Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni avudeyo nayogera kyababaka okweyongeza emyaka okuva ku 5 okudda ku musanvu kooti kyeyagobaganya.
Kinajukirwa nti abalamuzi bonna omusanvu baagala okyababaka okweyongeza emyaka, nga bagamba nti kimenya mateeka.
Ono okwogera bino abadde mu gwanga lya South Africa gyali kakano mulukungana lwebyobusubuzi nagamba nti abalamuzi tebaafudde ku mulamwa gwakino, wabula nebeesiba ku…
Bya Ssebuliba samuel.
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 ayanirizza mubutongole omugenyi we omukulembeze Asantahene, mu lubiri wano e Mengo
Mu nsisinkano eno Katikiro wa Buganda alombojjedde abagenyi ebyafaayo bya Buganda okuviira dala kukaba kintu, okutuusa leero ku mulembe omutebi.
Ono ategeezeza Asantahene nti Ssabasajja yali wankizo nyo okulaba nga uganda egibwa mimikono gyabasibira mubbwa mulutalo…
Bya Sam Ssebuliba ne Ivan Ssenabulya
Abakulembeze ab’enono basabiddwa okukwesigama nga kumukama nga bawereza abantu bebatwala, era bamwekwase mubuli kyebakola.
Bino byogeddwa akulira obusumba bwe Namirembe Bishop Kityo Luwalira bwabadde akulemebedemu okusabira ssabasajja Kabaka wa Buganda, kko nomugenyiwe Asantahene akulira obwakabaka bwa Asante okuva mu Ghana.
Bishop Kityo asinzidde ku lutiko e Namirembe nagamba nti omukulemebeze omulungi yalungamizibwa…
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Musevei avumiridde obusosoze mu mawanga, bwagamba bweyolekedde mu kulonda kwomubaka wa munisipaali ye Bugiri.
Okulonda kuno kwawanguddwa presidenti wa JEEMA Asuman Basalirwa.
Mu kiwandiiko kyawerezza okuva e South Africa gyeyetabye mu lukungaana lwebyobusubuzi olwa BRICS, Museveni agambye nti okulonda bakutambulizza ku ani muisiraamu, ani Musoga ani atali, ani Budaama nebiralala.
Museveni…
Bya Ivan ssenabulya .
Abakola ogw'okubudabuda abantu mu gwanga abeegatira mu kibiina ekya Uganda counselling Association bategeezeza nga bwebagenda okutegeka okubudabuda abantu okw'obwerere mu mwezi guno gwetugenda okuyingira ogw'omunana.
Twogedeko n'omwogezi w'ekibiina kino Ali Male,nagamba nti abantu benyiyiddwa obulamu olw'ettemu erigenda mu maaso, obwavu obutakya ,obumenyi bw'amateeka nebirara.
Kati ono agamba nti kino kyekibabagudde okutegeka enkola eno ey'okubudabuda…
Bya Samuel Ssebuliba.
Government ategeezeza nga bwetandise okukola entekateeka egenda okulambika enkulakulana, kko n’ozimba amayumba mu gwanga lyonna nga eno emanyiddwa nga National physical development plan.
Okunonyereza kulaga nti wegunakonera omwaka 2040 nga abantu abasula mu Kampala n’emiriraano bakoonye obukadde 15.
Twogedeko ne Samuel Mabala nga ono ye director akola ku by’amayumba mu ministry y’ebyetaka n’amayumba , nagamba…
Bya Joel Kaguta
Speaker wa parliament Rebecca Kadaga alagidde abakulembeze b’ebitundu okukwata abazadde abatatwala baana mu masomero, nga kwogasse n’okufumbiza abaana abakyali abato mu bitundu bye kasese.
Ono agamba nti omulimo gw’abano kulaba nga abaana babeera mu masomero naddala abawala, kale nga abazadde abatafaayo bagwana babeera mu makomera.
Ono mungeri yeemu abalagidde n’okuyisa amateeka agagenda okukifuula eky’obuwazze okulaba…
Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, ajjukiza Obuganda ku bukulu bw’ebyenjigiriza mu Buganda.
Ssabasajja okwogera bino abadde ku tendekero lya Buganda Royal Institute, nga akwasibwa ekizimbe ekyabuddwamu ssekabaka Mulondo, nga bino by'ebimu ku birabo bya ssabasajja ebyamatikira gano aga jubilee.
Mukwogera Omutanda agambye nti amaanyi ga Buganda n’ebiseera eb’omumaaso bitudde mu by'enjiriza.
Mukusooka katikiro…
Bya Ssebuliba samuel.
Ministry ekola ku by'obulamu ewakanyizza ebibade bigambibwa nti ekirwadde kya Polio ky'anaawuse okuva mu congo nekiyingira mu uganda.
Ebiwandiiko ebiva mu ministry ekola ku by'obulamu biraga nga Polio bweyakoma okujja mu gwanga mu mwaka 2010, kale okuva olwo uganda eri mu mirembe.
Kati twogedeko n’omwogezi wa ministry eno Vivian Sserwanja n'agamba nti uganda erudde…
Bya Ben Jumbe.
Ababaka ba parliament bano abaaganiddwa okweyongeza emyaka 2 balabuddwa nti kino kikolenga eky'okulabirako
Kuno okulabula kukoleddwa eyali akulira ekibiina ekigatta banamateeka ekya Uganda Law Society Francis Gimara.
Kati ono agambye ababaka bagwana bakimanye nti amateeka tekitegeeza kubeera bangi, wabula buli kawayiro ka teeka kagwana okwetegereza.
