Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebivudde mu kukebera emirambo bifulumye

Ebyava mu kukebera obunyama n'omusaayi gw’abantu ababiri abafiira mu muliro gwe Namungoona mu nkola ya DNA bifulumye . Bano beebamu ku 29  abafirawo mu muliro oluvanyuma lw'ekimotoka ky'amafuta okukwata omuliro  naye nokutuusa kati babadde  bakyabuliddwaako abaabwe. Omusawo wa police eyekebejja emirambo  Dr Moses Byaruhanga, agamba ebivuddeyo biraga nga abantu ababiri abategeeza nga bwebafiibwako abantu baabwe mu muliro…

Read More

Entalo mu Owino tezinaggwa

Sentebe w’akatale ka owino Geoffrey Kayongo wakunonyerezebwako ku bigambibwa nti yalagira abasuubuzi abamuwakanya okukubwa, n'okuwa aba police enguzi . Bino by’ebimu ebiri mu alipoota y'akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z'obwa president akatekebwaawo okunonyereza ku mivuyo egiri mu katale ka S.t Balikudembe abangi ke bayita owino. Akakiiko kano era kakizudde nga police bw'erimu kyekubira mu kugonjoola endoliito…

Read More

Poliisi ekugidde abasiraamu

Police erinye eggere mu nteekateka z'ekabinja ky'abasiramu b’omuzikiti gwa  SPIDIKA wali mu kisenyi ababadde beesomye okulumba omugagga  Bosco Muwonge eyagula ettaka okuli omuzikiti gwaabwe. Abaddu ba Allah bano, Muwonge bamulanga kwekobana n'abamu kubakulembeze baabwe n'agula ettaka lino obuwumbi bubiri nekitundu. Police ng'ekulembeddwamu aduumira police yo ku old Kampala Moses Gobola balabukiridde abayisiramu ababadde batuuse ku offiisa ya…

Read More

Tujja kuyingiza kifuba

Abagoba ba taxi baweze okuyingira paaka ya tax empya ekyali mu kuddabiriza ku kifuba nga omwezi guno guweddeko. Kino kiddiridde akulira ekibuga Jeniffer Musisi okwongezayo okugulwawo kwa  paaka eno mu mwezi gw’ekumi okubadde okw’omwezi guno Kino kyavudde kukukyusa plan ya paaka eno nga kati yakuberako emyaliriro egy’enjawulo okugenda okubera zi banka, police nebirala. Sentebe wekibiina ekigatta abagoba nebakondakita…

Read More

Paaka empya ssiyakuggwa kati

Okuddabiriza paaka empya kwakutwala ekiseera kiwanvu ko okusinga nga bwekyaali kisubirwa. Paaka eno yalina okugulwawo omweezi guno wabula nsalasale ayongezeddwayo okutuusa omwezi gw’ekumi.   Akulira ekibuga Jeniffer Musisi agamba bongzayo  olw’okukyuusa pulaani ya paaka eno ,nga  kati yakutekebwako emyaliriro egy’enjawulo okusuubirwa okubeera zi banka, plice nebirala.

Read More

Omuliro gukutte ekisulo ky’abayizi

Omuliro gukutte ekisulo ky’esomero essomero lya  St Joseph Senior Secondary School, e Villa Maria, mu district ye Kalungu negusanyawo bya bukadde.   Omuliro guno gwatandise ku sawa nga biri ezekiro nga abayizi bali mu bibiina basoma negusanyawo ebintu byabayizi abasoba mu 65, Amyuka omukulu w’esomero lino  Denis Ssenyange ategezezza nga abayizi bana bwebadusiddwa mu dwaliro ly’e villa Maria…

Read More

Aba Cranes batendeka nkya

  Team yegwanga eya Cranes,yakuddamu okutendekebwa olunaku lwenkya nga yetegekera omupiira ogwokudingana ne Tanzania kunkomerero yomwezi guno. Team eno eyabazanyi abagusambira awaka yawutudde Tanzania week ewedde goal 1-0 era nga kubazanyi ababadde e Dar es Salaam,omutendesi Micho ayongedeko abazanyi mwenda (9) nebawera 25. Uganda egenda kudingana ne Tanzania nga anayitawo wakugenda buterevu mumpaka ezakamalirizo ezigenda okubeera mu South…

Read More

Abaddusi

Abaddusi bemisinde bakwetaba mumpaka ezisembayo nga zino zezokusunsulamu abanakikirira Uganda muzensi yonna eza World Athletis Championships ezigenda okuyindira mugwanga lya Russia omwezi ogujja. Empaka ezokusunsulamu abaddusi ba Uganda,za nga 19th ne 20thomwezi guno mukisaawe e’Namboole. Abaddusi abanasinga bakwewangulira ensimbi eziwereraddala shs 5m era zakwetabwamu amateam okuva mu Districts,Amatendekero agenjawulo,amakampuni wamu nama Clubs.

Read More

Omuzungu asobeddwa

Omusajja enzaalwa ya America ekimazeeko abantu bw’agolokose nga takyamanyi yadde akazungua katono. Omusajja azuukuse ayogera lu swiidi lwokka nga tajjukira na byabaddewo Omusajja ono Michael Boat Right nga wa myaka 61 asangiddwa nga tamanyi bili ku nsi kyokka ng’oluzze engulu nga bamututte mu ddwaliro n’atandika okubuuza abantu kyebamukolako naye ekisinze okwewunyisa nga takyayogera luzungu wabula lu swiidi Abasawo…

Read More

Mamba Gabunga ewereddwa

Mu Mpaka zemipiira gyebika,e Mmamba Gabunga egobeddwa mu mpaka z'omwaka guno olw'okujeemera embuga nebagaana okusamba omupiira n'ekika kya Kakoboza. Ebika bino byombi by'alina okusamba omupiira ku lwokusatu lwa week ewedde nga 10th July omwezi guno,wabula e Mmamba Gabunga n'egaana okulabikako ng'ewakanya ekya Kakoboza okutongozebwa nga ekika ekirala okuva ku Mmamba. Sentebe wakakiiko akategesi k'emipiira gy'ebika Owek. Sebaana…

Read More