Abaana babiri baasirikkidde mu muliro ogukutte enyumba e Mukono.
Bino bibadde ku kyaalo Ssugu mu ggombolola ye Mpata mu district ye Mukono.
Abagenzi bategerekese nga Christine Nakanwagi ow'emyaka 6 ne Irene Namatovu ow'emyaka 4
Maama w'abaana bano, Julian Nakakande agamba nti abantu abatannategerekeka bakumye omuliro ku ssabo omuliro negulanda okutuuka mu nju abaana gyebabadde beebase
Omukyala ono agamba nti…
President Museveni asuubizza okukwatiza ku bantu abakoseddwa omuliro e Namungoona.
President agamba nti kyannaku okulaba nti abantu baafudde kyokka era nasaba abavubuka okukoma okulwanyisa enteekateeka za gavumenti ez'okutondawo emilimu kubanga kyekivaako embeera eyavuddeko okufa
Omuwendo gw'abantu abakafa oluvanyuma lw'okwokebwa omuliro ogwavudde mu kimmotoka ekyabadde kitwala amafuta ne kyabika, gweyongedde.
Omuwendo gwenyini omutuufu gukyatankanibwa naye ng'abakafa basoba mu 30.
Okusinziira…
Ba dereeva ba takisi bakedde kwekalakaasa e Jinja nga bawakanya amateeka g'ebidduka amaggya./
Poliisi eyiiriddwa e Bugenba mu kibuga ky'e Jinja, ba dereeva bano bwe bataamye obugo ne balemessa ebidduka byonna okutambula nga baagala ba dereeva bonna babegatteko mu kwekalakaasa nga bawakanya amateeka gano.
Aduumira poliisi e Jinja Apolo Kateeba, agambye nti tebagenda kukkiriza kwekalakaasa kulimu mivuyo,…
Kyadaaki abasuubuzi basazizamu akediimo kaabwe.
Kino bakituseeko oluvanyuma lwensisinkano wakati wabakulira aba KACITA , neminister webyobusuubuzi America Kyambadde.
Sentebe wa Kacita Everest Kayondo agamba basobodde okutegeeragana ne gavumenti era kati baakuggulawo amaduuka gaabwe binambiro.
Mulukungaana lwa bannamawulire, Minister Kyambadde yeetondedde abasuubuzi era nategeza nga enkola yabasuubuzi okusasulira okukebera abyamaguzi byaabwe ebiyingira eggwanga byeyimiriziddwa mbagirawo.
Kino wekijidde nga abasuubuzi bagaddewo…
Police ekyebulungudde akatale ka owino ..
Police yeddizza ebyokukuuma akatale kano oluvanyuma lwabasuubuzi okwekyanga oleobutayagala kusasula mpooza eyabul;I mweezi abakulira akatale gyebaabadde bazeemu okusolooza.
Aduumira police yobukiikakono bwa kampala Stephen Tanui, ategezezza nga bwebatajja kusetula kigere paka nga obunkenke buweddewo mu katale kano.
Ku lunaku lwa mande abasuubuzi bomu katale kano beesala akajegere olwabananyini midaala okwagala okuddamu okukungaanaya…
Akeedimo kabasuubuzi kakyagenda maaso era olwaleero kayingidde olunaku olwokusatu.
abamu ku basuubuzi bapondoose nebaggula amaduuka gaabwe naye nga bano beebataklera mu bizimbe bya arcade.
Go amaduuka agasoba mu 5 magule mu bitundu bye katwe.
Bbo bananyini bizimbe mu kampala baaweze obutagula bizimbe byaabwe paka nga abasuubuzi bakiriziganyizza ne gavumenti..
Bbo abasuubuzi bookukuguudp bakozesezza akakisa kano okutunda ebyamaguzi byaabwe naddaga…
Lord mayor wekibuga kampala kyadaaki yeewozezaako mu kakiiko akawulira okwemulugunya kwabakansala 17 abaagala okumujjamu obwesige.
Nga ayita mu banamateeka be aba Ludwig Advocates and Alaka Advocates, Lukwago akuuse ebaluwa nga yeegana ebyo byonna ebimwogetrwako nti byakumusibako matu gambuzi kumuliisa ngo.
Agamba ensonga zino ziri maaso ga palamenti era natageeza nga akakiiko kano bwekaliwo mungeri emenya amateeka era…
Police ekyaazanya akazanyo jangu nkukwekule neyali senkagale wekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye.
Besigye akubya police ekimooni nabatolokaka ewuwe e kasangati olwo nasonga ekibuga , mwebamwekangidde nebatandika okumugoberera.
Ku lunaku olwokuna , Besigye yakwatiddwa police bweyabadde asalinkiriza okutuuka mu katale kewa kiseka.
Okuva olwo police ebadde egumbye mumakage.
Abasuubuzi bakugenda mu maaso n'okuggala amaduuka okutuuka olunaku lwa mande
Mu lukiiko lwebatuddemu enkya ya leero, abakulembeze b'abasuubuzi bagambye nti gavumenti yabasuubizza ng'abakugu mu misolo bwebagenda kutuula ku lunaku lw abbalaza nga bakubalinda.
Abagamba nti era balinze palamenti ky'enasalawo basooke balabe ekiddirira
Omwogezi w'abasuubuzi Isa Ssekitto agambye nti bagenda kwogera ne bannanyini bizimbe ku ngeri y'owkongera okukolaganamu mu…
Omubaka akiikirira abantu be Rubaga mu bukiikakkono, Moses Kasibante akwatiddwa nga poliisi bw'ekola kyonna ekisoboka okulemesa abavuganya okwekalakaasa
Kino kiddiridde ab'ekisinde kya 4GC okuwera nga bwebagenda okwekalakaasa olwaleero okwetoloola eggwnaga lyonna.
Kasibante akedde kukwatibwa nga tannava na mu maka ge ate nga n'omubaka Ibrahim Ssemuju Nganda naye amaze okusimbula.
Poliisi era ezzeemu okwebulungulula amaka g'eyali akulira ekibiina kya…