Mbale ewali omusango ogw’okukyusa mu ssemateeka agavaayo galaga nga abalamuzi ba kooti ejulirirwamu babiri bwebakaanyiza ku ky'okugaana ababaka okweyongeza emyaka bave ku etaano okudda ku musanvu.
Omulamuzi Elizabeth Musoke akaanyiza ne justice Chebrion Barishaki nti ababaka tebagoberera ssemateeka nga beyongeza emyaka.
Omulamuzi Musoke bwatuuse ku nsonga y’okugoba ababaka mu parliament, agambye nti kino kyali kigwana kubanga ababaka…
Bya Samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni asabye abantu be Bujuri obutakola nsobi ku lw’okutaano , wabula balonde munna-NRM Francis Okecho nga omubaka wekitundu kino nga 27th Friday.
Bwabade ayogerera mukuyigga akalulu kamunna-NRM agambye nti NRM sikibiina kyakwogera wabula kukola, era nga kino kyeragidde kunguudo ezikoleddwa.
Ono mungeri yeemu agambye nti ku nsonga y’amazzi abantu tebagenda kujula…
Bya Kyeyune Moses
Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa awakanyizza ebyogerwa nti okukyusa okyusa obukulembeze bwaba ssentebbe bobukiiko bwa palamenti bakyesigamizza ku bawagira aennongosererza eza ssemateeka oba Tijokwatako nabatwagira.
Bino webijidde ngababaka abasing abawakanya ennongosererza zino basuliddwa ettale okuva mu biffo byebabaddemu.
Omubaka omukyala owa district ye we Amolatar Doreen Amule, eyasemba ekiteesos kino yagonomoddwako obwa ssentebbe owakakiiko ka…
Bya Shamim Nateebwa.
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi olunaku olwaleero akwasiddwa ekitundu ekisooka ekya Twekobe ejjudde ng'ono ateereddwaamu ebintu ebituukaana n'omulembe.
Kinajukirwa nti olubiri lwe Mengo lwalumbibwa mu mwaka 1966 nga 24 May, era ebintu bingi byabbibwa ate ebirala ne byonoonebwa.
Mukwogera Katukiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asiimye olukiiko olukulemedwa Omukulu GodreyKirumira, nga luno…
Bya Ritah Kemigisa.
Ministry ekola ku government ez’ebitundu etegeezeza nga bweweze eky'abasentebe b'ebyako okusaba abantu 10% ku nsimbi zebajja mutaka ly'ebatunda.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire ku ntekateka z'okulonda basentebe ba LC2 nga 27th , minister omubeezi owa government ez’ebitundu Jenifer Namuyangu agambye nti kino ekikolebwa kikyamu era nga kirina okukoma.
Namuyangu agamba nti ensimbi zino basentebe zebasaba teziri…
Bya Damali Mukhaye.
Police etutegeezeza nga bwesazizaamu akakalu kweyali eyimbulidde omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu , era nga kakano file ye egenda mu kooti.
Kinajukirwa nti ono police yamuggulako omusango ogwokwekalakasa olw'omusolo ogwatekebwa ku social media, era abawerako kubyeli nabo nebakwatibwa, wabula leero police yeefudde nga egamba nti alemeddwa okweyanjula eri polisi mubuntu nga bwebamulagira.
Munamateeka…
Bya Moses Kyeyune.
Speaker wa Parliament omukyala Rebeca Kadaga alagidde akakiiko akakola ku by'empuliziganya okwanguwa okunyonyola parliament kwaki baaweze ookukozesa airtime ow’okutakula.
Speaker okuvaayo kidiridde omubaka we Busiki Hon Paul Akamba okwemulugunya nga bannayuganda bwebatereddwa mukunyigrizibwa okutagambika era nga bangi tebakyasobola nakuteeka airtime ku masimu gaabwe.
Ono agamba nti nsalesale owa nga 31st agenda kuleka banna-uganda mukatyabaga, kubanga…
Bya Samuel Ssebuliba.
Olukiiiko olutekateeka omukolo gw’amatikira ga ssabasajja kabaka aga Jubileo lulabudde abantu abalina okubaako emikolo gyebakola ku kabaka wabula nga tebaayitiddwa obutageza kwesukulumya.
Bwabadde ayanja entekateeka zino, Owek, Hajji Twaha Kawaase agambye nti ebika nga ab’obutiko abazina amazina amagunju nab’embogo abakongojja kabaka baamazedda okusunsulamu abagenda okukola emikolo gino, kale nga abaayitiddwa tebagwana kwesusukulumya.
Ono agamba nti…
Bya Samuel ssebuliba.
Police wano e Luweero, etandise okunonyereza ku musajja asangiddwa nga afiiride kukubo amakya ga leero.
Afudde ategerekeseeko lya Ssentongo atemera mu myaka nga 50, nga ono abade mutuuze ku kyalo Kisooba, wano mu Bombo town council.
Ayogerera police yeeno, Paul Kangave atubuulide nti omulambogwe gusangiddwa nga gusuulidwa kukubo okumpi namakaage, nga ne pikipiki esuulidwa kubbali…
Bya Damali Mukhaye.
Kampala:Okulwawo okuzimba ekisaawe kye Nakivubo kyogedwako nga ekivudde ku government okulemwa okugoberera endagaano gyeyasaako omukono nabazimba ekisaawe kino.
Twogedeko ne Hamis Kigundu , nga ono yeyali yeeyama okuzimba ekisaawe kino naagamba nti government ekyalemeddwa okutuukiriza obukwakulizo obwali mu ndagaano eno, kale nga kino kibaziizza emabega .
Kinajukirwa nti Kigundu ono yakola endagaano ne government okumukiriza…
