Bya Samuel Ssebuliba.
Abalwanirizi b’edembe ly’obuntu basabye amawanga aga East Africa, kko n’abakwatibwako ensonga okuvaayo okuvumirira eky’asalidwawo egwanga lya Burundi, nga bano baaweze emikutu gy’amawulire okuli BBC ne voice of America okuddamu okukolera mu gwanga lino.
Bano okufuna emitawaana kyadiridde omukutu gwa BBC ogwa Bufalansa okuwayaamu ne munansi wa Burundi eyadukira mu Brussels naabaako beyayogedde ku President…
Bya Ruth Anderah
Omukozi ku ttendekero lye Makerere eyakwatibwa ku byokukabasanya omuwala, olwaleero avunaniddwa mu kooti ya Buganda Road oluvanyuma nasindikibwa ku alimanda e Luzira, emisango gya kugezaako kukaka mukazi mukwano.
Edward Kisuze yakwatibwa poliisi nga 13thApril omuwala bweyalaga ebifananyi, ebyali mu kasenge 507 ku Senate building, omusajja ono ngamwekakatikako.
Kisuze emisango ejimusomeddwa agyegaanye.
Omulamuzi ali mu mitambo gyomusango…
Bya Ndaye Moses
Ekibiina kya Wildlife conversation Society, kivuddeyo okuwakanya ne ssekuwakana yenna okuteesa kwababaka ba palamenti, gavumenti okutunda amasanga gonna agazze gakwatibwa, nti gatundibwe.
Ssenkulu wekitongole kino Simon Takozekibi agambye nti amasanga mu kaseera kano agakumibwa, aba Uganda revenue Authority, police naba Uganda wildlife Authority gatekeddwa okwokebwa, kubanga gavumenti ekozesa ensimbi nnyingi, okugakuuma.
Agambye nti okugatunda ate…
Bya Ruth Anderah
Omugoba wa boda boda olukaali lumuzalide akabasa.
Ono asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku bigambibwa nti yakubye omusabaze we ebikonde.
Opolot Simon asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisoka Patrick Talisuna wabula neyegaana omusango.
Kigambibwa nti Opolot nga mutuuze mu Kisenyi mu Kampala, nga March 6th 2018 mu Mulimira zone e…
Bya Shamim Nateebwa
Waliwo omutuuze atidwa muntiisa.
Hussein Ssekimuli omutuuze w’e Kasubi mu Zooni 4 omulambo gwe gusangiddwa mu muzigo gw’abadde yaakamalamu ennaku bbiri banne bwebabadde bakola.
Wabula amakya ga leero banne b’abadde akola nabo e Nakulabye mu saloon bwebaludde nga tebamulaba nga n’eggulo teyakoze bakubye ku ssimu ye nga teriiko emitima negyewanika.
Omulambo gwa Ssekimuli guggyiddwawo poliisi negutwalibwa…
Bya Magembe Sabiiti
Police e Mubende ekute omuvubuka Yitanga Diayadeng owe myaka 27 lwa kukira omwana Namawejje Namukisa owe myaka 13 namutta.
Bino bibadde ku kyalo Musale mu gombolola ye Myanzi nga omwana atiddwa abadde muyizi ku somero lya Bright Academy P/S e Myanzi Mubende.
Omwogezi wa police atwala Wamala Region Nobert Ochom agamba nti omukwate yasangiddwa nga…
Bya Ben Jumbe.
Bwetugendako e Rukungiri ewagenda okubera okulonda okw’okujuza e kifo ky’omubaka omukyala,akakiiko akakola ku byokulonda olwaleero kagenda kutegeka olukiiko mwekagenda okulambikira kakuyege bwagenda okutambula.
Olw'okano luno lulimu abavuganya 6 , nga kuno kuliko owa FDC Betty Muzanira, Faith Kukundakwe owa PPP, owa NRM Winnie Matsiko , eyaliko minister w'abakozi ba govumenti omukyala Sezi Mbagura nabalala…
Bya Ivan Ssenabulya.
Akakiiko akalera edembe ly’obuntu mu uganda aka Uganda Human Rights Commission katenderezza banamawulire olw’okutwala akadde nebakunganya, buli kikolobero eky'okusambirira edembe lyobuntu nga kwogasse n'okubyanika eri eggwanga.
Ssentebe w’akakiiko kano Meddy Kaggwa agamba nti banamawulire bakoze kinene okwanika buli kikwatagana n’okusambira edembe lyobuntu, era nga wano nabo webasinzira okubaako by’ebalondoola.
Wabula ono avumiridde ebikolwa eby’obwanagwano eby’olesebwa…
Bya samuel sebuliba.
Gavumenti ya uganda etegeezeza nga bwegenda okutandika okugema abantu be Hoima abakoseddwa ekirwadde kya Cholera nga bano okusiga bebabundabunda.
Okugema kuno kugenda kugassa abantu abasuka mu mitwalo 36 mubifo 6 okuli Kyangwali, Kigorobya Kabwoya egombolola ye Buseruka , Town council ye kigolobya, kko nenkambi yababundabunda eye Kyangwali refugee settlement.
Dr Yonas Tegegn nga ono y’akulire…
Bya Ruth Anderah
Abakazi bagya bavunaniddwa oluvanyuma nebasindikibwa ku alimanda e Luzira, lwakulwanira mu lujudde.
Peace Akello owemyaka 22 ne mugya we Brenda Pinner owa 23 nga batuuze mu Kikulu zone e Kisasi mu Kampala basimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ya City Hall Patrick Talisuna, wabula emisango nebagyegaana.
Kooti yakitegeddeko nti nga 17th March 2018 e Kisaasi…
