Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Bahati akubaganye empawa ne Muhakanizi

Bya Benjamin Jumbe Minister omubeezi owebyensimbi David Bahati akaontanye nomuwandiisi owenkalalira ku byokuwooza ebitabo ebitukuvu Omuwandiisi ow’enkalakalira mu ministry yebyensimbi Keith Muhakanizi, olwaleero ategeezeza nti kino baamaze okukirowoozako, era tebayinza kwejjusa. Bwabadde ayogerera mu kutongoza alipoota ekwata ku by’enfuna bye gwanga eyakoleddwa bank yensi yonna, omuwandiisi  owenkalakalira mu ministry eno Keith Muhakanizi agambye nti talaba mutawaana ku kyakuteeka…

Read More

Police etereddwa kuninga ku by’okutta n’okuwamba abantu.

Bya Kyeyune Moses. Ababaka abatuuka ku kakiiko akakola ku dembe ly'obuntu batadde police kuninga nga baagala enyonyola ensonga lwaki okutta abantu kweyongedde mu gwanga kyoka nga mpaawo kyamaanyi kikolebwa. Leero police nga ekulembedwamu minisita  omubeezi akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Obiga Kania ko ne ssabapolice  Martin Okoth-Ochola  balabiseeko mu kakiiko kano okubaako byebataanya ku nsongga z’ebyokwerinda. Kati…

Read More

Omubaka we Buyaga asimatuse akabenje.

Bya Magembe sabiiti. Omubaka we Buyaga east Eric Kyali Musana tutegeezeddwa nga nga bwasimatusse akabenje, nga ono akabenje akafuniddwa wano ku luguudo olugatta Kampala  ku Mityana. Ayogerera police ya Wamala Region Nobert Ochom agamba nti  omubaka ono okuggawa ku kabenje abadde avuga motoka namba UBD- 441 R prado. Eno emotoka okufuna emitawaana emaze kuwaba neeva kuluguudo okukakana…

Read More

Banabyabufuzi abeewogoma okuwa omusolo bacoomeddwa

Bya Ssebuliba samuel Banabyabufuzi mu uganda basabiddwa okukoma okwebuzabuza ku byokuwa omusolo, kyoka nebagulekera abaavu okugwetikka. Bwabadde eyogerera ku mukolo ogw’okufulumya alipoota ekwata ku byenfuna bye gwanga nga eno yakoleddwa banka y’ensi yonna, omuwandiisi we nkalakalira mu ministry eno Keith Muhakanizi agambye banabyabufuzi bangi bwekituuka ku musolo  bayisa amateeka agabataatira, kyoka nga bafuna omusaala kisaagande ogwetaaga…

Read More

Buganda ya’kusalawo ku kyo’kuddabiriza Olubiri

Bya Ivan Ssenabulya Obwakabaka bwa Buganda bugamba bwakutunula mu kusaba okuliwo okuddabiriza olubri lwa Ssabasajja e Mengo. Kino kikakasiddwa Kamalabyonna wembuga Charles Peter Mayiga, bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olukyagenda mu maaso amakya ga leero. Ategezeza nti bangi bakoze okusaba ku nsonga eno, kubanga olubiri lubaddewo myaka na myaka, kalenga lwetaaga ekifananyi ekigya. Kattikiro era atagezezza nti abamu…

Read More

Okwetegekera omusango gwa Jamil Mukulu kutandika

By Ruth Anderah File Photo: Mukulu ngali ku npingu Okwetegekera okutandika okuwulira omusango gweyali omuddumizi wabayekera ba Allied Democratic Forces Jamil Mukulu kusubirwa okutandika olwaleero mu maaso gomulamuzi Eve Luswata owa kooti ewozesa ba kalintalo wano mu  Kampala. Mukulu ngavunanibwa nabalala 34 awerenemba na misango gya butujju, obutemu, nga yasooka naggalirwako e Nalufenya mu district ye Jinja nasimbibwako…

Read More

Ebyo’kuwamba bivudde ku bunaffu bwa poliisi

Bya Ivan Ssenabulya Abakugu mu byokubudabunda, aba Uganda Counselors Association bagamba nti ebikolwa byokuwamba abantu mu gwanga ebyeyongera biva ku bunaffu, bwabyekwerinda okuzuula nokuvunaana abatta omugenzi Susan Magala. Bano bagamba nti ebikolwa nga bino biva mu bwongo wabula nga wabaawo embeera ebisesaamu. Bwabadde ayogerako naffe omwogezi wekitongole Ali Male agambye nti omusango gwa Magala gwawa abantu abakyamu ekyokulabirako,…

Read More

Kyambogo eleeta abasomesa abacuba.

Bya samuel Ssebuliba. Etendekero elya  kyambogo litegeezeza nga bwerimaze okubaga ku ntekaeeka ez'okuleeta abasomesa abacuba mu gwanga. Bano okwogera bino babade balabiseeko mu kakiiko  ka palamenti  akakola ku by'enjigirize , ababaka gyebakizuulide nti kyambgo etegegee okuleeta  ba professor 15 nga buli omu asasulwa obukadde musanvu . Mukunyonyola Professor Fabian  Nabugwomu nga ono yemubeezi w’amyuka akulira etendekero lino agambye…

Read More

Omuliro gukutte enyuma-Ssemaka afiiridemu.

Bya Ritah Kemigisa. E Lungujja  wano tutegeezeddwa nga bwewaliwo omusajja wa myaka 33 afiiride munyumba, nga kino kidiriidde enyumbaye okukwata omuliro n'esanawo Ayogerera police mu kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agamba nti omusajja ono afudde ategerekese nga  John Bosco Kalibala , nga ono abadde akola mu masiro. Ono agamba nti ebyakazuula biraga nti omusajja ono yandiba nga yabadde atamidde …

Read More

Abasomesa abatamiivu baakugobwa.

Bya Ben Jumbe. Mukaweefube ow’okusitula  omutindo gw'ebyenjigiriza, minisitule ekola ku by’enjigiriza etegeezeza nga bwegenda okuleeta amateeka agagenda okukangavvula abasomesa abajja ku masomero nga batamiddde. Mumateeka gano amapya, abasomsa bonna abanasangibwa nga batamidde bakuwerezebwa eri ababudabuda abantu, oba okutwalibwa mu malwaliro, kyoka nga bwekisuka wano ekidako kugobwa. Twogedeko n’akola ku by’okubudabuda abantu mu minisitule  eno Henry Ssemakula n’agamba nti…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play