Bya Damali Mukhaye,
Minisitule evunanyizibwa ku byenjigiriza etegezezza nga bwegenda okwongeza ensimbi ezébigezo ezisambibwa ekitongole kya UNEB oluvanyuma lwa gavumenti okufuula olulimi oluswayili olutongole mu ggwanga.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, omwogezi wa minisitule eno, Dr Denis Mugimba agambye nti abayizi be kyomusanvu babadde batuula ebigezo 4 byonna wabula kati oluswayili lweyongeddeko kati ebigezo byakubanga 5.
Ono…
Bya Moses Ndaye,
Oluvanyuma lw'okubongeza emisaala, gavumenti erabudde abasawo abebulankanya ku mirimu nti bubakeeredde.
minisita w’ebyobulamu Dr .Jane Aceng agamba kati abasawo bano mpaawo kyebagenda kwekwaasa kalne nga babasuubira okuwaayo obudde obumala eri abalwadde abajja mu malwaliro ga gavumenti.
Aceng kati agamba tebasuubira musawo wa gavumenti kuva mu ddwaliro limu kudda mu ddala naddala agobwananyini okwagala okuweza omusaala.
minisita…
Bya Benjamin Jumbe,
Amyuka ssaabaminisita asooka era avunanyizibwa ku nsonga za East Africa Rebecca Kadaga asabye bannayuganda bonna okwettanira okuyiga olulimi oluswayiri.
Okwogera bino nga waakayita olunaku lumu lwokka nga olusririka lwamawanga ga East Afroica kyelujje lusalawo olulimi oluswayiri lufuulibwe olulimu olutongole mu mawanga ga East Africa.
Kati nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero, Kadaga ategezezza nga okukozesa oluswayiri…
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti nga eyita mu minisitule yya kampala eyongezaayo okuwandiisa abagoba ba bodaboda mu kampala.
RCC we Rubaga Anderson Burora yayasanguzizza bino nategeeza nga enteekateeka eno bwebadde erina nga 1 July wabula bagyongezzaayo okuwa ababodaboda omukisa okwongera okwewandiia na bapya bafune siteegi.
Mungeri yeemu Burora ategezezza nti nga okuwandiisa kuwedde teri wa bodaboda ajja kukkirizibwa kusimba…
Bya Prossy Kisakye,
Abékibiina kya DP, batiisizza okukuba gavumenti mu kkooti lwakusosola mu kusasula abasomesa emisaala nga abas ayansi baakulya nga balimi sso nga aba arts nokuytuusa kati bakyakukuluma olwabanaabwe abagenda okufuna obukadde obuna nga bbo mpaawo asukka kakadde.
Pulezidenti Museveni yasuubizza abasomesa bano olkubalowoozaako gyebujja nabalagira okudda mu bibiina.
Kati pulezidenti wa DP Nobert Mao, agamba kimenya…
Bya Ndaye Moses,
Gavumenti eremeddeko ku kya Uganda okuba nga yayingira dda mu lubu lwa mawanga agali yadde yaddeko newankubadde alipoota ya bbanka y’ensi yonna bino ebiwakanya.
Gavumenti nga eyita mu kitongole ekivunanyiaibwa ku bibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics egamba nti Banka yensi yonna yakozesa ebibalo ebikyamu okumanya enfuna yabannayuganda.
Mu kwogerako ne bannamawulire akulira…
Bya Damali Muhkaye,
PULEZIDENTI Museveni awadde abasomesa ba arts amagezi okudda mu kibiina basomese kuba gavumenti yeewaddeyo okukola ku kwemulugunya kwabwe.
Museveni bw’abadde asisinkanye obukulembeze bw’abasomesa okuva mu ggwanga lyonna e Kololo ku kisaawe, agambye nti wadde ng’abasomesa ba arts bakkaatirizza nti gavumenti erina okukozesa eby’obugagga ebiriwo okutumbula emisaala gyabwe, tekisoboka kuba kino tekigonjoola nsonga ya musaala.
Museveni…
Bya Prossy Kisakye,
Senkagale wekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta agamba Uganda ekyalina olugendo lwámaanyi okutuuka mu lubu lwabali yadde yadeko oba kiyite middle income status.
Mu kwogerakwe okusembyeyo eri eggwanga pulezidenti Yoweri Museveni yagamba nti newankubadde Uganda eyise mu kusomoozebwa kwe byenfuna mu myaka 2 egiyise yasobola okutuuka mu lubu lwa mawanga agali…
Bya Ruth Anderah,
Omusuubuzi ow’emyaka 34 agambibwa okuba nti abadde akukusa abantu nga yeefudde abatwala ebweru okukola agguddwaako omusango n’asindikibwa ku limanda.
Robert Kasibante omutuuze w’e Bunamwaya mu divizoni y’e Rubaga asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road n’awakanya ebimwogerwako
Kasibante alwanagana n’omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju.
Oludda oluwaabi lugamba nti wakati w’omwezi gwa November 2021 ne January 2022 ku…
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi e Wandegeya ekutte omukyala Florence Namugoya,34, omutuuze w’e Makerere Kavule ku bigambibwa nti yakukusa omwana ow’emyaka 16.
Poliisi egamba nti ono, yali mu lukwe ne nnyina w’omwana era yamutambuza okutuuka mu ppaaka ya bbaasi e Namayiba n’ekigendererwa eky’okumutambuza mu ngeri emenya amateeka okutuuka e Nairobi mu Kenya okuva ku kyalo Makundu, mu ssaza…