Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Besigye olutalo alututte mu palamenti

Bya Moses Kyeyune Eyali presidenti wekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye olutalo lwe ne Presidenti Museveni alututte mu palamenti. Besigye ategezeza banamwulire oluvanyuma lwakafubo, kabaddemu naboludda oluvuganya gavumenti, gyeyayitiddwa  agambye nti ababdde batema empenda kungeri yokulwanyisaamu gavumenti ya NRM. Ategezeza nti enkyukakyuka ekubye koodi, nokuzaamu bann-uagnda essuubi. Wabula NRM ezze enfuya entekateeka zaboludda oluvugany gavumenti nga bazogerako nga katemba. Mungeri…

Read More

Ababade baguza abaana amafuta g’enyonyi bakwatiddwa.

Bya samuel ssebuliba. Mu  Kampala ekutte abantu babiri  nga bano babade basuubula amafuta g’enyonyi , nga baguza abaana wano mu Kisenyi nebaganuusa. Abakwatiddwa kuliko omusajja n’omukazi nga bano basangiddwa n'ekidomola kiramba ekya mafuta gano Ekikwekweto ekikutte bano kikulidwamu aduumira polisi  ya Old Kampala Charles Nsaba, oluvanyuma lw'amyuka aduumira police Brigadier Muzeeyi Sabiti okulangirira ekikwekweti ku bantu bano. Abakwatiddwa kati…

Read More

Ababaka tebanamanyisibwa ku nkola ya mulago empya.

Bya Samuel Ssebuliba. Parliament eragidde ministry ekola ku by’obulamu okwanguwa okubategeeza ku ngeri edwaliro lye Mulago gyerigenda okudukanyizibwamu nga liwedde okudabirizza. Edwaliro lye Mulago  lino  kisubirwa nti singa linaggwa lyakufuuka lyakujanjaba ndwadde ez'enjawulo zokka. Bweyabadde ayogerako eri palamenti akawungezii akayise,ssentebe w'akakiiko akakola ku by'obulamu Dr Michael Bukenya yagambye nti engeri mulago gyegenda okukolamu ekyabuzabuza, kubanga tekinamanyika oba wakusasulira…

Read More

Omusajja eyazaala mumuwalawe akwatiddwa.

Bya Getrude Mutyaba. Waliwo omusajja akwatiddwa lw'akudda  ku muwala we n'amuzaalamu omwana . Omukwate mutuuze we Lwabenge mu district ye Kalung kyokka nga yaddukayo ne muwalawe nga amaze okumufunyisa olubuto n'amupangisiza akazigo ku kyalo Ssaza mu Gombolola ya Katwe-Butego mu district ye Masaka. Kigambibwa nti kaggwe ensonyi ono okwagala muwala we tekyamumalira, yaawasa n’omuwala omulala ow’emyaka 15 nga…

Read More

Gavumenti ejeewo omusolo ku bitabo ebitukuvu.

Bya Emmanuel Ainebyona. Ekitongole ekiwooza ekya URA kyenyudde nekikyusa ekirowoozo ku ky’okuteeka omusolo ku bitabo ebituvu okuli bible ne Quran, nga kaakano bategeezeza nti okutandika n’omwaka gw'ebyensimbi ogujja ebitabo bino tebigenda kuddamu kuwa VAT abadde alina okubigibwako. Kinajukirwa nti eggulo Daily monitor yakoze eggulire nga liraga nga bano bwebebasazeewo okusolooza omusolo ku bitabo bino, kyoka kino nekinyiiza…

Read More

Owa bodaboda attidwa.

Bya Getrude Mutyaba.   Abatuuze be Mwota mu Lukaya town Council mu district ye Kalungu bali mu kutya olwa mutuuze munabwe okuttibwamu bukambwe. Attiddwa abadde avuga boda boda nga ategeerekese nga Muzafaru Magembe owe myaka 28 Okusinziira ku  mukwanogwe Steven Kamya, omugenzi yakomye kulabwako saawa  nga eggulo nga talina piki piki ye wabula kyoka bagenze okumusanga nga attidwa. Omwogezi wa…

Read More

Banakyewa bagala akabinja akalondoola abakozesa yintaneti

Bya Ivan Ssenabulya Ebibiina byobwanakyeewa ebitabulidde government olwokutondawo akakiiko kano kebaatuma Electronic Crime Counter Measures Unit, akalondoola abagambibwa okukozesa obubi internet kebagamba nti kaliwo kumalako bantu mirembe. Alipoota efulumuziddwa aba Unwanted Witness   nga kino ky’ekibiina ekirwanirira edembe lyabantu abakozesa internet eraze nga abantu 25  bwebakakwatibwwa okuviira dala mu 2011,okuli  Dr. Stellah Nyanzi, banamawulire ba  Red Pepper nabalala…

Read More

Eyabadde atambula nga talina ssente omukono bagutemyeko

Bya Shamim Nateebwa Gwebatemyeko omukono asaba ali bubi ddala. Sakku Musisi owemyaka 26 omutuuze ku kyalo Nakazibwa  e Kateera mu disitulikiti ye Kiboga, apoceza mu ddwaliro ddwaliro e Mulago. Ono atugambye nti abasajja 4 bamugwikirizza ngadda ewuwe nebasowolayo ebijambiya nebatandika okumutematema omukono nga bwe bamusaba ssente. Mu kanyolagano kano babamutemyeko  omukono negugwa wali. Denis  Maluge, muganda wa Musisi ategezezza nti…

Read More

Abe Mukono bali mu kutya olw’obukyaffu

Bya Ivan Ssenabulya Abakulembeze mu munisipaali ye Mukono beralikirivu olwendwadde ezekuusa ku buligo Cholera ezandibalukawo. Bano bagamba nti abatunda ebyo’kulya ku nguundo nebananyini bizimbe ebyokuuma obuyonjo babivaako nga’basinga kabuyonjo zaabwe zajuula dda. Omumyuka wa mayor we Mukono Jamada Kajoba ategezeza nti waliwo nabata kazambi nakulukutira mu myala mu biseera bino ebyenkuba. Ono kati alabudde abantu okukuuma obuyonjo okuvira ddala…

Read More

Omubaka Kyagulanyi yemulugunya ku njaga

Bya Moses Kyeyune Omubaka wa Kyaddondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine atadde poliisi ku nninga okunyonyola lwaki, olutalo lwabwe baluteeka ku kulwanyisa njaga, songa waliwo nebiragalalagala ebirala. Kyaggulanyi okwemulugunya bwati abadde mu kakaiiko ka palamenti ake ddembe lyobuntu abakulu ba poliisi ne ministry eyensonga zomunda mu gwanga gyebabadde balabiseeko. Ategezeza nti waliwo abawala…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play