Omwana ow'emyezi omukaaga abadde azanyisa omusota n'agussa mu kamwa gumusse
Omwana ono abadde atuuziddwa ku kabalaza nga nyina ali mu kwanika ngoye.
Omwana ono nyina kimuweddeko okusanga mutabani we ng'agudde eri alambadde ng'omusota gumuli mu kamwa
Bino bibadde masaka
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa.
Besigye akwatiddwa bw'abadde yakafuluma amaka ge e Kasangati.
Poliisi yakedde kwebulungulula maka ge ng'eyyabakulembeddemu Seiko Chemonges yategeezezza nga bw;atagenda kuddamu kukkirizibwa kutambula
Besigye bamutwalidde mu kamotoka ka poliisi number UP 1928 nga kati akuumirwa ku poliisi ya Kiira division.
Ab'ekisinde kya For God and My country balangiridde owkekalakaasa okugenda okubuna eggwanga lyonna olunaku lw'enkya.
Okwekalakaasa kuno kuvumirira engereka y'emisolo gyebagamba nti ssiyabwenkanya.
Omukwanaganya w'emilimu gy'ekisinde, Mathius Mpuuga, agamba nti okwekalakaasa kuno era mwebagenda okuyita okulaga obuwagizi bwaabwe eri abasuubuzi abali mu kwekalakaasa kko n'abantu balala abagenda okwekalakaasa olunaku lw'enkya nga baawakanya ekya gavumenti kwezza kampala .
Ng'ayogerako…
Poliisi ezinzeeko amaka g'eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye
Abampi n'abawanvu bayiiriddwa ku maka ge nga tekkirizibwa kufuluma.
Akulira abakyala mu kibiina kya FDC, Ingrid Turinawe agamba nti Besigye ategeezeddw anga bw'atakkirizibwa kuddamu kuyingira kibuga.
Abapoliisi abakulembeddwaamu Seiko Chemonges amakanda bagasimbye mu maka ga Besigey agali e Kasangati.
Kino kizze nga wakati mbale nga poliisi ekozesezza omukka…
Abasuubuzi mu kibuga wakati baggadde amaduuka
Ku nguudo ezisinga, abasuubuzi basazeewo kuyimirira wabweeru w'amaduuka ng'ate akeed i nga Qualicel, Nabukeera Mukwano, miniprice , ne pioneer mall wonna tewali duuka liggule.
Ku nguudo nga Luwum, Market ne Kikuubo awakubako abantu, kiwuubalo ng'abantu batono ddala.
Abasuubuzi bano basazeewo okuggala amaduuka nga bawakanya eky'okubakaka okusasula omusolo ku byamaguzi ebiyingira mu ggwanga…
Amawulire agava ku FUFA e Mengo galaga nti akulira ekibiina ky'omupiira kino Lawrence Mulindwa tagenda kwesimbawo mu kulonda okw'okukyuusa obukulembeze okusuubirwa okubaawo nga 31 omwezi gw'omunaana.
Mulindwa eyajja mu bukulembeze w'omupiira mu mwaka gwa 2004 ategeezezza bino eri olukiiko olufuzi mu kafubo akatudde ku FUfa house e Mengo.
Bino webigyidde nga gavumenti eri mu nteekateeka za kulongoosa…
Emisono tegiggwa munsi muno.
Mu ggwanga lya Bungereza omu ku bayiiya emisono, awalakase abasajja abyooya ku bifuba n’akolamu jacket ey’omulembe.
Ono kyamutwalidde essaawa 200 okukungaanya enviiri z’abasajja bano okufuna ezimumala okukola jacket eno.
Kkampuni enkozi y’amata emanyiddwa nga Arla yeetongozezza jacket eno ng’etongoza ekika ky’amata akipya
Omwana abadde azannya alemedde mu kisero ky’engoye mw’abadde azanyira.
Omwana ono abadde azadde jangu onkwekule ne maama we kyokka n’atasobola kuva mu kisero kino
Poliisi eduukirira ebibamba eyitiddwa bukubirire era y’etaasizza omwana ono.
Omwana ono ekirungi nti tafunye bulabe bwonna.
Omukyala eyasaze olukujjukujju omwana we n’awangula empaka z’enviiri ali mu kattu
Mpaka z’abadde z’ani asinza enviiri ezirabika obulungi era omukyala ono Sohila teyabiruddemu n’agula ki wiigi.
Yakyambazza omwana we eyali yakutuka enviiri bw’atyo n’awangula.
Abantu abaalabye omwana ono ow’emyezi ekkumi nga nyina amuyingiza mu kizimbe omwabadde empaka beebekengedde bwebatyo nebajulira
Omukyala ono wabula yetonze n’ategeeza nga bweyakikoze okusanyusa muwala…
Poliisi eyimirizza eby’okutunda ssanduuko oluvanyuma lw’okugisangamu engubanguba z’abantu
Ssanduuko eno esssiddwa ku katale era nga bangi babadde bagaala okugigula kyokka kibaweddeko okusangamue engubagumba z’eyali nyini yo.
Ssanduuko eno yabadde esiddwa ku mukutu gwa yintaneeti ng’etundibwa doola omutwalo gumu mu enkumi bbiri
Aba poliisi mu kibuga Lowa beebekengedde bwebalabye ekirango era mu bwangu nebayimiriza eby’okutunda case eno.