Abateberezebwa okutega bomu ezatta abantu e kyaddondo ne Kansanga bandigira nga bawangaalira mu kkomera ga kino kidiridde kooti okugaana okubakkiriza okweyimirirwa.
Bano okuli Edris Magondu ne Hussein Agadenga bonna banansi ba Kenya baakedde kugenda mu kkooti okuwaayo okusaba kwaabwe wabula omulamuzi Ezekiel Muhanguzi n'agaana okukola ku nsonga zaabwe.
Omulamuzi agambye ntii bano beebamu baali bagenda mu kooti…
Okunoonyereza kulaze nga abasajja bwebatayagala kutegeeza basawo nga bakwatiddwa kookolo w'obusajja.
Ekitali ku bakyala nga bafunye kookolo wo ku nabaana, abasajja ebiseera ebisinga kizuuliddwa nti balina ensonyi okwogera ku bulwadde buno.
Kino kiviiriddeko abasajja banji okufa ekirwadde kino olwobutayagala kukyoogerako eri abaawo.
Gavumenti eyongezaayo enteekateeka zaayo ku tteeka eriragira abakozi ba sigala okumusabika mu bisabika ebifanagana okuva mu makolero gonna.
Gavt eyagala ebisabika bya sigala ebitasikiriza nyo bantu kumunywa n'okusingira ddala eri abavubuka.
Abakugu mu nddwadde ya kookolo mu ggwanga lino bazzenga bavumirira ekya gavumenti okwagala enyo omusolo okusinga okufa ku bulamu bw'abantu.
Gavumenti eyagala ebisabika byonna bibeera ne langi…
Abasomesa mu bungereza basabiddwa okuwera emmere abaana gyebajja nayo okuva ewaka okuliira ku masomero.
Ministry yebyenjigiriza mu ggwanga etegeezezza nga eyambibwako abakugu mu byendya bagamba emmere abayizi bano gyebasinga kuleeta tebaamu kiriisa kimala era nga ebamu ebitundu 43%.
Abakugu bano bagamba abaana basinga kuleeta bumpwanchi mpwanchi mukifo kyokulya emere enfumbe ezimba emibiri.
Wano nno webaabidde namasomero okusala ku…
Kamala byonna wa Buganda owekitiibwa Charles Peter Mayiga asabye abazadde bulikko okuyigiriza abaana baabwe emilimu gy’emikono nga bavude ku by’omussomero.
Ng’asisisnkanyeemu abagagga okuva mu kibinja kya Kwagalana, Katikkiro Mayiga agambye nti abaggagga bangi bafuba kusomesa baana baabwe byassomero nebaleka ebilala ate nga byebisinga obukulu
Abaggagga bano bawaddeyo obukadde 15 eri omulimu gw’okuzaawo amasiro,
Yye minister wa kabaka akola…
Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago tannagwaamu maanyi .3
Oluvanyuma lw akooti okugoba okusaba kwe ku kumubuulirizaako, Lukwgaoa gamba nti agenda kujulira
Lukwgao agamba nti tamatidde nsalawo ya kooti era nga ssiwakusirika.
Omulamuzi Vincent Zehurikize olwaleero agobye okusaba kw alukwgao nti akakiiiko akamunonyerezaako kasaanye kukoma olw’ensonga nti kali mu mateeka
Bannabyabufuzi emirundi mingi balumbiddwa nebayitibwa n’abaana abato.
Kino kituukidde bulungi ku meeya eyalondebwa ow’emyaka ena eyalondebwa okukulira ekibuga Dorset ekisangibwa mu Minnesota.
Ono ba meeya abalala gyebalambulira emyaala okulaba oba gigogoddwa , ono obudde bwe abumala mu kunuuna ice cream n’okuvuba obwenyanya
Robert Bobby b’akola nabo bakimanyi nti alina okulya ku ice-cream nga tannakweyongerayo kuvuba n’okuzannya ne banne
Bobby…
Ab’ekibiina kya CAF bakyusizza mu difiiri agenda okufuuwa omupiira wakati wa Tanzania ne Uganda .
Omupiira guno gwa lwamukaaga mu kisaawe kya Tanzaina ekikulu mu z’okusunsulamu abanetaba mu z’empaka za Africa
Kati munnansi wa Burundi Haerve Kakunze y’agenda okusala omupiira guno
Aba tiimu y’eggwnaga eya Cranes basitudde leero okwolekera eggwnaga lino nga tiimu yonna ya bantu 18 n’abakungu…
Abantu abeepena emisolo bakyaali bangi ddala
Kino kisinze kukosa nsawo za gavumenti ez’ebitundu.
Akulira ekibiina ekigatta bannekolera gyange,Gideon Badagawa ayagala gavumenti yekebejje bulungi okumanya bannaugana bameka abeepena emisolo.
Badagawa agamba nti abantu batono abwa emisolo gyebiggwera nga beebamenye bokka ate nga bangi abakozesa ebiva mu misolo gino.
Ono agamba nti mulimu gw agavumenti okulaba nti buli Muntu awa emisolo…
Omuwendo gw’abantu abakafiira mu muliro ogwwe Namungoona gutuuse ku 42.
Omulala abadde ali obubi, Asuman Kiiza afudde
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago, Enock Kusaasira agambye nti kati basigazza abalwadde 7
Tanka y’amafuta yeeyayabika oluvanyuma w’okutmeraganya ne noah era ng’abasinga okuggya baali bazze kusema mazzi.
Ggyo emirambo 2 gikyaali mu ggwanika tekuliika nnyinigyo ng’abasawo balinze kuddamu kugyekebejja