Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omupoliisi bamusabidde

Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi awakanyizza ebigambibwa nti omusirikale eyasse munne yakikoze mu bugenderevu Atwala poliisi ye bulenga, David Kamugira yeeyakubye Mathius Ntenzireyo amasasi agamusse bwebadde bakola ebikwekweto. Ng’ayogerera mu misaa y’okusbaira omugezi ku eklezia e Mulago, Kaweesi agambye nti teri Muntu ayinza kukakasa nti omusrikale ono yasse mu bugenderevu okutuusa ng’okunonyereza kuwedde ASuubizza nga…

Read More

Ekikwekweto e Masaka

Police e masaka ekutte abantu 32 mu bikwekweto byaabyo byokufuuza abamenyi bamateeka abeeyongera buli lukya mukitundtu kino. Kino kiddiridde obutemu obususse nga  ne juuzi waliwo omusirikale wa police eyatibbwa munyendo nga alawuna ekitundu. Ebikwekweto bino bikoleddwa mu bitundu bye  Mukudde, Kasaana, Market Triangle, byonna ebiri e masaka.   Ebikwekweto bino bikolembeddwamu RDC we Masaka chris Owori Odoi natwaala police…

Read More

Namungoona-bazze bakondoka

Abantu abakosebwa omuliro ogwakwata eddwaliro lye Mulago bajja bakondoka mpola. Omuvubuka ow’emyaka 17 gyokka abadde apooca n’ebiwundu naye afudde Hassan Nsubuga y'omu ku bantu abaayokebwa omuliro ogwava ku ki loole ekyali kyetisse amafuta, ekyayabika nekituntumuka omuliro e Namungoona ku Northern bypass. Abantu abaasangibwa mu kitundu kino nga n'okusinga baali bavuzi ba pikipiki ezakazibwako erya bodaboda , abadduka okusena…

Read More

Abakyala bakaaye

Mu ggwanga lya Zimbabwe abasajja ssi bakukomba ku kaboozi ssinga tebetaba mu kulonda. Minister mu gavumenti y’akunze abakyala bonna okumma ba baabwe omukwano okutuusa nga bamaze okwewandiisa okulonda.   Priscilla Muhsonga agambye nti abasajja bangi beebulankanya ng’okulonda kutuuse olwo eby’okulonda nebabirekamu bakyala bokka.   Omukyala ono agamba nti engeri abasajja bano bwebanyimirwa akaboozi,, bangi bajja kwewandiisa ssinag abasajja babazzaamu amaa

Read More

Empaka z’emmotoka zissiddwamue nsimbi

Company ya shell etadde millions shs100m mumpaka za Pearl of Afric a Rally ezomwaka guno. Empaka zino zitongozedwa olunaku lwaleero ku Shell Lugogo era zakubaayo nga enaku zomwezi 16thne 17th August omwezi ogujja.   Abavuzi amakumi 21 bamaze okwewandiisa era nga abategesi basuubira emotoka amakumi 40 okwetaba mumpaka zomulundi guno. Ivan Kyayonka,nga ye  manager wa Shell  mu Uganda, ensimbi zino azikwasiza George Kagimu…

Read More

Abaddusi batuuse

Ekibinja ekisooka ekyabana’Uganda  abagenda okwetaba mu mpaka zensi yonna ezamatendekero ga Universities ezigenda okutandika kulwomukaaga lwa week eno nga 6th okutuuka nga 17th July omwezi guno kituuse mu gwanga lya Russia. Abasoose okutuuka kuliko omutendesi Kiwa Faustino,Sebuliba Patrick kwosa nabaddusi Njia Benjamin ne Nanyondo Winnie. Okusinziira kusentebe wekibiina ekikulembera emizanyo gya Universities mugwanga Penninah Kabenge,ategezezza nga bwasuubira  omugatte gwabantu 27  olunaku lwenkya…

Read More

Uganda esenvudde

Uganda erinye ebifo 13 munsengeka yamawanga agasinga okucanga akapiira munsi yonna kulukalala olufulumizidwa ekibiina ekikulembera omupiira munsi yonna ekya Fifa. Uganda esenvudde okuva mukifo ekye 93th okudda mukye 80th nga kino kidiridde Uganda Cranes okuwangula emipiira omuli Liberia ne Angola mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mu za World cup omwaka ogujja. Egwanga lya Spain lyerikyakulembedde munsi yonna ate wo mu…

Read More

Ebyobulamu bibulamu

Nga amawanga galindidirra nsalasale wokutukirirza ebiruubirirwa byekyaasa kino  mu mwaaka 2015 gavt yakuno essira esinze kuliteeka ku byabulamu. Mu biruubirirwa 8  mwemuli okukendeeza ku muwendo gwabaana abafa nga bawere abakyaala abafiira musanya nebirala. Minister wensonga zamawanga amalala , Sam Kuteesa agamaba Uganda yegaganudde nyo okukendeeza ku bizibu nga bino omwaaka 2015 nebwegunaaba guyiseeko.   Ebirubirirwa byekyaasa bino byateekebwawo ekibiina…

Read More

Amasira geegabatta

Abakugu mu byobulamu bagamba abantu abaafuna akayokebwa omuliro wali e namungoona bafa lwakuggwamu mazzi.   Akulira etendekero erinoonyereza ku nddwadde  Dr Alex Coutinho agamba oluvanyuma lwomuliro okuyingira mu mibiri gyaabwe, abalwadde bano baafirwa amazzi manji mumubiri era kwekutondoka.   Bino abyoogedde  etendekero lino liwaayo ebikozesebwa mu kujanajaba wali mu ddwaliro ekulu e Mulago.   Mubino mubaddemu namaganduula gabasawo agasoba mu 100…

Read More