbi Anthony Kimuli alekulidde ekifookye olwensonga ezitebereka.
Kino wekigidde nga Fufa yakafulumya embalirira yemipiira okuli ogwa Zambia,Liberia ne Angola week eno.
Kimuli abadde mukifo kino okumala emyaka enna (4years) era mukiseera kino yagenze mugwanga lya Scotland kumirimu gye emirara.
Kimuli tayatudde nsonga yonna emulekulizza wabula ye Omwogezi wa Fufa Rogers Mulindwa,ategezezza nga
Omuzadde eyawuttudde mutabaniwe emiggo egimusse ng'amulanga kubuza sillingi 600, poliisi emukutte.
Badru Kisitu y'akubye mutabaniwe Juma Bukenya ow'emyaka 6 n'amuttirawo
Akulira poliisi y'e Katwe, Patrick Ismat agamba nti Kisitu bwe yalabye ng'omwana afudde, yayanguyirizza okumuziika kyokka kino tekyamutaasizza kusimattuka mateeka.
Akulira ekibuga kampala Jennifer Musisi akiise embuga e Bulange Mengo.
Ono asisikanyemu kayikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Ababiri bano basuubirwa okuteesa kunkulakulana yekibuga nabutya ebintu bya gavt ebikyaali mumikono gya KCCA bwebiyinja okudizibwa obwakabaka bwa Buganda.
Omwogezi wa KCCA , Peter Kawujju agamba ensisinkana eno egendereddwamu okuleetawo enkolagana enungi mu byemirimu wakati wa KCCA nobwakabaka bwa Buganda.
Gyebuvudeko…
Mu bungereza Omusajja kagwensonyi ayingidde lift najifuula ekyoloni.
Kamera ziraze kagwensonyi ono nga ayingira lift awalindirwa train, nakola susu omulundi ogusooka, oluvanyuma neyeyambulamu engoye zonna era naddamu.
Okumanya oli ajooga engoye zeyazze nazo yazigyemu olwo nayambala endala noluvanyuma naddamu ekikolwa kyekimu.
Police etegeezezza nti ekbikolwa nga bino tebikirizibwa era ono waakunoonyerezebwako noluvanyuma avunaanibwe.
Emipiira gyebika gyiddamu olunaku lwa’leero ,e’Ngabi eNnyunga bakukwataganako ne Njovu kussaawa munaana (2pm) ate bazzukulu ba mugema abe’Nkima bakwatagane ne Nkusu kussaawa kumi (4pm)
Emupiira gyombi gyakubeera mukisaawe e’Nakivubo era okuyingira kwa nusu shs 3,000=.
Empaka zino zaggulwawo kulwomukaaga era e’Mbogo yeyawangula oluvanyuma lwokukuba ekika kye’Ffumbe goal emu kubwererebn (1-0).
Mu misiri amaje gakubye abatu 34 amasasi agabattiddewo lwakwekalakaasa nokugalumbagana.
Bano bebamu ku banakibiina kya Muslim Brotherhood, abawakanya ekyokumamulako Muhammad Mursi ku bukulembeze bweggwana.
Go amaje gagamba bano batyujju ababdde bagezaako okulumba Baraks kumpi nolubiri lwa president.
Abanyu banji bazze batibwa mu kwekalakaasa oluvanyuma lwa president mursi okumamuilwako amaje ku bukulembeze bweggwanga.
Abakulembeze be kibiina kya FDC beevumbye akafubo okukubaganya ebirowoozo ku alipoota ekwaata ku mivuyo egikwaata ku kulonda kwasenkagale wekibiina okwaggwa gyebuvuddeko okwawangulwa maj gen Mugisha Muntu.
Sentebe wekibiina Sam Njuba yalukubirizza olukungaana luno nga era lwetabiddwamu akulira oludda oluvuganyab gavt Nathan Nandala Mafaabi, nababaka ba palamenti abalala.
Bano era baakutuuka kunzikirizignya oba balonde nga bmukulembeze wekibiina buli…
Ebyavudde mu kukebera omusaayi n'obunyama bw'emirambo egyasiririra mu muliro, bifulumiziddwa.
Guno gwe muliro ogwakwata ekimotoka ky'amafuta e Namungoona ku Northern Bypass ne gwokya abantu abagendayo okusena amafuta n'abaali ku ngendo zaabwe.
Ab'eddwaliro ly'e Mulago baasalawo okukebera omusaayi gw'abali banonye emirambo egyali gitategeerekeka, okuzuula banyini gyo.
Oluvanyuma lw'ebivudde mu kukeberwa , emirambo 6 giweereddwa banyini gyo bagitwaale.
Oluvanyuma lwa poliisi y'ebidduka okussaawo ebibonerezo ebippya eri ba dereeva ba mmotoka ababa bazizza emisango, aba takisi balinye mu kyoto.
Ba dereeva abakolera mu paaka y'e Nateete beesuddemu julume ne bagiggala ne bawera obutakola okugyako nga poliisi ekyusizaamu.
Ssentebe wa siteegi y'e Nateete , Richard Kakooza agambye nti basazeewo okwekalakaasa mu ddembe nga tewali agenda kuvuga mmotoka,…
Ng’ebula mbale abayisiraamu besogge omwezi gwa ramathan, bano basabiddwa okuyimirira ku mpagi z’buyisiraamu mu kaseera kano.
NNG’akulembeddemu Juma yaeero, district Khadi, Sheikh Sulaiman Ndirangwa agambye nti omwezi guno gwanjawulo kubanga gugyiramue byamagero
Ndirangwa agambye ti kaseera ka njawulo eria basiraamu okudda eri omukama n’okusaba okusonyibwa..
Ono abakkiriza abawadde amagezi okwewala ebikolw aby’ekilogo, n’obukubagano mu maka n’ebintu ebilala ebiyinz…