Bya Samuel Ssebuliba.
Sipiika wa Palamenti omukyala Rebecca Alitwala Kadaga atabukidde basentebe b'obukiiko bwa palament nga agamba nti bano beeyitirize nebatandika okugenda nga basabairiza ensimbi ez'okudukanya obukiiko okuva mu bagabirizi b'obuyambi, songa zino akakiiko aka parliamentary commission kazibawa.
Speaker agamba nti akitegedeko nti waliwo ba sentebe b'obukiiko abeefude ba segwanga, bagenda bategeeza abantu nga bwebatalina nsimbi zakukola…
Bya Ruth Anderah
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni akakiiko akanonyereza ku mivuyo gye ttaka mu gwanga akongedde emyezi 18, gwe mwaka gumu nekitundu omulala, nga kakola.
Ssentebbe wakakiiko omulamuzi Catherine Bamugemereire era ategezeza nti omukulembeze we gwanga Dr. Douglas Singiza ngomuwandiisi wakaiiko omugya okudda mu bigere bya Olive Kazaarwe Mukwaya eyalondebwa gyebuvuddeko ngomulamuzi wa kooti enkulu.
Ate…
Bya Ivan Ssenabulya
Abantu abawerako abatanamanyika muwendo bandiba nga bebafiridde mu njega, omugga bwegwabise amazzi negabooga okwanjaala mu gwanga lya Kenya.
Abobuyinza bagamba nti abantu 10 bandiba nga bebafudde.
Okusinziira ku Daily Nation bino bibadde mu bitundu bye Solai ku mugga Patel ogwesudde mil120 okuva mu kibuga ekikulu Nairobi.
Amazzi gatutte amayumba gabantu nebyabwe nga nabamu tebamanyikidwako mayitire.
Omuddumizi wa…
Bya Ruth Anderah
Omumyuka womuwandiisi wa kooti enkulu Deo Nzeyimana, avudde mu musango gwa eyali minister webyamwulire Rt. Maj. General Jim Muhwezi mwayaglira, bayimirize ebyokumugoba ku ttaka erisangibwa e Kyamula-Salaama mu division ye Makindye.
Nzeyimana ategezeza nti kyanditunulirwa nga kyekubiira kubanga, bamanyiganye bulungi ne William Hitmana, agambibwa nti yeyatunda ettaka eri Jim Muhwezi.
Nzeyimana kati atutegeeza nti enjuuyi zombie…
Bya Moses Ndaye
Gavumenti yakutongoza enkola oba etteeka erikwata ku byobulamu nensomesa yabaana, kyebatuumye school health policy.
Lino lyakulambulula ku ndiisa yabaana ku masomero, okubagemanga nokubananjaba ate nebikwata ku baana abawala abali mu nnaku zaabwe.
Okusinziira ku Rosette Nanyanzi, omunonyereza mu ministry yebyenjigiriza nemizannyo, etteeka libaddewo nga lisigadde kukaksibwa ministry.
Etteela kino kitegezeddwa nti ligenda kutongozebwa olunnaku lwenkya.
Bino webijidde…
Bya Shamim Nateebwa
Abadde yaganza muko musajja akubidwa mizibu.
Herbert Ahereza owemyaka 42 kati anyiga biwundu mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lwemiggo egymukubiddwa bwebamugwikirizza ne mukk’omusajja .
Bino bibadde Kawempe mu Kampala, ngataegezezza nga bwamazze sabiiti 2 bagalana nomukazi gwamanyiko erya Aisha kyokanga ono mufumbo.
Ono ategezeza nti omukazi yali teyamugamba nti mufumbo.
Bya Ssebuliba Sam
Omukubiriza wa palamenti asabayeyo akadde okwekenneya, ensonga zomubaka we ssaza lya Sheema North Dr Elioda Tumwesigye obanga anasigala ngawereza mu palament waddenga yalaze obwagazi mu kwesimbawo ate ku kiffo kyomubaka wa munispaali eye Sheema, eyakatondebwawo.
Ku Bbalaza ku ntandikwa ya wiiki eno Tumwesigye yasunsuddwa mu kamyufu kekibiina kya NRM okuvuganya, songa mu kaseera kano…
Bya Abubaker Kirunda
Omusajja owemyaka 40 akwatiddwa poliisi mu district ye Bugiri nga kigambibwa nti yasobezza ku kaana akemyaka 7 gyokka.
Omukwate mutuuze ku kyalo Bugodo mu gombolola ye Kapiang e Bugiri nga poliisi emusanze mu kinywero, nemutekako obunyogoga.
Kigambibwa nti omwana oo abadde yajja ne nnyina mu bufumbo.
Omuddumizi wa poliis mu district ye Bugiri Jeff Ssebuyungo ategezeza nti…
Bya Magembe Sabiiti
Ekibinja kya bantu abeyita Abasazima bamenye enyumba z’obwakabaka bwa Buganda ezazimbibwa ku lubiri lwa Nakayima e Buwekula mu district ye Mubende.
Avunanyizibwa ku by'obuwanga n'ennono ku lukiiko lwe essaza lye Buwekula Nanyonga Abbey, ategezezza nti mu nyumba zebamenye kwekuli enyumba ya Bachewzi, Ekigango ne nyumba ya Balongo.
Ono avumiridde ebikolwa bino.
Bya Shamim Nateebwa
Ministry yebyobulamu yakugema okwomukamwa ekirwadde kya Cholera okwetoola egwanga.
Bino webijidde nga Cholera yagobye era nakakasibwa mu Kampala nemu bitundu bye gwanga ebiralala.
Minister Opendi ategezeza nti entakateeka eno egenda kutandika mu wiiki bbiri mu maaso.
Wabula ategezeza nti okugema tekugenda kuyimiriza ntekateeka endala, ezokulwanyisa Cholera.
