Bya Ndaye Moses.
Waliwo okunonyereza okukoleddwa ekitongole ekikola ku by’emiwendo ekya Uganda Bureau of statis nga eno eraze nga abakyala ebitundu 68% bwebali mubufumbo obubanyiga, wabula nga ekibasigazzayo kukuuma baana baabwe.
Bano bagamba nti abakyala bebaabuza bagamba nti mubufumbo bwabwe batudde kumpiso, wabula nga batya ekitiibwa ky'amaka gaabwe okuyiika, songa abalala balinda baana baabwe bakule balyoke baduke.
Twogedeko…
Bya Riitah Kemigisa.
Ssabapolisi we gwanga Martin Okoth Ochola aliko amateeka gawereza eri abaduumira polisi ku mitendera egy'enjawulo, nga gano gegagenda okubalambika emirimo gyabwe nga bakuuma okulonda okugenda okubaawo mu sabiiti eno.
Ono agambye nti tebagenza nebakozesa amaanyi agayitiridde okukakanya embeera bweba ebatabuseeko,songa mungeri yeemu abagaanye okwefula abaliko ekibiina kyebawagira.
Wabula Ochola agumizza banna- uganda nti polisi egenda …
Bya Moses Ndaye.
Waliwo okunonyereza okukoleddwa nekizuuka nga abantu abasomyeko wano mu gwanga ate bwebakyasinze okwanguwa okugaba enguzi .
Okunonyereza kuno okwakoleddwa aba Uganda National Bureau of Statistics ku by'obukulembeze, edembe kko n'obutebenkevu eraze nga abantu abaasoma abakola ebitundu 16 % bwebaali bagabye kunguzi.
Twogedeko n'akulira ekitongole kino Paul Mungereza nagamba nti ebizuuliddwa bigenda kuyamba parliament okukola amateeka…
Bya Ivan Ssenabaulya
Amawulire getufunye, galaga ngomuyimbi Hajati Madiina bwakyalai omulamu.
Amawulire agabadde gassaana anti ono afudde, wabula tutegezeddwa nti mulamu.
Presidenti wabayimbi Andrew Benon Kibuuka ataukakasizza anti mulamu.
Kati asabye abanatu baveeyo okumudukirirra.
Omukwanaganya wabayimbi nabategesi bebivvulu Tonny Ssempija atubulidde nti bali mu ntekateeka, okumutwala mu ddwaliro eddene.
Bya Abubaker Kirunda
Waliwo abaana abalongo abafiridde mu muliro, ogukutte ennyumba mu munispaali ye Njeru e Buikwe.
Entiisa eno abadde ku U.E.B mu Kabuga ke Njeru.
Daniel Magumba eyerabiddeko nga mulirwana abazadde babaana bano tebabaddeewo, omuiro wegukwatidde.
Abaana bano babadde ba myaka 5, ngoluvanyuma poliisi ejjeewo emirambo nejitwalaiba mu gwanika lye ddwaliro e Jinja ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu district ye Sembabule etandise eokunonyereza kungeri omusajja owemyaka 32 gyeyasangiddwamau nga yafiridde mu kidiba.
Joseph Mukwaya abadde mutuuze eku kyalo Kiwula mu twon council ye Sembabule.
Ababadde bagenze okusena amazzi bebalabye omulambo guno, nebalaya enduulu.
Okusinziira aku ssentebbe we kyalo Siraje Kasule omugenzi alabaika yagaudde emu mazzi bweyabadde agezaako okuloba ebyenyanja.
Omwogezi wa poliisi…
Bya Samuel Ssebuliba
Eyali omuyambi wa Gen Kale Kayihura Jonathan Baroza akyaliiira ku nsiko, nga yasulawo nomulimu gwe, wabulanga ne poliisi ekyagenda amu maaso nomuyiggo.
Okusinziira aku kiwanadiiko ekyawerezeddwa eri abaddumizi ba poliisi mu district ezenjawulo, Baroza yali atekeddwa okubeera aku mulimu gyebamutuma mu gwanga lya Algeria nga 10th July wabulanga teyagendayo, nga kiteeka aobulamu bwe mu…
Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole ekivunanyizibwa ku ntambula yomu bbanga mu gwanga ekya Civil Aviation Authority olwaleero kyakusunsula aba Uganda National Airlines.
Abakulu mu kambuni eno bakulabikako eri aba CAA okukaksa obusobozi bwabwe lwakai balina okuweebwa lisence.
Civil Aviation Authority era eyise abantu babulijjo okubaawo okulaba ebikolebwa oba nokwetabamu bagaane ebyo byebatali bamativu nabyo.
Uganda Airline yazibwa aobugya nga balina…
Bya Ritah Kemigisa
Ministry yabakozi egamba nti yakwanja alipoota yaabwe kekwata ku kugatta kwebitongole bya gavumenti ebimu.
Kinajjukirwa nti mu July wa 2017, omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni yalagira wabeewo okuddamu okwekennenya ebitongole nti bisukiridde obungi ngebimu bigwana kugattibwa okukendeeza neku nsasanya yensimbi.
Kati Minister webyensimbi Matia Kasaija nowabakozi Muruli Mukasa baweebwa obutasukka nga December 20 okuwaaayo entekateeka…
Bya Ruth Anderah
Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita ajjeewo emisango gyobutujju, ku omusawo munn-Uganda awangaliira mu Austria Dr. Aggrey Kiyingi nabalala 2 bwebabadde bavunanibwa olwokulemererwa okumukwata.
Kino kidiridde omuwaabi wa gavumenti mu musango gwa ssabayekera wa ADF Jamilu Mukulu, nga ye John Baptist Asiimwe okuleeta empaaba eyakoleddwamu ennongosereza eraze nti abavunanwa 3 babejerezza ate abalala 2 nebongerwako…
