Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Uganda etandise okwetangira Ebola

Bya Shamim Nateebwa Oluvanyuma lwekirwadde kya Ebola okukaksibwa ku muliraano mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo, ministry yebyobulamu kuno egamba etandise okubaga ku ntekteeka yokwetangiramu ekirwadde kino. Bwabadde ayogerako naffe minister omubeezo owebyobulamu Sarah Opedi, agambye nti abataddewo akakiiko akenjawulo, okulondoola ensonga. Kati minister era ategezezza nti balina obukugu obumala okwenaganga ekirwadde kya Ebola. Mu mwaka gwa 2000…

Read More

Uganda terina nsawo yebya ttaka enzibizi

Bya Ivan Ssenabulya Uganda terina nsawo nzibizi eyebye ttaka jiyite land fund. Kino kibikuddwa minster webye ttaka Betty Amongi, labiseeko mu kakaiiko akanonyererza ku mivuyo gye ttaka, mu lunnaku lwe olwokubiri. Etteeka lye ttaka lilagira okutondebwawo kwensawo eno, wabula Amongi ategezeza nti yatondebwawo naye ebadde tekola. Munamateeka wakakiiko Ebert Benkya, bwagenze mu maaso okukunya Amongi amaze nakiriza nti teriiwo…

Read More

Amongi nate ali mu Kakiiko, bamukunya

Minister owebye ttaka okuzimba nekulakulana yebibuga Betty Amongi alabiseeko nate mu kakaiiko akanonyereza ku mivuyo gye ttaka mu gwanga. Ono yalabiseeko mu maaso gakakiiko akakubirizibwa omulamuzi Catherine Bamugemerirwe wali ku kittebbe e Wandegeya, olunnaku olwe ggulo gyebamukunyirizza okukozesa obukyamu wofiisi ye okwatala ettaka lyomuyindi Tshaka Partel erisangibwa e Kololo. Kato ono olwaleero asubirwa okunyonyola ku nsawo ya…

Read More

Omutanda agaddewo ttabameruka wabakyala

Bya Shamim Nateebwa Kijiddwa mu bikadde: Nakalema Jamiidah ngali ne Kabaka Mutebi Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 alabiseeko eri Obuganda akawungeezi kano. Omutanda atuuse ku Hotel Africana okuggalawo ttabameruka abakyala mu Buganda. Ssabasajja agaddewo ttabamiruka wabakyala mubwakakabaka bwabuganda owomwaka guno wakati mu kwetegekera olunaku lwabakyala mubwakabaka bwa Buganda olunabaawo nga 13 May. Ssabasajja asoose kusiima banamawuliire…

Read More

DP egenda kutuuza olukiiko lwa NEC

Bya Ivan Ssenabulya Abekibiina kya Democratic Party bakutuuza olukuuko lwabakulembeze abaoku ntikko olwa National Executive Committee nga 10th ku Lowkuna lwa wiiki eno. Ssenkaggale wa DP Nobert Mo ategezeza nti ebimu ku biri ku mwanjo, kwekusala entotto okufuna ensimbi ezokuzimba ekitebbe kyabwe, kyebatuuma Ben Kiwanuka House. Polojekiti eno yakumala emyaka 3 nga yakumalawo obuwumbi 8. Abakulembeze mu kibiina 40…

Read More

Muhwezi aganze mu kooti

Bya Ruth Anderah Eyali minister webyamawulire Rt.  Maj. General Jim Muhwezi addukidde mu kooti enkulu okuwakanya, ekyokumugoba ku ttaka erisangibwa ku Kyadondo block 273, Kyamula-Salaama mu divison ye Makindye. Muhwezi  ayise mu munamateeka we Ahmed Mukasa Kalule, okutuusa ensonga ze mu kooti. Muhwezi agamba nti ye nanayini ttaaka omutuufu nga yaligula ku William Hitmana mu 1995 ngera abadde…

Read More

Ochola asatuludde Flying Squad

Bya Sam Ssebuliba Ssabapoliisi we gwanga Martin Okoth Ochola asatuludde ekiwayikya kya poliisi ekya Flying Squad. Mu kiragiro kyayisizza eri abaddumizi ba poliisi Ochola ekibinja kino akisatuludde nakisikiza kyayise ekitongole kya Organised Crime Department nga kigenda kudumirwa eyali addumira Special Investigations Unit Mark Odong. Kinajjukirwa nti Ochola mu wiiki ye eyokubiri nga Ssabapoliisi Ochola yakola enkyukakyuka ku bitongole…

Read More

Akakiiko akanoonyereza ku by’etaka kataamidde minister Betty Amongi.

Bya Ruth Anderah. Ssentebe w’akakiiko akanonyereza ku mivuyo gy’etaka nga ono ye mulamuuzi Catherine Bamugemereirwe akirambise nga bwebatalina gwebagenda kubikkirira newankubadde okuzibira kuliiso nga banonyereza ku nsonga z'ebyetaka. Ono okwogera bino abadde agulawo olutuula akakiiko mwekasisinkanidde minister w’ebyetaka Betty Amongi eyabadde agaanye okukasisikana. Kati mukwogera Bamugemereirwe agambye nti bbo nga akakiiko bakiriza nti buli muntu ali wansi w'amateeka,…

Read More

Nabagereka ajukizza abakyala obukulu bw’obuntu bulamu.

Bya Shamim Nateebwa . Nabagereka wa Buganda Sylvia Naginda akubiriza abakyala mu bwakabaka bwa Buganda bulijjo okuba n’obuntubulamu nga ekubo ely'okuletawo  enkyukakyuka mu mbeera z’abantu ko n'enkulakulana. Nabagereka okwogera bino abadde agulawo Ttabamiruka w'abakyala ba Buganda ng'ono yakulembedemu ebikujjuko by'olunaku lw'abakyala mu Buganda olubawo buli 13 May. Mukwogera Nabagereka agamba nti obuntubulamu bwetagisa munsi yona kuba buletawo emirembe…

Read More

Ababbi be motoka beeyingizza bokka mu komera.

Bya ssebuliba samuel. Mu South Africa: Waliwo ababbi b'emotoka police beegobye  mutala ku mutala, balabye polisi ebayitirideko nebayingira mu komera nebeegalira bokka. Abasajja bano abana baludde ebanga nga beefudde bakafulu mukubba emotoka, kyoka leero police nayo yabeweeredde okubagoba okutuusa nga ebakutte Wayne Dyason nga ono yayogerera police ya cape town agamba nti abakulu bano balabye police etaamye…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play