Ministry yebyobulamu ezze nenkola empya gyeegamba nti yaakudaabulula ekisaawe kyebyobulamu mu ggwanga.
Mu kino baagala ensimbi zonna eziweeba yo eri ebyobulamu zigabanyizibwenga kyenkanyi eri enddwadde nebizibu mu byobulamu mu ggwanga.
Mukino baagala ensimbi zonna zisookenga kukunganyizibwa wamu noluvanyuma zigabanyizibwe okwetolola eggwanga okusobola okukola ku bizibu byonna.
Avunanyizibwa kukuteekeratekera ministry eno Dr Isaac Ezate agamba bakizudde nga ministry yebyobulamu…
Akeediimo k’abagoba ba taxi e jjinja katandise okubijja
Omwana omulenzi w’emyaka 16 akubiddwa amasasi agamusse poliisi bw’ebadde yezooba ne ba dereeva bano
Omwana ono abadde ku bibye nga ayiga bw amakanika
Omusirikale amukubye essasi amaze okukwatibwa.
Aba taxi bano bazzeemu okwekalakaas aolunaku lwaleero nga bawakanya amateeka amakakali poliisi geyaleese n’ebibonerezo eri abagoba bbidduka
Basoose nebasirisaamu olunaku lwajjjo kyokka nga bazeemu…
Gavumenti esimbye nakakongo nga bw’etagenda kujjawo mateeka mapya ku byentambula
Kino kiddiridde ba deeeeva ba taxi okwekalakaasa nga bagamba nti amateeka amapya gagendereddwaau kubalemesa kyakulya
Minister omubeezi akola ku byentambula, Stephen Chebrot agamba nti ebibonerezo ebiggya bigendereddwamukugolola ba dereeva ttumba era nga ssibyakukyuuka
Minister abadde addamu omubaka we Iganga Peter Mugema alaze owkenyamira olw’ebyentambula ebisanyaladde nga badereeva bagenda…
Omusajja enzaalwa ye Vietnam eyatemwaako omukono emyaka egisoba mu ana emabega agufunye
Nguyen Hung yakubw aamasasi ku mukoo abajaasi ba America mu mwaka gwa 1966 era nebamusalako omukono kyokka ng’omusawo eyakikola yasalawo okuguterela okujjukirirako olutalo lwa Vietnam ne America
Omuukono gwavunda era n’asalawo okutereka amagumba kyokka emyaka 2 emabega yagajjayo n’atandika okunoonya oba nyini gwo akyaaliyo
Omusajja ono…
Poliisi ekoze ekikwekweto tokowenja okufuuza abbabbi abakutte wansi ne waggulu mu bugwanjuba bw’eggwanga.
Abantu abasoba mu 300 beebayoleddwa mu kikwekweto kino nga bano bagyiddwa mu mayumba gaabwe, ‘ebifo ebilala poliisi bw’eyise.
Ekikwekweto kino kyetabiddwaamu ne bannamaggye
Ebissi ebyenjauwlo bizuuliddwa omuli obwambe, ebiso n’ebilala.
Aduumira poliisi mu kitundu kino, Martin Abilu agambye nti abayoleddwa bagenda kuddamu okubekenyeenya okujjamu ababi, abatalina…
Omusajja abadde yeevuga okugenda mu komera okumalayo ekibionerezo kye ekyokusibw ku wiikendi akiguddeko.
Jorden Morin, 25, abadde agenda mu komera police nemukwaata lwakuvuga motoka nzibe.
Ono ku kibonerezo ayongeddwako enaku 120 lwakweyisa bubi nga akyaali musibe saako nemyeezi emirala 6 olwokukwaatibwa nekintu ekibbe.
Coach wa tiimu yomupiira eya Uganda cranes , Mulitin 'Micho' Sredojevic ayagala tiimu ezanyemu omupiira gwomukwaano nga tebanazanya ggwanga lya tanania mumpaka zokusunsulamu abaneetaba mu za Africa ezabazanyira awaka,
Micho agamba tiimu gyeyalonze yeetaaga omupiira guno okufuna obumanyirivu nga beeetegekera omupiira gwa Tanzania.
Ye omuteebi wa club ya vipers , Ceaser Okhuti omupiira guno taguliimu olwobuvune.
Mu misiri obunkenke bweyongedde nga nsalesale wamaje okuyingira munsonga zabeekalakaasa agenda aggwayo
Okwekalakaasa kukyagenda maaso mu libuga cairo mu kibangirizi kya tahriri square nga abamisiri baagala president mursi alakulira nga bagamba nga mpaawo kyabayambye.
Amajje olunaku lwegulo gaawadde mursi esaawa 48 zokka nga akakanyizza embeera oba sikyo gaakuyingira munsonga zobuyinza mu ggwanga lino.
Kwo okwekalakaasa kuno kulese 16…
Omuntu omulala ku balwadde abali mu ddwaliro e Mulago , abaayidde omuliro, afudde.
Patrick Sserunkuma afudde olw'ebiwundu ebingi by'abadde nabyo.
Ekimotoka ky'amafuta kyayabika ku lwomukaaga oluwedde,oluvanyuma lw'okutomerwa mmotoka endala, nekikwata omuliro opgwayokya enyo abaali balinaayewo saako abagendayo okusema ku mafuta agaali gakulukuta.
Kati omuwendo gw'abaakafa gulinye ne gutuuka mu 40.
Waafiiridde nga waliwo enkaayana mu bantu be ku ani…
Police efuuyidde amazzi agabalagala okugumbulula abawagizi beyali senkagale wa FDC ne lord mayor wa kamapala SER abeesozze ekizimbe ekimu ku luguudo lwa luwum street.
Besigye Ne Lukwago bagenze kusisisnkanamu munamateeeka waabwe Radislas RWakafuuzi ku musango ogubavunaanibwa ogwokukuba olukungaana mungeri emenya amateeka.
Besigye ategeezeza nga bweyeewunyizza enyo ekikolwa kya police kino
Police ezze egiberera Besigye okuva mu makage paka…